Ebyanjula
Omusaale Waffe
- Contents- Ebyanjula
- Esuula 1—Okwagala Kwa Katonda Eri Omuntu
- Esuula 2—Omwonoonyi Nga Bwe Yetaaga Kristo
- Esuula 3—Okwenenya
- Esuula 4—Okwatula
- Esuula 5—Okwewaayo
- Esuula 6—Okukkiriza n’Okukkirizibwa
- Esuula 7—Ekipimo ky’Obuyigirizwa
- Esuula 8—Okukulira mu Kristo
- Esuula 9—Obulamu n’Okukola
- Esuula 10—Okutegeera Katonda
- Esuula 11—Omukisa gw’Okusaba
- Esuula 12—Okumalawo Okubuusabuusa
- Esuula 13—Okusanyukira mu Mukama Waffe
Search Results
- Results
- Related
- Featured
- Weighted Relevancy
- Content Sequence
- Relevancy
- Earliest First
- Latest First
- Exact Match First, Root Words Second
- Exact word match
- Root word match
- EGW Collections
- All collections
- Lifetime Works (1845-1917)
- Compilations (1918-present)
- Adventist Pioneer Library
- My Bible
- Dictionary
- Reference
- Short
- Long
- Paragraph
No results.
EGW Extras
Directory
Ebyanjula
Amatu mangi gawulira ebigambo eby’ekisa ebiyita nti, “Mujje gyendi,“—okuyita okwo okw’Omulokozi omusasizi era ow’omutima ogwagala bonna ababula okuva ku Katonda; mu mitima gy’abangi, abeetaagira ddala obuyambi obusangibwa mu Yesu, mubaamu okwanukula okwangu okudda mu nnyumba ya Kitaabwe. Era ekibuuzo kya Tomasi kiddibwamu emirundi mingi nti, “Tuyinza tutya okutegeera ekkubo?” Ennyumba ya Kitaffe erabika nga eri wala nnyo, era ekkubo lirabika nga zibu era libusibwabusibwa. Madaala ki agakulembera okuddayo eka?OW 6.1
Erinnya ly’ekitabo kino litegeeza obubaka bwakyo. Kiraga ku Yesu nga ye yekka ayinza okusisinkana okw’etaaga kw’omuntu, kikulembera ebigere by’oyo abuusabuusa era ayimiridde “ku kkubo ery’emirembe.” Kikulembera anoonya obutukirivu n’empisa ezituukiridde, mu madaala, mu kkubo ery’obulamu Obukristayo, okutuuka ku mukisa ogutuukiridde ogufunibwa mu kujemulukukira ddala okw’omuntu okwesiga ekisa okutakyukakyuka n’okwesiga amaanyi agakuuma aga Mukwano gw’aboonoonyi. Okuyigiriza okusangibwa mu kitabo kino kugumizza bangi n’okubawa essuubi abeeralikiridde, era kuyinzisissa bangi abagoberera Mukama waffe okutambulira mu bigere by’Omukulembeze waabwe. Era kisuubirwa nga kijja kutwala obubaka bwe bumu eri abangi abalala abeetaga obuyambi bwe bumu.OW 6.2
“Kkiriza ekkubo lirabike eyo
Amadaala agatuuka mu ggulu.”OW 6.3
Yakobo yali bw’atyo, bwe yali ng’alumwa olw’okutya nti ekibi kye kimwawudde okuva ku Katonda, yagalamira wansi awummule, “n’aloota ekirooto, era laba amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n’entikko yaago ng’etuuse mu ggulu.” Okugattibwa kw’ensi n’eggulu kwamubikkulirwa mu ngeri eyo, oyo eyali ku ntikko y’amadaala n’amutegeeza ebigambo eby’okugumya n’essuubi. Ka okwolesebwa okw’omu ggulu kuddirwemu bangi nga basoma ebigambo bino eby’ekkubo ery’obulamu.OW 6.4