Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    Esuula 1—Okwagala Kwa Katonda Eri Omuntu

    EBITONDE era n’ebyawandiikibwa bitegeereza wamu okwagala kwa Katonda. Kitaffe ow’omu ggulu ye nsibuko y’obulamu, n’amagezi n’essanyu. Tunulira ku bintu ebirungi eby’ekitalo ebyatondebwa. Lowooza nga bwe byakolebwa mu ngeri ey’ekitalo olw’okuyamba omuntu mu kwetaaga kwe era n’okumusanyusa; so si muntu yekka, naye era n’ebitonde ebirala ebiramu. Omusana era n’enkuba ebisanyusa era ebizzaamu ettaka amaanyi, ensozi, n’ennyanja, n’ebisenyi, byonna bitutegeeza okwagala kw’Omutonzi. Katonda y’awa ebitonde bye byetaaga buli lunaku. Ebigambo ebirungi eby’omuwandiisi wa zabuli bitutegeeza nti:OW 7.1

    “Amaaso g’ebintu byonna gakulindirira; naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo. Oya njuluza engalo zo, n’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.” Zab. 145:15, 16.OW 7.2

    Katonda yakola omuntu nga mutukuvu ddala era nga musanyufu; era ensi bwe yava mu mikono gye yali nnongofu ddala, nga terina kabonero konna ak’ekikolimo. Kwali kujeemera mateeka ga Katonda (amateeka ag’okwagala kwe kwaleeta ennaku n’okufa). Naye era ne mu kulumwa okwava mu kibi, okwagala kwa Katonda kulabikiramu. Kyawandiikibwa nti Katonda yakolimira ensi ku lw’omuntu (Lub. 3:17). Amaggwa n’amatovu. (obuzibu n’okukemebwa ebyafuula obulamu bwe okuba obw’okutegana n’okweralikirira) byalagirwa lwa kuyamba muntu, olw’okuteesa kwa Katonda nga kye kitundu ku kuyigirizibwa kw’omuntu olw’okumusutula okumugya mu kinnya ky’ekibi kye yali aguddemu. Newakubadde nga ensi yagwa mu kibi, naye era terimu nnaku na kubonabona byokka. Mu bintu eby’obuwangwa byennyini mulimu kibi, naye ebituleetera essuubi n’obugumu. Ku matovu kuliko ebimuli, era amaggwa gabikkiddwa ebimuli bya “loza”.OW 7.3

    Buli kaddo oluggyayo omutwe gwako okumera, na buli kimuli oluba okulingiza, olaba nga kuwandikiddwako ekigambo kino nti “Katonda kwagala.” Ennyonyi zijjuza ebbanga amaloboozi g’ennyimba zaazo ennungi, ebimuli bijjuza ebbanga akawoowo kaabyo akalungi, era n’emiti emiwanvu egy’omu kibira n’amalagala gaagyo amalungi, ebyo byonna bitegeeza okwagala era n’okukuuma kwa Katonda waffe okulungi eri abaana be, era nga bwe yeetaaga ennyo okubasanyusa.OW 8.1

    Ekigambo kya Katonda kyolesa empisa ze. Ye yennyini yategeeza okwagala kwe era n’okusaasira kwe okutaggwawo. Musa bwe yasaba nti “Ndaga ekitibwa kyo” Mukama yaddamu nti “Nayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go”. Obulungi bwe kyekitibwa kye. Mukama yayita mu maaso ga Musa, n’ategeeza nti “Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusasira era ow’ekisa, olwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butukirivu n’okwonona n’ekibi: Kuv. 33:18,19; 34:6,7. Ye “atayanguwa kusunguwala”, “ajjudde ekisa” Yon. 4:2, “Kubanga asanyukira okusaasira.” Mik. 7:18.OW 8.2

    Katonda yatuwa obubonero bungi nnyo mu ggulu ne mu nsi alyoke anyweze emitima gyaffe gy’ali. Yayagala okweraga gye tuli ng’ayita mu bitonde, ne mu kwagala okunene ennyo abantu kwe bayinza okutegeera. Naye era n ', ebyo tebimala okwolesa okwagala kwe. Newakubadde nga yatuwa obubonero obwo bwonna okutulaga okwagala kwe, naye omulabe w’ebirungi yatuziba amaaso, mu kifo ky’okwagala Katonda, ne tumutyanga buti; ne tumulowooza nga omukambwe, atasonyiwa. Setani alowoozesa abantu nga Katonda ky’ayagalira ddala kwe kusalira abantu omusango n’obukambwe, omulamuzi omukakanyavu ddala atalina kusaasira n’akatono. Alaga Omutonzi waffe mu kifaananyi ky’ekintu ekikambwe ennyo, ekitunuulira omuntu n’eriiso ery’obugya nga kinoonya k’anaasobya konna kiryoke kimutekeko ekibonerezo. Ekyo kye kyaleeta Yesu mu nsi muno okubeera mu ffe, alyoke atuggyirewo ekisiikirize ekyo ekibi.OW 9.1

    Omwana wa Katonda yava mu ggulu alyoke atwolese Kitaawe nga bw’ali. “Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza.” Yok. 1:18. “So tewali muntu amanyi Kitange wabula omwana, na buli muntu gw’avagala okumubikkulira.” Mat. 11:27. Omu ku bayigirizwa be bwe yamusaba nti “Tulage Kitaffe,” Yesu yaddamu nti “Kasokedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwebityo, era tontegeeranga Firipo? Alabye ku nze, ng’alabye ku kitange; kiki ekigwogeza ggwe nti Tulage Kitaffe?” Yok. 14:8, 9.OW 9.2

    Yesu bwe yali ng’annyonnyola ku mulimu gwe ogw’omu nsi muno yagamba nti “Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi: antumye okutendera abanyage okuteebwa, n’okuzibula abazibe b’amaaso, okubata ababetentebwa.” Luk. 4:18. Guno gwe gwali omulimu gwe. Yatambulanga ng’akola bulungi, ng’awonya bonna abaajogebwanga Setani. Mu byalo byonna temwaberangamu muntu akaaba olw’endwadde; kubanga yatambulanga mu bo, ng’awonya abalwadde baabwe. Omulimu gwe gwalagiranga ddala nti Katonda yamufukako amafuta. Mu bulamu bwe obwa bulijjo yalaganga okwagala, n’ekisa, n’okusaasira, mu buli kikolwa kye yakolanga; omutima gwe gwasaasiranga nnyo abaana b’abantu. Yayambala ekifaananyi ky’omuntu, alyoke atuukire ddala ku kwetaaga kw’omuntu. Omuntu yenna asingira ddala obwavu oba owa wansi ennyo teyatyaga kumusemberera. Newakubadde abaana abato, era na bo baamwagalanga nnyo. Baayagalanga nnyo okujja waali ng’atudde batuule ku mavivvi ge waggulu batunulire mu maaso ge agajjudde amagezi n’ekisa ekingi.OW 10.1

    Yesu teyakisa kigambo kyonna eky’amazima, yabanga ayogera n’abantu, yakozesanga amagezi naye yakyogeranga n’omwoyo ogw’okwagala. Bwe mangi n’obwegendereza era n’ekisa. Teyali mukambwe, teyayogeranga kigambo kya maanyi awatali nsonga, teyayanguyirizanga kunenya muntu yenna. Yasaasiranga obunafu bw’omuntu. Yayogeranga amazima, naye kyokka yayogeranga n’omwoyo ogw’okwagala. Yaboggorera obunanfuusi, n’obutakkiriza, n’obujeemu, naye mu kunenya okwo ng’ayogera ng’agenda okukaaba amaziga. Yakaaba amaziga ku lwa Yerusalemi ekibuga kye yayagala, naye ne kigaana okumukkiza oyo Ekkubo, n’Amazima, n’Obulamu. Baamugana oyo Omulokozi, naye yabalowoozangako n’okusaasira okusukkirivu. Obulamu bwe bwali bwa kweganyisa era n’okulowooza ku balala. Buli muntu yali wa muwendo mu maaso ge. Newakubadde nga yalina ekitibwa, ky’obwakatonda, naye yeetowaza olw’okwagala okunene kwe yayagala buli mwana wa Katonda yenna. Abantu bonna yabalabanga bwe yabatunuliranga nga be boonoonyi be yajja okulokola.OW 11.1

    Ezo ze mpisa za Kristo, nga bwe zaalagibwa mu bulamu bwe. Era ze mpisa za Katonda. Ensu-lo z’okusaasira kwa Katonda ziva mu mutima gwa Kitaffe, ne zirabikira mu Kristo, nga zikulukuta okutuuka ku baana b’abantu. Yesu, omulokozi omusaasizi era ow’ekisa ye Katonda eyalabisibwa mu mubiri.” 1 Tim. 3:16.OW 11.2

    Obulamu bwa Yesu, n’okubonabona n’okufa kwe byonna byabaawo lwa kutulokola. Yafuuka “omuntu ow’ennaku” ffe tulyoke tufune essanyu eritaggwawo. Katonda yakkiriza Omwana we omwagalwa, ajjudde ekisa n’amazima, okuleka ensi ey’ekitibwa ekitayogerekeka, okujja mu nsi eno embi ejjudde ekibi n’ekikolimo n’okufa. Yamukkiriza okuva mu kifuba kye, n’okusinzibwa bamalayika, okujja muno okuswazibwa, n’okuvumibwa, n’okunyomebwa, n’okukyayibwa era n’okufa. “Okubonerezebwa okw’emirembe gyaffe kwali kuye; era emiggo gye gye gituwonya.” Is. 53:5. Mulabe ng’ali mu ddungu, mu Gesusemane, ku musalaba! Omwana wa Katonda ataliko bbala lyonna yetikka omugugu gw’ekibi. Oyo eyali awamu ne Katonda, yawulira mu mutima gwe okwawukana okw’entisa ekibi kwe kireeta wakati wa Katonda n’omuntu. Kino kye kyamukaabya okukaaba okw’ennaku nti “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundeseza?” Mat. 27:46. Omugugu gw’ekibi, n’okutegeera omusango gwakyo omunene ogw’entisa, era n’okulaba nga bwe kyawukanya omuntu ku Katonda, ekyo, kyennyini, kye kyamenye omutima gw’Omwana wa Katonda.OW 12.1

    Naye saddaka eno ennene teyaweebwayo eryoke ereete mu mutima gwa Kitaffe okwagala eri omuntu wadde okumwagazisa okumulokola: Naye si bwekityo. “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bwati n’okuwayo n’awaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka,” Yok. 3:16. Kitaffe atwagala, si lwa mutango omunene gwe yatuweerayo, naye yawaayo omutango ogwo lwa kubanga atwagala. Kristo. gwe yayisamu okwagala kwe okutaggwawo okukufuka ku nsi eno eyagwa mu kibi. “Katonda yali mu Kristo ng’atabaganya ensi naye yekka.” 2 Kol. 5:19. Katonda yalumirwa wamu n’omwana we. Mu kulumwa okw’omu Gesusemane, okufa okw’e Gologoosa, omwo omutima gw’oyo alina okwagala okutaggwawo mwe gwasasulira omuwendo ogwatununula.OW 12.2

    Yesu yagamba nti “Kitange ky’ava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate.” Yok. 10:17. Mu kino, alinga eyagamba nti “Kitange abaagala nnyo, n’olw’ekyo yeyongera nnyo okunjagala nze olw’okuwaayo obulamu bwange okubanunula mmwe. Olw’okudda mu kifo kyammwe, ne mbeyimirira nga mpaayo obulamu bwange, olw’okwetikka ebbanja lyebibi byammwe, Kitange yeeyongera nnyo okunjagala: kubanga olw’okwewayo nga saddaka, Katonda ayinza “okuba omutukirivu, era ng’awa obutakirivu akkiriza Yesu.” Bal. 3:26.OW 13.1

    Tewali n’omu eyandisobodde okutununula; wabula Omwana wa Katonda yekka; kubanga oyo yekka eyali mu kifuba kya Kitaffe nga y’asobola okumututegeeza. Oyo yekka eyategeera obugulumivu n’okukka wansi okwagala kwa Katonda kw’alina eri omwonoonyi nga y’ayinza okukutubikkulira. Tewali kintu kirala kyonna ekyandiyinzizza okututegeeza okwagala kwa Kitaffe kw’alina eri omwonoonyi, okusinga saddaka Kristo gye yawaayo.OW 13.2

    “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati n’okuwayo n’awaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka.” Teyamuwaayo kubeera mu bantu n’okwetikka kyokka; ebibi byabwe, n’okufa okuba saddaka yaabwe kyokka; naye yamuweerayo ddala eri olulyo lw’omuntu omwonoonyi. Kristo yatwalira ddala embeera era n’okwetaaga kw’obuntu kwonna. Oyo eyali awamu ne Katonda yeegattira ddala n’abaana b’abantu n’ekisa ekitagenda kukutuka emirembe n’emirembe. Yesu “takwatibwa nsonyi okubayitanga aboluganda.” Beb. 2:12. Ye saddaka yaffe, Omuwolereza waffe, Muganda waffe, ng’alina ddala ekifaananyi ky’omubiri gw’omuntu mu maaso g’entebe ya Kitaffe. Era emirembe gyonna wa kufaananira ddala olulyo luno olw’omuntu gwe yanunula, nga ye Mwana w’omuntu. Mu kukola bino byonna, kye yagenderera omuntu alyoke asitulibwe okuva mu kuzikirira, ne mu bwonoonefu bw’ekibi, alage okwagala kwa Katonda, era naye afune essanyu ery’obutukuvu.OW 13.3

    Omuwendo guno ogwasasulibwa okutununula, okwegaanyisa kuno okw’ekitalo Kitaffe kwe yeegaanyisa ng’awaayo Omwana we okufa ku lwaffe, ddala kutekwa kutulowoozesa nnyo ku ngeri Katonda gye yagenderera okututusako nga tuyita mu Kristo. Omutume Yokana ng’ali mu Mwoyo omutukuvu, bwe yalaba obugulumivu, n’okukka wansi, n’obugazi obw’okwagala kwa Kitaffe eri olulyo lw’omuntu luno oluzikirira yajjuzibwa okutendereza n’okugulumiza Katonda; era yalemwa okuzuula ekigambo kyonna ekirungi mw’ayinza okutegeereza obunene n’obulungi bw’okwagala kuno; awo n’alyoka atukowoola fenna twelorere! Yagamba nti “Mulabe okwagala bwe kuli okunene Kitaffe kwe yatuwa, ffe okuyitibwanga abana ba Katonda.” 1 Yok. 3:1. O! erinnya lino nga lya muwendo eri omuntu! Olw’okwonoona, abaana b’abantu bafuuka baddu ba Setani. Olw’okukkiriza Saddaka ya Kristo, abaana ba Adamu bayinza okufuuka abaana ba Katonda. Kristo olw’okutwala obuzaaliranwa bw’omuntu, yasitula omuntu. Abantu aboonoonyi olw’okwegatta ne Kristo, bayinza okuteekebwa mu ddaala eriyinziza ddala okubasaanyiza okuyitibwa erinya eryo “abaana ba Katonda.”OW 14.1

    Okwagala okwo tekwenkanika. Abaana ba Kabaka ow’omu ggulu! Nga kusuubiza kwa muwendo ! Ekigambo kino kisaanidde okulowoozebwako ennyo ddala! Okwagala kwa Katonda okw’ekitalo eri ensi etaamwagala! Ekirowoozo kino kirina obuyinza bungi ku mwoyo gw’omuntu, era kiretera omutima gw’omuntu okugondera Katonda by’ayakala. Gye tukoma okwetegereza empisa za Katonda mu musana ogw’omusalaba, gye tukoma okulaba ekisa, n’okwagala, n’okusonyiwa awamu n’amazima, era gye tukoma okutegeera eby’okulabirako ebitabalika ebitutegeeza okwagala okw’ekita-lo n’okusaasira okungi, okusinga n’okw’omukazi kw’asaasira omwana we.OW 15.1

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents