Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    Esuula 8—Okukulira mu Kristo

    OKUKYUKA kw’omutima okutufuula abaana ba Katonda, mu Baibuli kuyitibwa okuzaalibwa. Era nate kugerageranyizibwa n’ensigo ennungi omulimi z’asiga. Kale bwekityo abo abaakajja bakyukire Kristo bayitibwa “abaana abawere.” I Pet. 2:2, era nti bagenda kukula (Bef. 4:15) okutuuka mu kigera ky’abasajja n’abakazi abakulu mu Kristo Yesu. Oba ng’ensigo ennungi, bagenda kukula babale ebibala. Isaya agamba nti “Balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gy’asimba, alyoke awebwe ekitibwa ye.” Is. 61:3. Bwe kityo tufuna ekifaananyi okuva ku bintu eby’obuwangwa, ekituyamba okutegeera obulungi amazima ag’ekyama eky’obulamu obw’omwoyo.OW 73.1

    Tewali magezi ga muntu newakubadde obukalabakalaba obuyinza okuteeka obulamu mu bintu ebyo eby’obuwangwa, newankubadde akatono kokka. Obulamu obwo Katonda bw’ateeka mu kimera oba mu nsolo bwe bwokka obuyinza okukibeesawo nga kiramu. Bwe kityo, n’obulamu obw’omwoyo obuzaalibwa mu mutima gw’omuntu buva eri Katonda yekka. Omuntu bw’atazalibwa mu kuzaalibwa okwo okuva mu ggulu kwe tusoma mu Yok. 3:3, 5 tayinza kufuna bulamu obwo Kristo bwe yajja okutuwa.OW 73.2

    Obulamu nga bwe buli, n’okukula bwe kutyo bwe kuli. Katonda yekka y’awa ekimera okutojjera n’okumulisa n’okubala ekibala. Ensigo yonna ekula lwa buyinza bwe, “Okusooka kalagala, ate ‘ngano enkulu mu kirimba.” Mak. 4:28. Ate nabbi Kosea ng’ayogera ku Isiraeri agamba nti “Alimulisa ng’eddanga, era alisimba emizi nga Lebanoni.” “Balirama ng’e’ngano, ne bamulisa ng’omuzabibu.” Kos. 14:5,7. Ebimuli n’ebimera byonna tebikula lwa magezi gaabyo, wadde okweralikirira oba okwefubako, wabula lwa kutoola ebyo Katonda bye yabiteekerawo okuyamba obulamu bwabyo. Omwana tayinza kweyongera ku bukulu bwe newankubadde akenkana akasigirirwa ka taba olw’okufuba kwe wadde amaanyi ge. Bwe kityo naawe toyinza kufuna kukula kwa bulamu bwa mwoyo olw’okufuba kwo wadde amaanyi go. Ekimera oba omwana bikula lwa kutoola ebyo ebikiweebwa okuyamba obulamu bwakyo, nga empewo, omusana, n’emmere. Ebirabo ebyo eby’obuwangwa nga bwebiri eri ensolo n’ebimera, bw’atyo ne Kristo bw’ali eri abo abamwesiga, Oyo gye bali gwe “Musana obutaliggwawo,” era ye njuba, ye ngabo.” Is. 60:19; Zab. 84:11. Era aliba “eri Isiraeri ng’omusulo,” Kos. 14:5. Alikka ng’enkuba bw’etonya ku subi erisaliddwa.” Zab. 72:6. Ye ge mazzi amalamu, “emmere ya Katonda. . . . eva mu ggulu eretera ensi obulamu.” Yok. 6:33.OW 74.1

    Katonda yajjuza ensi yonna ensulo ey’ekisa kye, kye yatuweera mu kirabo ekitenkanika ye Mwana we, mwe yabunyisiza ddala ensi zonna ekisa kye ng’empewo bwe yeetolola mu nsi zonna. Abo bonna abaagala okwefunira mu bulamu bwabwe ekintu kino ekireeta obulamu bakubufuna, era balikula okutuuka mu kigero ky’abasajja n’abakazi abakulu mu Kristo.OW 75.1

    Nga ekimuli bwe kikyukira eri enjuba, akasana kalyoke kakilongose era kakinyirize, na ffe bwe tutyo tuteekwa okukyukira eri Enjuba Ey’obutuukirivu, omusana oguva eri Katonda gulyoke gutwakeko, empisa zaffe zikulire mu kifaananyi kya Kristo.OW 75.2

    Ekyo Yesu ky’atuyigiriza bw’atugamba nti “Mubere mu nze, nange mu mmwe. Ng’ettabi bweritayinza kubala bibala lyokka, bweritabeera mu muzabibu, bwe kityo nammwe temuyinza bwe mutabeera munze. . . . Awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.” Yok. 15:4, 5. Ng’ettabi bwe liggya okukula n’okubala kwalyo mu kikolo ekirizaala, era, na ffe bwe tutyo, obulamu obutukuvu tubuggya mu Kristo. Awatali ye tetulina bulamu. Tetulina buyinza kuziyiza bikemo oba okukulira mu kisa ne mu butukuvu. Bwe tubeera mu ye, tuyinza okukula. Bwe tufuna obulamu obuva mu ye tetugenda kuwotoka era tulibala ebibala bingi. Tuliba ng’emiti egyasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi.OW 75.3

    Waliwo bangi abalowooza nti bateekwa okubaako ekintu kye bakola bokka. Beesiga Kristo olw’okusonyiyibwa ebibi, naye kakano banoonya okubeera n’obulamu obulungi olw’okufuba kwabwe. Naye ddala buli kufuba okufaanana bwe kutyo kwa bwerere. Yesu agamba nti “Awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.” Okukulira mu kisa, n’essanyu, na buli kantu konna akalungi ketukola byonna tubifuna lwa kwegatta ne Yesu. Lwa kubeera naye buli kaseera konna, nga tuli mu ye lwe tukulira mu kisa. Yesu si mutandisi wa kukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo kyokka, naye ye w’oluberyeberye era ow’enkomerero, era owa bulijjo. Si wa kubeera naffe ku ntandikwa ya lugendo lwaffe na ku nkomerero yaalwo kwokka, naye era buli kigere kye tusimbula tumwetaaga. Daudi agamba nti “Mukama mutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga yali ku mukono gwange ogwaddyo, sirisagasagana.” Zab. 16:8.OW 75.4

    Oyinza okwebuuza nti “Nnyinza ntya okubeera mu Kristo?” Okuddamu kwa Katonda mu kibuuzo ekyo kuli mu Bakolosayi essuula ey’okubiri: “Kale nga bwemwawebwa Kristo Yesu Mukama (waffe), mutambulirenga bwemutyo mu ye.” Bik. 2:6. Omutukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza.” Beb. 10:38. Kwe kugamba nti oli wakubeera mu ye mu ngeri emu nga bwe wasooka okumukkiriza oluberyeberye. Mu kiseera ekyo weewaayo eri Katonda okuba owuwe ddala wenna, okumugondera n’okumuweereza; era wakkiriza Yesu Kristo okuba Omulokozi wo.OW 76.1

    Wamanya nga toyinza kwetangirira olw’ebibi byo ne wakubadde okukyusa omutima gwo; naye bwe wamala okwewaayo eri Katonda, wakkiriza nti akukoledde ebyo byonna kulwa Kristo Yesu Omwana we. Wafuuka owa Kristo lwa Kukkiriza, era oli wakukulira mu ye lwa kukkiriza (mu kuwaayo ne mu kutoola ye by’akuwa.) Oteekwa Okuwaayo byonna, (omutima gwo, okwagala kwo, n’okuweereza kwo), weeweeyo gy’ali okugondera buli ky’akugamba; era oteekwa Okutwala byonna, (Kristo, emikisa gye gyonna, okubeera mu mutima gwo, okuba amaanyi go, obutukirivu bwo, era omubeezi ataggwawo), okukuwanga amaanyi ag’okugondera Katonda.OW 76.2

    Buli nkya weeweeyo eri Katonda; kino ky’oba ofuula omulimu gwo ogusookera ddala buli lunaku. Saba nti “Ayi Mukama, ntwala nze nzena okuza owuwo ow’envuma. Enteekateeka zange zonna ne byonna bye’ngenda okukola mbiteeka ku bigere byo. Onkozese mu mulimu gwo olwa leero. Obeere nange, ne byonna bye nakola bikolerwe mu ggwe.” Kino okikolenga buli lunaku. Buli lunaku nga weewaayo eri Katonda olw’olunaku olwo. Buli kuteesa kwo kwonna kuteeke mu mikono gye, kukolebwe oba kulekebwe, nga ye bw’anakulaga. Buli lunaku obeere ng’oteeka obulamu bwo mu mikono gya Katonda, era bwe butyo obulamu bwo bunaagendanga bweyongerayongera okufananyizibwa obulamu bwa Kristo. Obulamu obuli mu mikono gya Kristo, bwe bulamu obw’eddembe. Togenda kuba na kirowoozo kya kwemanya, naye onoobeeranga n’obwesige obw’eddembe. Essuubi lyo teriri mu ggwe, wabula liri mu Kristo. Obunafu bwo bugattibwa n’amaanyi ge, obutamanya bwo n’amagezi ge, okulemwa kwo n’obuyinza bwe obw’ekitalo obutaggwawo. Bw’otyo toli wa kwetunuulirako wadde okwessaako omwoyo, naye omutima gwo gwonna gunabeeranga ku Yesu. Lowoozanga ku kwagala kwe, ku bulungi bwe, ku bulongofu bw’empisa ze. Kristo mu kwegaanyisa kwe, Kristo mu kwetoowaza kwe, Kristo mu bulungi n’obutukuvu bwe, Kristo mu kwagala kwe okutagerwa; (ebyo bye bintu by’osaanidde okufumitirizangako mu bulamu bwo). Kubanga mu kumwagalanga, n’okugendereranga okumufaanana, n’okumwesigiranga ddala, mw’ofuukira okuzzibwa mu kifaananyi kye.OW 77.1

    Yesu agamba nti “Mubere mu Nze.” Ebigambo bino bitegeeza okuwummula n’obugumu era bituwa okwesiga. Nate atuyita nti ” Mujje gyendi,. . . . . . nange nabawmmuza” Mat. 11:28,29. Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabuli nabyo bitegeeza ekintu kye kimu: agamba nti “Sirika eri Mukama, omulindirirenga n’okugumikiriza.” Zab. 37:7. Era ne Isaya n’atuwa obukakafu, nti “Mukutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gamwe.” Is. 30:15. Ekiwummulo kino tekiri mu kutuula butuuzi; kubanga okuyita Omulokozi waffe kw’atuyita mu kusuubiza ekiwumulo mugattiddwamu okukola nti ” Mwetike ekikoligo kyange,. . . namwe muliraba ekiwummulo.” Mat. 11:29. Omutima ogusinga okuwummulira mu Kristo era gwe gusingira ddala okumukolera n’obunyikivu.OW 78.1

    Omuntu bwe yeerowoozako yekka, omutima gwe gugyibwa ku Kristo omuli ensibuko y’obulamu n’amaanyi. Setani ky’ava afuba ennyo bulijjo okuwalula emitima gyaffe okuva ku Mulokozi, mu ngeri eno, n’aziyiza obulamu bwaffe buleme okwegatta ne Kristo. Essanyu ly’ensi eno, ennaku n’okweralikirira eby’obulamu buno, okutunulira ensobi z’abalala, oba okulowooza ku nsobi zaffe n’obutali butukirivu bwaffe; bino byonna oba ekimu ku byo, kiwalula omutima okuguggya ku Yesu. Tomukkiriza okukutwala n’amagezi ge ago agatali gamu. Waliwo abaana ba Katonda ab’amazima bangi, abagala ennyo okukola by’ayagala, era nabo emirundi mingi Setani abasendasenda ne bateeka emitima gyabwe ku nsobi zaabwe ne ku bunafu bwabwe, bw’atyo mu ngeri eno ey’okubaawula ku Kristo, mw’asuubira okubawangulira. Tekitusaanira kumalira birowoozo byaffe ku ffe bennyini, n’okweralikirira nti “Simanyi ndirokolebwa, nantiki? Ebyo byonna biggya emyoyo gyaffe ku Yesu omuli ensibuko y’amaanyi gaffe. Obulamu bwo buteeke mu mikono gya Katonda, era omwesige. Ebirowoozo byo era n’embozi yo bibeere ku Yesu. Omutima gwo guggyemu okubusabuusa n’okutya kwonna. Yogerera wamu ne Paulo nti “Ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze: era obulamu bwe nina kakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yewayo kulwange.” Bag. 2:20. Nywerera mu Katonda. Oyo mwesigwa,era ayinza okukuuma kye wamuteresa. Bwe weeteeka, mu mikono gye, ajja kukutuusa ng’owangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyakwagala.OW 78.2

    Kristo bwe yatwala obuzaaliranwa bw’omuntu, yeegatta n’olulyo lw’omuntu n’ekisiba eky’okwagala ekitayinza kukutuka, wabula ng’omuntu yekka y’ayagadde okukikutula. Bulijjo Setani wakuleetanga ebintu ebisendasenda ng’ayagala tukutule ekisiba ekyo, tulonde okweggya fekka mu mikono gya Yesu. Kino kye kintu kye tuteekwa okwekuuma ennyo, n’okusaba, waleme okubaawo ekintu kyonna ekitusendasenda Okulonda omwami omulala; kubanga kino kiri mu mikono gyaffe okukola oba obutakikola. Naye amaaso gaffe leka tugasse ku Yesu yekka, taalemenga kutukuuma. Tewali kintu kyonna kiyinza kutusikula mu mikono gye. Bwe tunywereza amaaso gaffe ku ye tukyusibwa ne “tufananyizibwa engeri eri okuva mu kitibwa okutuuka mu kitibwa, nga kubwa Mukama (waffe) Omwoyo.” 2 Kol. 3:18.OW 79.1

    Eno y’engeri eyayinzisa abayigirizwa abasooka okufaanana Omulokozi omwagalwa. Abayigirizwa abo bwe baawulira ebigambo bya Yesu, ne bawulira nga bamwetaaga nnyo. Baanoonya, baalaba, baamugoberera. Baaberanga naye mu nnyumba, baalyanga naye; baaberanga naye mu kisenge n’ebweru. Baaberanga naye ng’abayizi mu maaso g’omuyigiriza, ng’abawa bulijjo eby’okuyiga ebiramu ebiva mu kamwa ke eby’amazima gano amatukuvu. Baamutunuliranga ng’abaddu bwe batunulira mukama waabwe, okutegeera kye banaakola. Abayigirizwa abo baali bantu “abakwatibwa byonna nga ffe.” Yak. 5:17. (Era laba Bik. 14:14, 15). Baalina oiutalo okulwana n’ekibi nga ffe. Nabo beetaaganga kisa kya Katonda kyokka, okubayamba okuba n’obulamu obutukuvu.OW 80.1

    Newakubadde Yokana, omuyigirizwa omwagalwa teyayayaaniranga bukulu kyokka, naye era yali mwanguyiriza era ng’asunguwala mangu nga wabaddewo okumwogerako obubi. Naye bwe yeetegereza empisa z’Omwana wa Katonda, ne yeraba obubi bwe, olw’ekyo ne yeetoowaza. Amaanyi n’okugumikiriza, obuyinza n’ekisa; ekitibwa n’obuwombefu, bye yalaganga buli lunaku mu bulamu bw’Omwana wa Katonda, byamwewunyisa era ne bimuleetera mu mutima gwe okwagala okutayogerekeka. Buli lunaku omutima gwe gwawalulirwa eri Kristo, okutuusa ye yenyini bwe yali takyessaako mwoyo olw’okwagala Mukama we. Okwekulumbaza kwe era n’obusungu n’abiwaayo eri okukola kw’obuyinza bwa Kristo. N’ekyavamu, amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu ne galongosa omutima gwe. Okwagala kwe yayagala Kristo ne kuleeta obukyufu mu mpisa ze. Kino kye kiva mu kwegattira ddala ne Kristo.OW 80.2

    Kristo bw’abeera mu mutima gw’omuntu, obuzaaliranwa bw’omuntu oyo bwonna bukyusibwa. Omwoyo gwa Kristo, n’okwagala kwe, bigonza obulamu bw’omuntu oyo bwonna, ne biyimusa mu ye ebirowoozo ebiyayaanira ennyo Katonda era ebyegomba ebintu eby’omu ggulu.OW 81.1

    Yesu bwe yalinnya mu ggulu abagoberezi be teyabawa ku mwoyo, yali nabo yennyini, nga bwe yandibadde nga balaba omusana n’okwagala kwe. Yesu Omulokozi, eyatambulanga nabo, n’anyumyanga nabo, n’asabanga nabo. Eyayogeranga ebigambo eby’okusanyusa era ebireeta essubi mu mitima gyabwe, bwe yali ng’akyayogera nabo ebigambo bino ebirungi, n’asitulibwa mu ggulu, ekire ekya bamalayika bwe kyali nga kimutwala eddoboozi ly’ebigambo bye ne likomawo gye bali nti “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwawo.” Mat. 28:20. Yagenda mu ggulu ng’ali mu kifaananyi ky’omuntu kyennyini. Baategeera nti ali mu maaso g’entebe ya Katonda, ng’akyali Mukwano gwabwe era Omulokozi waabwe; era nti akyategeerera ddala okulumwa kw’omuntu, ng’awaayo omusayi gwe ogw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda, ng’ayolesa mu maaso ga Kitaffe enkovu z’ebibatu bye n’ezebigere bye, okujjukiza omuwendo gwe yasasula ku lw’abanunule be. Baategera nti agenze mu ggulu okubateekerateekera ebifo, era nti wakukomawo abatwale gy’ali.OW 81.2

    Bwe baaku’ngana awamu nga Mukama waffe amaze okugenda mu ggulu, bayagalanga nnyo okuwaayo okusaba kwabwe mu linya lya Yesu. Baafukamiranga n’obuwombefu obungi ennyo, ne baddamu okusuubiza kwe yasuubiza nti “Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linya nyange. . . Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe litukirire.” Yok. 16:23,24. Bayimusanga waggulu emikono egy’okukkiriza, nga boogera ebigambo bino eby’amaanyi nti “Kristo eyafa, oba eyazukira, ali ku mukono ogwaddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.” Bal. 8:34. Olunaku lwa Pentekote terwalwa ne lutuuka, n’omubeezi n’atuuka Kristo gwe yabagambako nti “Anabanga mu mmwe.” Era nti “Kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, omubeezi talibajjira; naye bwendigenda ndimutuma gyemuli.” Yok. 14:17; 16:7. Okuva olwo, Kristo n’abeeranga bulijjo mu mitima gy’abaana be. Ne beegattira ddala naye okusinga bwe yali ng’akyali nabo yennyini. Omusana gwe, n’okwagala kwe, n’amaanyi ge byeragiranga mu bo, abantu bwe baabalabanga, ne “bewunya, nebabetegereza nga baali wamu ne Yesu.” Bik. 4: 13. Nga Kristo bwe yali eri abayigirizwa be abaasooka, era bw’atyo bw’ayagala ddala okuba eri abaana be ab’omu biro bino; kubanga mu kusaba kwe kuli okwakomererayo, akabiina kali akatono ak’abayigirizwa nga Kamwetoolodde. Yagamba nti, “Sibasabira bano bokka, naye n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe.” Yok. 17:20.OW 82.1

    Yesu yatusabira, yasaba tubeere bumu naye, era nga ye bw’ali obumu ne Kitaawe. O! nga kutabagana kwa kitalo kuno! Omulokozi yeeyogerako nti “Omwana tainza kukola kintu, bwatalabira ku kitaawe, ” Yok. 5:19. “Kitange bw’abeera mu nze akola emirimu gye.” Yok. 14:10. Kale obanga Kristo ali mu mitima gyaffe,talemenga kukolera muffe “okwagala n’okukola, olw’okusima kwe okulungi.” Baf. 2:13. Tuli bakukola nga ye bwe yakola; era tuli bakulaga omwoyo gwe gumu nga ogugwe. Era olw’okumwagala n’okubeera mu ye, “Tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo.” Bef. 4:15.OW 83.1

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents