Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
Essuubi Eritaggwaawo - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    27 — Okudda Obuggya Okw&pos;omu Klseera Klno

    Buli yonna ekigambo kya Katonda gye kizze kibuulirwa mu bwesigwa, wabaddeyo obukakafu obulaga nga obubaka obwo buva wa Katonda. Omwoyo wa Katonda abadde atambulira wamu n’obubaka bw’abaddu be, olwo ekigambo ne kiba n’amaanyi. Abonoonyi bawuliranga nga bakwatiddwako. “Omusana ogw’amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi,” gwamulisanga mu bisenge by’emmeeme zaabwe, na buli kigambo ekyakwekebwa, ne kibikkulibwa. Baawuliranga okulumirizibwa okwamaanyi mu birowoozo ne mu mitima gyabwe. Baalabanga ekibi n’obutuukirivu era n’omusango ogujja. Baawuliranga muli okubeerawo kw’obutuukirivu bwa Yakuwa, era ne bamuwuliranga ng’abakowoola mu ntiisa ey’ekitalo, wakati mu kusingibwa omusango n’obutali bulongoofu, nga bali mu maaso g’oyo Akebera emitima. Wakati mu kuboyaana, ne babuuzanga nti: “Ani alindokola mu mubiri ogw’okufa kuno?” Wabula omusaalaba ogw’e Kalivaaliyo bwe gwababikkulirwanga, nga kuliko ssaddaaka ey’emirembe gyonna ku lw’ebibi by’abantu, ne balaba nga tewali kirala kyonna, okujjako ekisa kya Kristo kyokka ekiyinza okutangirira okusobya kwabwe; kino kyokka kye kiyinza okutabaganya omuntu ne Katonda. Wakati mu kukkiriza n’okwetoowazanga, ne betwalira Omwana 11:26.EE 296.4

    gw’endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi. Okuyita mu musaayi gwa Yesu ye “n’aleka ebibi ebyedda.”EE 297.1

    Emyoyo gino ne gibala ebibala ebigwana olw’okwenenya. Bakkirizanga era ne babatizibwanga, ne bayimukanga okutambulira mu bulamu obuggya - nga bafuuse bitonde biggya mu Kristo Yesu; obutaddayo kwegombeza nate mu kwegomba okw’olubereberye, naye olw’okukkiriza, bagoberereranga Omwana wa Katonda yonna gy’anayitanga, era boolese empisa ze, era beetukuze era nga ye bw’ali omutukuvu. Ebyo bye baakyawanga, kaakano nga bye byasinga okwagala, ate ebyo bye baayagalanga, nga babikyaye. Abamalala era n’abeegulumiza, ne bafuuka abakakkamu era abateefu mu mutima. Abakatinko ne titimbuli, ne babeera bawombeefu ddala. Abawoozi ne bassangamu Katonda ekitiibwa, abatamiivu ne baddayo mu mbeera ennungi, n’abatalina mpisa ne balongooka. Ebikolwa eby’amalala ag’ensi ne babiteeka wabbali. Abakristaayo nga tebanoonya “buyonjo bwa kungulu, obw’okuluka enviiri n’okunaanika ezaabu n’okwambala engoye; naye omuntu ow’omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, ogw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.” l Peetero 3:3,4.EE 297.2

    Okubuulira okw’okudda obuggya kwaleeteranga abantu okwekebera mu mitima n’okwewombeeka. Kwabeerangamu okuyita aboonoonyi, bayaayaanire okukwatirwa ekisa kya katonda nga beegulira omusaayi gwa Kristo. Abasajja era n’abakazi ne bameggananga ne Katonda wakati mu kusaba olw’okulokola emyoyo gy’abantu. Ebibala ebyavanga mu kudda obuggya okwo nga birabikira mu bulamu bw’abantu, si Iwa kwefiiriza n’okwerumya, wabula nga basanyuka olw’okulabibwa nga basaanidde okusseekimu mu kuvumibwa n’okubonaabonera wamu ne Kristo. Ensi yalaba obukyufu obwali mu bantu abeetwalira erinnya lya Yesu. Ebyalo ne biganyulwanga byakitalo olw’okubeerawo kw’abantu abo. Baali wamu ne Kristo, ne basiga ensigo ez’Omwoyo okukungula obulamu obutaggwaawo.EE 297.3

    Kiyinza okuboogerwako nti: “baanakuwazibwa n’okwenenya.” “Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw’obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw’omu nsi kuleeta okufa. Kubanga okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba okungi, era n’okuwoza ensonga yammwe, era n’okusunguwala, era n’okutya, era n’okwegomba, era n’okunyiikira, era n’okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo.” 2Abakkolinso 7: 9-11.EE 297.4

    Ebyo bye biva mu kukola kw’Omwoyo wa Katonda. Tewabaawo kwenenya kwa mazima okujjako nga wabaddewo okudda obuggya mu mutima. Omwonoonyi amalirira okuzzaayo ekyo ky’abadde anyaze, ne yeenenya ebibi bye, n’addamu okwagala Katonda era ne muntu munne, olwo lw’ayinza okwekakasa nga afunye emirembe ne Katonda. Ekyo kye kyabangawo mu myaka egyo oluvannyuma Iw’okuzza obuggya eddiini mu bantu. Balabirwanga ku bibala byabwe olw’okuweebwa Mukama omukisa mu kulokola emyoyo gy’abantu n’okubasitula mu mbeera zaabwe.EE 297.5

    Kyokka mu kudda obuggya okw’omu biro bino, mulabikiddemu enjawulo nnene ddala bw’ogerageranya okw’omu biro biri omwalabikiranga ekisa kya Katonda olw’ebyo ebyaddiriranga mu kuweereza kw’abaddu ba Katonda. KyamazimaEE 297.6

    wabaddewo okuyaayaana kungi ennaku zino, era bangi ne balaga nga bakyuse, n’okuyingira ne bayingira bangi mu makanisa; kyokka ebivaamu si byebyo ebiyinza okukukkirizisa nti waddewo okweyongerako okwamazima mu bulamu obw’Omwoyo. Omuliro gusooka ne gwaka okumala akaseera, era mangu nnyo ne guzikira, ekizikiza ne kisingawo nnyo okusingako ne mu kusooka.EE 298.1

    Okukoowoola abantu bakkirize Katonda ennaku zino okusinga obungi, kusinga kukwata ku kufuumitiriza okw’omu mutwe, olw’okucaamukiriza ebirowoozo, n&pos;okuleetayo ekipya ekyewuunyisa. Abakyufu abafuniddwa olwo ne baba nga balina okwagala kutono ddala okuwuliriza amazima ga Bayibuli, okwagala kutono eri ekigambo ekya bannabbi era n&pos;abatume. Okujjako nga mu kusinza okwo mubaddemu ebikoleddwa ebitali bya bulijjo, okusinza okwo tekubakwatako. Obubaka obutaliimu kucaamuukirira, tebusitula birowoozo bya bantu. Olwo okulabula okuli mu kigambo kya Katonda okutegerekeka obulungi, okutuukira ddala ku kwegomba okuli mu bitundu byabwe eby&pos;omunda, ne kutateekebwako birowoozo.EE 298.2

    Buli mukyufu akyukidde ddala, emboozi esinga okumunyumira mu bulamu bwe yandibadde eyo ekwata ku nkolagana ye ne Katonda n’ebyo eby’obulamu obutaggwaawo. Naye, omwoyo ogw’okwewonga mu maaso ga Katonda guliruddawa mu kkanisa ezisinga obungi leero? Abakyufu tebayinza kweresa malala gaabwe awamu n’okwagala ensi. Tebakyayagala kwerumya, beetikke omusaalaba, bagoberere Yesu omuteefu era omuwombeefu mu mutima, nga tebannakyuka. Eddiini efuuse eky&pos;okuzannyisa eri abakafiiri n&pos;abatakkiriza kubanga bangi ku bagirimu tebalina kye bamanyi ku misingi gy’ayo emikulu. Amaanyi ag’okutya Katonda kumpi gawedde mu kkanisa ezisinga obungi. Obubaga obw’okwesanyusaamu, katemba mu kkanisa, obutale mu kkanisa, ennyumba ezitemagana, okwewunda kw’abantu, byonna bisaanikidde ebirowoozo by’abantu ku Katonda. Ettaka, ebitundibwa, n&pos;okumalibwawo ensi, bye bijjuzza emitima, olwo ebintu eby’obulamu obutaggwaawo, ne biyitawo nga tebirowoozeddwako.EE 298.3

    Kyokka newakubadde nga waddewo okudda ennyuma mu kukkiriza ne mu bulamu obw’omwoyo, wakyaliwo abagoberezi ba Kristo abamazima mu kkanisa zino. Katonda bw&pos;aliba tannasalira nsi musango omulundi ogusembayo, wajja kubaawo okudda obuggya okw’okutya Katonda mu bantu be ng&pos;okwo okutalabwangako okuva mu biro by&pos;abatume. Omwoyo n&pos;amaanyi ga Katonda byakuyiibwa ku baana be. Era mu kiseera ekyo kyennyini, bangi baakweyawula okuva mu makanisa ago agaggyewo okwagala Katonda n’ekigambo kye ne gazzaawo okwagala ensi. Bangi ku baweereza n&pos;abantu, baakusanyukira amazima ago Katonda gaasiimye gabuulirwe mu kiseera ekyo olw’okuteekateeka abantu okusisinkana Mukama mu kujja kwe omulundi ogwookubiri. Omulabe w&pos;emyoyo egyo ayagala nnyo okuziyiza omulimu ogwo; era ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, waakuteekawo ekikyefaanaanyiriza nga ayagala okugulemesa. Waakulabisa nga Katonda ataddewo omukisa ogw’enjawulo mu kkanisa ezo zaalinywereza mu bulimba bwe, bwe walirabika nga awaliwo okudda obuggya okw&pos;omuggundu. Bangi baakujaganya nti Katonda abakoledde ebikulu, so nga omulimu gukolebwa mwoyo mulala. Setaani wakwefuula munnaddiini ng’ayagala okubunyisa obulimba bwe eri ensi zonna ez’Obukristaayo.EE 298.4

    Mu kudda obuggya okuzze kubeerawo mu myaka nga amakumi-ataano egiyise, namwo muzze mubeeramu okukola kw’omubi, okujja okweyongeramu amaanyi muEE 298.5

    okwo okulijja mu kiseera eky’omu maaso. Waliwo okucaamuukiriza ebirowoozo, okwetabula kw’amazima n’obulimba, ebiriyingizibwawo olw’okubuzaabuza. Kyokka tewaba n’omu alimbibwalimbibwa. Si kizibu okwetegereza obulimba buno nga okozesa ekigambo kya Katonda. Abantu bwe balagajjalira obujulirwa obw’ekigambo kya Katonda, ne bava ku mazima agategerekeka obulingi era agakebera emitima omuli okwerumya n’okweresa ensi, olwo nga tukakasa nti mu bo temuli mukisa gwa Katonda. Era bw’ogoberera enkola ya Kristo gye yateekawo, “Mulibategeerera ku bibala byabwe” (Matayo 7:16), kitegerekeka bulungi nga abantu bano tebakolera mu Mwoyo wa Katonda.EE 299.1

    Mu mazima ag’ekigambo kye, Katonda mwe yeebikkulira eri abantu be; era buli muntu yenna agakkiriza gamufuukira engabo eri obulimba bwa Setaani. Obulimba kye buvudde busasaana ennyo mu nsi, kwe kuba nti abantu balagajjalidde okussaayo omwoyo eri amazima gano. Amateeka ga Katonda n’obukulu bwago, kumpi biggiddwaako amaaso wonna mu nsi. Endowooza enkyamu ku mateeka ga Katonda, mu kuba ag’olubeerera, n&pos;okubeera abawulize gye gali, ereeseewo ensobi mu kukyuka kw’abantu awamu n’okwetukuza, n’ekivuddemu kwe kussa omutindo gw’ekkanisa mu bulamu obw’omwoyo. Awo we wali ekyama ky’obutabaawo Mwoyo n’amaanyi ga Katonda mu nkuŋŋaana ez&pos;okudda obuggya ez’omu biro bino.EE 299.2

    Mu ddiini nnyingi, waliyo abantu abasibwamu ekitiibwa olw’obulamu bwabwe obw’omwoyo, abategeera amazima gano era ne banakuwala. Pulofeesa Edwards A. Park ng’ayogera ku kabi kano akali mu ddiini agamba bw’ati: “Akabi akasinga obukulu be babuulizi abali ku bituuti okulemwa okunyweza amateeka ga Katonda. Mu biro biri, ku bituuti abantu kwe baawuliriranga eddoboozi eriraga enjawulo wakati w’obulungi n’obubi. Ababuulizi baffe abegombesa baabuuliranga obubaka obw’ekitiibwa nga bagoberera ekyokulabirako ky’Omuyigiriza omukulu, nga bassaamu ekitiibwa amateeka, ebiragiro n’okulabula okubirimu. Baddiŋŋananga amazima gano ag’emirundi ebiri nti, amateeka bwe buwandiike obw’obutuukirivu bwa Katonda, era nga omuntu atayagala mateeka aba tayagala njiri; kubanga amateeka n’enjiri, y’endabirwamu emulisa empisa za Katonda. Akabi kano kagenda kuddirirwa akalala, ke k’obutalaba bubi obuli mu kibi, obunene bw’akyo, ne kye kiyinza okukosa. Obutuufu bw’etteeka mu kubeera omuwulize, bwenkanankana n’obubi obuli mu butaba muwulize...EE 299.3

    “Ekitambulira awamu n’obubi obwo obwogeddwako, ke kabi ak’okulengezza obwenkanya bwa Katonda. Ekigendererwa ekiriwo ensangi zino ku bituuti, kwe kufuba okwawula obutuukirivu bwa Katonda okuva ku kisa kya Katonda, okufuba okusanyaawo ekisa kya Katonda kidde mu birowoozo okusinga okukisukkulumya ng’etteeka. Enjigiriza empya ey’eddiini eyawula Katonda kye yagatta awamu. Amateeka ga Katonda galiwo ku Iwa bulungi oba bubi? Galiwo ku Iwa bulungi. N’olwekyo obutuukirivu bwa Katonda bulungi; kubanga omwo mw’atuukiririza amateeka ge. Empisa ey’okulengezza amateeka ga Katonda awamu n&pos;obutuukirivu bwe, eraga obunene n’okukosebwa kw’abantu olw’obutaba bawulize, ereetera abantu okufuna omuze ogw’okunyooma ekisa kya Katonda ekyateekawo omutango olw’ekibi.” Bw’etyo enjiri n’eggwaamu ensa n’obukulu bw’ayo mu birowoozo by’abantu, era mangu nnyo ne basuulira ddala eri Bayibuli yennyini.EE 299.4

    Abayigiriza b’eddiini bangi baggumiza nti okufa kwa Kristo kwaggyawo amateeka, n’olwekyo abantu ba ddembe okweyisa nga bwe balaba. Bangi bagatwala nga ekikoligo, olwo mukwagala okujja abantu mu bufuge bw’amateeka, ne balaga nti eddembe liri mu kusanyukira njiri.EE 300.1

    Kyokka abatume ne bannabbi si bwebatyo bwe baalabangamu amateeka ga Katonda. Dawudi yagamba: “Era naatambulanga nga neeyabya; kubanga nnoonyeezza ebiragiro byo.” Zabbuli 119: 45. Omutume Yakobo eyawandiika oluvannyuma Iwa Kristo okufa, ayogera ku mateeka ekkumi nga “etteeka eriringa kabaka w’amateeka,” era nti “amateeka amatuukirivu ag’eddembe.” Yakobo 2: 8; 1: 25. Ate Yokaana eyabikkulirwa kumpi nga wayise emyaka ataano Kristo kasokanga akomererwa, alangirira omukisa eri abantu bonna nti: “Baweereddwa omukisa abakwata ebiragiro bye, balyoke babeere n’obuyinza ku muti ogw’obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango.” Kubikkulirwa 22:14.EE 300.2

    Aboogera nti okufa kwa Kristo kwaggyawo amateeka ga Katonda tebalina musingi gwa Byawandiikibwa. Singa kyali kiyinzika amateeka ne gaggibwawo oba ne gakyusibwamu, olwo Kristo tekyandimwetaagisizza kufa nti alokola omuntu okuva mu musango gw’ekibi. Okufa kwa Kristo kwokka, ng’oggyeeko okuba nti teyagajjaawo, kukakasa nga amateeka ga Katonda gaalubeerera. Omwana wa Katonda yajja “okukuza amateeka n’okugassaamu ekitiibwa.” Isaaya 42: 21. Yagamba nti: “Temulowooza nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi;” “eggulu n’ensi okutuusa Iwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak’omu mateeka tekaliggwaawo.” Matayo 5: 17, 18. Era yeeyogerako mu zabbuli ng’agamba nti: “Nsanyuka okukola by’oyagala ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” Zabbuli 40:8.EE 300.3

    Amateeka ga Katonda nga bwe gali, tegakyukakyuka. Ago ge gabikkula empisa n’ebyo Omuteesi waago by’ayagala. Katonda kwagala, n’amateeka ge ga kwagala. Amateeka abiri amakulu agali mu mateeka kwe kwagala Katonda era n’okwagala muntu munno. “Okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.” Abaluumi 13:10. Empisa za Katonda bwe butuukirivu n’amazima; eyo y’enkula y’amateeka ge. Omuyimbi wa zabbuli agamba: “Amateeka go ge mazima:” “kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.”Zabbuli 119: 142, 172. Eran’omutume Pawulo n’agamba nti: “Bwekityo amateeka matuukirivu, n’ekiragiro kituukirivu, kituukirivu kirungi.” Abaluumi 7:12. Olw’okubanga amateeka gegategeeza Katonda by’ayagala era n’ekyo kyali, gateekwa okubeerera ng’Omuteesi waago.EE 300.4

    Mu kukyusibwa ne mu kutukuzibwa abantu mwe bayita okutabaganyizibwa awamu ne Katonda olw’okukkaanyiza awamu n’amateeka ge. Olubereberye, omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Yali atabagana bulungi n’amateeka ga Katonda; obutuukirivu obw’amateeka ge nga buwandiikiddwa ku mutima gwe. Naye ekibi ne kimwawula n’Omutonzi we. Nga takyayinza kwolesa kifaananyi kya Katonda. Omutima gwe nga gulwanagana n’ebiragiro ebiri mu mateeka ga Katonda. “Kubanga okulowooza kw’omubiri bwe bulabe eri Katonda: kubanga tekufiigibwa mateeka ga Katonda, kubanga n’okuyinza tegakuyinza.” Abaluumi 8: 7. Naye “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka,” omuntu atabaganyizibwe ne Katonda. Omuntu ayinza okuzzibwayo mu kutabagana obulungi n’Omutonzi we lwa bulungi bwa Kristo bwokka. Omutima gwe kigugwanira okuzzibwa obuggya lwa kisa kya Katonda; kimugwanira okufunaEE 300.5

    obulamu obuggya okuva waggulu. Obukyufu obwo kwe kuzaalibwa obuggya, awatali ekyo, Yesu agamba, “tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”EE 301.1

    Omutendera ogusooka mu kutabaganyizibwa ne Katonda kwe kuwulira okulumirizibwa ekibi. Kubanga “ekibi kwe kumenya amateeka ga Katonda:” anti “amateeka ge gamanyisa ekibi.” 1 Yokaana 3:4; Abaluumi 3:20. Omwonoonyi okusobola okulaba obubi bwe aba alina okutunuulira empisa ze ng’azigerageranya n’etteeka lya Katonda ekkulu era erituukiridde. Ago y’endabirwamu eraga obutuukirivu obw’empisa ezituukiridde naye n’asobola okulaba enfunnyiro eziri mu bubwe.EE 301.2

    Amateeka gabikkulira omuntu ebibi bye, kyokka tegayinza kumuwonya. Wadde nga gasuubiza obulamu eri abawulize, era gategeeza nti omwonoonyi waago agabana kufa. Amawulire amalungi aga Kristo ge gokka omwonoonyi mw’ayita okuweebwa eddembe okuva mu musango oba mu kugwagwawazibwa kw’ekibi. Kiba kimugwanira okwenenya eri Katonda, nnannyini mateeka agamenyeddwa; era n’okuyita mu kukkiriza Kristo ssadaaka etangirira. Olwo Katonda Iw’ayinza “okuleka ebibi ebyakolebwanga edda,” awo n’agabana ku kikula kya Katonda. Kaakano nga mwana wa Katonda, olw’okuweebwa omwoyo ow’okufuuka abaana, atukaabya nti: “Aba, Kitaffe!”EE 301.3

    Olw’ekyo, aba alina eddembe okumenya amateeka ga Katonda? Pawulo agamba: “Kale amateeka tuggyawo olw’okukkiriza? Kitalo: nedda, tuganyweza bunyweza.” “Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?” Ne Yokaana n’agamba nti: “Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” Abaluumi 3:31; 6:2; 1 Yokaana 5:3. Mu kuzaalibwa obuggya, omutima guzzibwayo mu kutabagana obulungi ne Katonda, era ne mu kutabagana awamu n’amateeka ge. Enkyukakyuka eno enkulu ennyo bweti bw&pos;etuuka mu bulamu bw’omwonoonyi, olwo aba avudde mu kufa okutuuka mu bulamu, okuva mu kibi okudda mu butuukirivu, okuva mu bumenyi bw’amateeka n’okwewaggula okudda mu kubeera omugonvu era omuwulize. Obulamu obwedda obwali tebukwatagana ne Katonda nga buweddewo; obulamu obuggya obw’okutabagana, obw’okukkiriza n’okwagala, nga butandise. Olwo, “obutuukirivu bw’amateeka, bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo.” Abaluumi 8:4. “Amateeka go nga ngaagala! Ago genfumiitiriza okuzibya obudde.” Zabbuli 119:97.EE 301.4

    “Eteeka lya Mukama lyatuukirira erikomyawo emmeeme.” Zabbuli 19: 7. Awatali mateeka, abantu tebayinza kulaba butukuvu na butuukirwu bwa Katonda mu ngeri entuufu wadde okulaba obwonoonefu n’obutali bulongoofu bwabwe. Tebayinza kuwulira kulumirizibwa kwa kibi era tebayinza kuwulira bwetaavu bwa kwenenya. Olw’okubanga tebayinza kweraba nga bwe bali abamenyi b’amateeka ga Katonda, bwekityo tebayinza kulaba bwetaavu bwa musaayi gwa Kristo ogusonyiyisa ebibi. Bafuna obulokozi nga tebakyuse mu mutima wadde okufuna obulamu obuggya. Bwebatyo ne bakyuka kungulu, era bangi ne bayingira ekkanisa nga tebegattanga na Kristo.EE 301.5

    Endowooza eziwabya ezikwata ku kutukuzibwa, nazo nga ziva mu bulagajjavu oba okujeemera amateeka ga Katonda, zikoze kinene nnyo ku madiini mangi aga leero. Endowooza zino zirimu enjigiriza enfu era za bulabe okusinziira ku ebyoEE 301.6

    ebivuddemu; era olw’okubanga zaagaddwa nnyo abantu bangi, zoongera okulaga oba nga ddala abantu abo bategeera Ebyawandiikibwa kye biyigiriza ku nsonga eno.EE 302.1

    Okutukuzibwa njigiriza eri mu Bayibuli. Omutume Pawulo mu bbaluwa ye gye yawandiikira ekkanisa y’Abasessaloniika, agamba nti: “Kubanga ekyo Katonda ky’ayagala, okutukuzibwa kwammwe.” Era n’abasabira ng’agamba nti: “Era Katonda ow’emirembe abatukulize ddala.” lAbasessaloniika 4: 3; 5: 23. Bayibuli eyigiriza bulungi nnyo okutukuzibwa kye kitegeeza era n’engeri gye kufunibwamu. Omulokozi yagamba abayigirizwa be nti: “Obatukuze mu mazima, ekigambo kyo ge mazima.” Yokaana 17: 17. Ne Pawulo ayigiriza nti ssaddaaka ey’abamawanga “etukuzibwe Omwoyo Omutukuvu ” Abaluumi 15: 16. Olwo omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu gwe guliwa? Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Naye bw’alijja Omwoyo ow’amazima, anaabalurjgamyanga mu mazima gonna.” Yokaana 16: 13. N&pos;omuyimbi wa zabbuli agamba nti: “Amateeka go ge mazima.” Ebiragiro ebikulu eby*obutuukirivu ebiri mu mateeka ge bibikkulibwa eri omuntu okuyita mu kigambo kya Katonda awamu n&pos;Omwoyo we. Era olw’okubanga amateeka ga Katonda “matukuvu, matuukirivu, malungi,” obuwandiike obw’obutukuvu bwa Katonda, kitegeeza nti n’empisa eziwundiddwa mu buwulize obw’amateeka ago, nazo ziba ntukuvu. Kristo ky&pos;ekyokulabirako ekituukiridde eky&pos;emmpisa ng’ezo. Agamba: “Nnakwata ebiragiro bya kitange.” “Kubanga nkola bulijjo by’asiima.” Yokaana 15: 10; 8: 29. Abagoberezi ba Kristo baakumufaanana - olw’ekisa kya Katonda babeere n’empisa ezikwatagana obulungi n’amateeka ge amatukuvu. Okwo kwe kutukuzibwa nga Bayibuli bw’ekuyigiriza.EE 302.2

    Engeri eyo eyinza kutuukibwako okuyita mu kukkiriza Kristo olw’amaanyi ag&pos;Omwoyo wa Katonda abeera mu ffe. Pawulo abuulirira abakkiriza nti: “Mutuukirizenga obulokozi bwammwe n’okutya n’okukankana; kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n&pos;okukola olw’okusiima kwe okungi.” Abafiripi 2:12,13. Omukristaayo muli awulira okukola kw&pos;amaanyi g’ekibi, naye agumiikiriza wakati mu kulwana nakyo. Era wano we yeetagira obuyambi okuva eri Kristo. Obunafu bw&pos;omuntu bwegattira wamu n&pos;amaanyi ga Katonda, olwo okukkiriza ne kwogera nti: “Naye Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.” 1 Abakkolinso 15: 57.EE 302.3

    Ebyawandiikibwa bitulaga nga okutukuzibwa kwa lubeerera. Omwonoonyi bw&pos;akyuka n’afuna emirembe ne Katonda okuyita mu musaayi gwa Yesu ogutangirira, olwo Iw’abeera atandise obulamu Obukristaayo. Kaakano, ng’alina “okuyitirira okutuuka mu bukulu,” akule, “okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky’obukulu obw’okutuukirira kwa Kristo.” Omutume Pawulo agamba nti: “Naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkunuukiriza ebyo ebiri mu maaso, nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.” Abafiripi 3:13,14. Ne Peetero atuteerawo emitendera omuyitibwa okutuuka ku kutukuzibwa kwa Bayibuli: “Bwe muleeta ku Iwammwe okufuba kwonna, ku kukkiriza kwammwe mwongerengako obulungi, era ku bulungi bwammwe okutegeera; era ne ku kutegeera kwammwe okwegendereza; era ne kukwegendereza kwammwe okugumiikiriza; era ne kukugumiikiriza kwammwe okutya Katonda; era ne ku kutya Katonda kwammwe okwagala abooluganda; era ne kukwagala kwammwe abooluganda okwagala.... Kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n’akatono.” 2Peetero 1:5-10.EE 302.4

    Abo bonna abafuna obutukuvu obwa Bayibuli, baakulabikiramu omwoyo gw’obwetoowaze. Okufaanana ne Musa, babeera baleze ku butuukirivu obw’ekitiibwa kya Katonda, ne beeraba nga bwe batasaanira bwe beegerageranya n’obutukuvu n’obutuukirivu obususse oby’Oyo abeerawo emirembe gyonna.EE 303.1

    Nnabbi Danieri alaga ekyokulabirako eky’okutukuzibwa okw’amazima nga bwe kyandifaaanye. Obulamu bwe bwonna yabumalira mu kuweereza Mukama we. Yali musajja “omwagalwa ennyo” (Danieri 10:11) eri eggulu. Kyokka mukifo ky’okwegulumiza nga bw’ali omulungi era omutukuvu, nnabbi ono assibwamu ekitiibwa yatwala ekibi kya Isiraeri ne yeegayirira mu maaso ga Katonda ku lw’abantu be nti: “Kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi.” “Twayonoona, twakola bubi.” Agamba nti: “Awo bwe nnali njogera, era nga nsaba, era nga njatula okwonoona kwange n’okwonoona kw&pos;abantu ba Isiraeri, era nga ndeeta okwegayirira kwange mu maaso ga Mukama Katonda wange.” Era Omwana wa Katonda bwe yamulabikira oluvannyuma ko ng’azze okumutegeeza, Danieri agamba nti: “So ne mutasigala mu nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange ne bufuuka obuvundu mu nze ne ssiba na maanyi nate.” Danieri 9:18, 15,20; 10: 8.EE 303.2

    Yobu bwe yawulira eddoboozi lya Mukama wakati mu mpewo ey’akazimu, yayogera nti: “Kyenvudde neelamwa ne nneenenya mu nfuufu n&pos;ewu” Yobu 42: 6. Okutuusa Isaaya Iwe yalaba ekitiibwa kya Mukama, era n’awulira nga bakkerubi boogerera waggulu nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow’eggye,” naye lwe yayogera nti: “Zinsanze! Kubanga nfudde.” Isaaya 6: 3,5. Pawulo bwe yatwalibwa mu ggulu eryookusatu yawulira ebigambo ebitayogerekeka, omuntu by’atasobola kwatula, so nga yeeyogerako nga “omuto okusinga abato ab’omu batukuvu.” 2Abakkolinso 12: 2-4; Abaefeso 3:8. Yali Yokaana omubatiza eyatuulanga mu kifiiba kya Yesu n’alaba ku kitiibwa kye, eyagwa wansi ku bigere bya malayika n’aba ng’afndde. Kubikkulibwa I: 17.EE 303.3

    Tewabaawo kwegulumiza wadde okwenyumyako nga bwe baafuna eddembe okuva mu kibi eri abo abatambulira mu kisiikirize ky’omusaalaba gwa Kristo. Kubanga bawulira nga ekibi kyabwe kye kyavaako obulumi obwakutula omutima gw’Omwana wa Katonda, era ekyo ne kibaleetera okwekakkanya. Abali okumpi ne Yesu balaba bulungi obunafu n’obwonoonefu bw’omuntu, era ng’essuubi lyabwe lyokka liri mu bulungi bw&pos;Omulokozi eyakomererwa era n’azuukira.EE 303.4

    Okutukuzibwa okwogerwako ensangi zino mu ddiini eziri mu nsi, kubuutikiddwa okwegulumiza n’okunyooma amateeka ga Katonda akabonero akalaga nga kwabunaayira okuva ku ddiini y’omu Bayibuli. Abakwogerera bayigiriza nti okutukuzibwa kufunibwa mbagirawo, era nga bayita mu kukkiriza kyokka okufuna obutuukirivu. “Kiriza kyokka,” bwe bagamba, “onooweebwa omukisa.” Aweereddwa omukisa talina kirala kyonna kyalina kukola. Mu ngeri yeemu bagaana n’obuyinza obw’amateeka ga Katonda nga bagamba nti baasumululwa okuva mu bufuge bw’okukuuma amateeka. Naye kisoboka abantu okuba abatukuvu, ne babeera bumu n’ekyo Katonda ky’ayagala era ne mu mpisa ze, nga tebali wamu n’ebiragiro bye ebyo ebiraga enkula ye ne ky’ayagala, era ebiraga ebimusanyusa?EE 303.5

    Okwagala okuteekawo eddiini enyangu eterina ky’ekwagaza kukola, temuli kwerumya, tewali kweyawula ku busirusiru bwa nsi, kuleetedde okukkiriza, era okukkiriza kwokka, okuba okw’omunguuba; naye ekigambo kya Katonda kigamba kitya? Omutume Yakobo agamba: “Kigasa kitya, baganda bange, omuntu bw’ayogera ng’alina okukkiriza, naye n’ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?.... Naye oyagala okutegeera gwe omuntu ataliimu, ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa. Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yawaayo omwana we Isaaka ku Kyoto? Olaba ng’okukkiriza kwakolera wamu n’ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw’ebikolwa bye.... Mulaba ng’omuntu aweebwa obutuukirivu Iwa bikolwa so si Iwa kukkiriza kwokka.” Yakobo 2: 14-24.EE 304.1

    Obujulirwa obw’ekigambo kya Katonda buwakanyiza ddala enjigiriza eno ewabya ey’okukkiriza okutaliiko bikolwa. Okukkiriza si kwe kuleetera omuntu okusiimibwa eggulu awatali kugondera kisa kimuweereddwa, okwo kukkiriza bukkiriza; kubanga okukkiriza okw’amazima kusimbukira ddala mu bisuubizo n’ebyo Katonda by’ataddewo nga bwe biri mu Byawandiikibwa.EE 304.2

    Tewabaawo abeerimba n’endowooza egamba nti bayinza okubeera abatukuvu ng’ate bwe bagenderera okumenya amateeka ga Katonda. Okukola ekibi ekigenderere kusirisa eddoboozi ly’Omwoyo alaba ebikolebwa era ne kwawula omuntu ne Katonda. Anti “ekibi kwe kumenya amateeka.” Ate, “buli muntu yenna akola ekibi (kwe kugamba nti amenya amateeka) nga tamulabangako, so tamutegeera ” 1 Yokaana 3: 6. Newakubadde nga Yokaana mu bbaluwa ye asinga kwogera ku kwagala, kyokka takaluubirirwa kwogera ne ku abo abeegamba nti baatukuzibwa ng’ate bwe bali mu kumenya amateeka ga Katonda. “Ayogera nti mmutegedde, n’atakwata biragiro bye, ye mulimba, n’amazima tegali mu oyo. Naye buli akwata ekigambo kye, mazima ng’okwagala kwa Katonda kumaze okutuukirizibwa mu oyo.” 1 Yokaana 2:4, 5. Awo we wali ekigezo kya buli kukkiriza kwa muntu. Tetuyinza kukkiriza butuukirivu bwa muntu awatali kumuleeta ku kigera kyokka eky’obutuukirivu bwa Katonda obuli mu ggulu ne ku nsi. Singa abantu tebawulira buzito bw’amateeka ag’empisa, singa bawewula era ne batoowaza ebiragiro bya Katonda, singa bamenya eteeka erisinga obutono ku mateeka gano, era ne bayigiriza abantu bwe batyo, tebayinza kuweebwa kitiibwa mu maaso g’eggulu, era naffe tutegeera nga bye boogera tebiriiko musingi.EE 304.3

    Ate okwogera nti sirina kibi, kyo ku bwakyo kikakasa nga ayogera atyo aba tannategeera kutukuzibwa okw’amazima kye kitegeeza. Lwa nsonga aba tamanyi butukuvu bwa mirembe gyonna n’obutuukirivu bwa Katonda; oba okumanya kye balina okubeera abo abaagala okutabagana n’empisa ze; kubanga aba tannategeera butukuvu n’okwagala kwa Kristo okwekitalo era n’obubi bw’ekibi, omuntu alyoke yeerowooze nga bwali omutukuvu. Gyakoma okubeera ewala ye ne Kristo, era, gyakoma obutategeera bulungi mpisa za Katonda awamu ne by’ayagala, gyakoma okweraba nga bwali omutukuvu.EE 304.4

    Okutukuzibwa okulagibwa mu Byawandiikibwa kuzingiramu omuntu yenna - omwoyo, obulamu awamu n’omubiri gwe. Pawulo yasabira Abasessaloniika nti: “Omwoyo gwammwe, n’obulamu n’omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.” 1 Abasessaloniika 5:23. Ate era yawandiikira abakkiriza nti: “Kyenvudde mbeegayirira, ab’olugamnda, olw’okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe ssaddaaka ennamu,EE 304.5

    entukuvu, essanyusa Katonda.” Abaluumi 12:1. Mu biseera ebya Isiraeri owedda, beekenenyanga nnyo buli ssaddaaka eyaleetebwanga ng’ekiweebwayo eri Katonda. Singa ensolo eyaleetebwanga yabangako obulema bwonna, yagaanibwanga; kubanga Katonda yali yalagira nti ekiweebwayo “tekibengako bulema.” Bwebatyo, n’Abakristaayo bakubirizibwa okuwangayo emibiri gyabwe, nga “ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda.” Mu kusobola okukola kino, kibagwanira okwegendereza mu ngeri gye bakozesaamu amaanyi gaabwe. Buli kye bakola naye nga kinafuya omubiri n’ebirowoozo, kireetera omuntu okuba nga tasaanira kuweereza Mutonzi we. Ye Katonda asanyukira ekintu ekirala kyonna okusinga ekyo ekirungi kye tuyinza okumutonera? Yesu agamba: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna.” Abo abaagala Mukama Katonda waabwe bawulira okuyayaana mu kumuwa ekyo ekisinga obulungi mu kumuweereza, era bakufubanga okunoonya obusobozi bwabwe bwonna mu kukwatanga ebiragiro bye ebibakubiriza okukola by’ayagala. Tebayinza kukkiriza kwonoona, kunafuya wadde okugwagwawaza ssaddaaka yaabwe gye balina okutonera Kitaabwe ow’omu ggulu olw’obuluvu n’okucamuukirira kw’omubiri.EE 305.1

    Peetero agamba: “Abaagalwa, mbeegayirira ng’abayise n’abatambuze, okwewalanga okwegomba kw’omubiri okulwana n’obulamu.” IPeetero 2:11. Buli kwegomba kwonna okw’obubi kusannyalaza era ne kutta okutegeera kw ‘amagezi n&pos;omwoyo, olwo ekigambo oba Omwoyo wa Katonda ne biba binafu mu kukyusa omutima. Pawulo awandiikira Abakkolinso nti: “Twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.” 2Abakkolinso 7:1. Era awamu n’ebibala eby’Omwoyo omuli: “okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, obuwombeefu, obulungi, okukkiriza, obuteefu” ayongerako na kino “okwegendereza.” Abaggalatiya 5: 22,23.EE 305.2

    Kyokka newakubadde nga waliwo okubuulirira bwekuti, bameka ku beeyita Abakristaayo abagezaako okwenafuya nga banoonya okufuna amasanyu n’okusinza okw’omulembe; bameka abatyoboola ekifaananyi kwabwe eky’okutya Katonda olw’obuluvu, okutamiira, n’amasanyu agaziyizibwa. Ekkanisa mukifo ky’okubakomako, ezzaamu buzza maanyi bubi obwo olw’okulaga obwetaavu bwayo, obw’okwagala ebintu oba okwagala amasanyu, ejjuzze amawanika gaayo, so ng’okwagala kwabwe eri Kristo kunafu okusobola okumuddizza. Singa Kristo aba waakuyingira mu makanisa aga leero n&pos;alaba ebijjulo n&pos;obusuubuzi ebikolebwa mu linnya ly’eddiini, teyandigobyemu ba kalibujoozi abo nga bwe yagobamu abawanyisanga ffeeza mu yeekaalu?EE 305.3

    Omutume Yakobo agamba nti amagezi okuva waggulu “okusooka malongoofu.” Singa yasanga abo aboogeza emimwa gyabwe erinnya lya Kristo ery’omuwendo n’emimwa egyonooneddwa ne taaba, abo omukka ogubavaamu era nabo bennyini nga boonooneddwa n’ekivundu ekyo, era aboonoona empewo ey’eggulu era ne bawaliriza n’abalala okusika obutwa obwo - singa omutume yasanga emize egyo egigaanibwa enjiri entukuvu, teyandibeegaanye ng’aboogerako nti “amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani”? Abaddu ba taaba nabo bagamba nga bwe baatukuzibwa, era nga bwe bagenda mu ggulu; naye ekigambo kya Katonda kyogera Iwatu nti: “So temuliyingira mu kyo n&pos;akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu.” Kubikkulirwa 21: 27.EE 305.4

    “Oba temumanyi ng’emibiri gyammwe ye yeekaalu y’Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe, kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.” lAbakkolinso 6:19,20. Oyo yenna amanyi nti omubiri gwe ye yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu, taliyinza kukkiriza mubiri gwe gubeere mu buddu bw’emize egiyinza okuzikiriza obulamu bwe. Amaanyi ge gali mu Kristo, oyo eyamugula n’omusaayi ogw’omuwendo omungi. Yafuuka kyabugagga kya Kristo. Olwo ayinza atya okuwona omusango bw’amala gasasaanya obugagga buno obwamukwasibwa? Abeeyita Abakristaayo bangi basasaanya obutitimbe bw’ensimbi buli mwaka mu bintu ebitaliimu n’okwesanyusa, eno ng’emyoyo gizikirira olw’ekigambo eky’obulamu. Katonda anyagiddwako ebitundu eby’ekkumi n’ebirabo nga bwe babiriira ku kyoto ekyandizikirizza okwegomba kwabwe okusinga lwe bandibiwaddeyo mu kuyamba abaavu oba okuwagira omulimu gw’enjiri. Singa bonna abeegamba nti bagoberezi ba Kristo baali beetukulizza ddala mu mazima, obugagga bwabwe, mu kifo ky’okubusasaanya mu bintu ebitaliimu, si nakindi, ebyobulabe, bwanditeekeddwa mu ggwanika lya Mukama, awonno Abakristaayo bandiraze ekyokulabirako eky’obwegendereza, okwerumya, n’okwefiiriza. Olwo bandibadde omusana eri ensi.EE 306.1

    Ensi erekeddwa mu kweyonoonesa kw’amasanyu. “Okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu” bye bifuga ebirowoozo by’abantu. Wabula abagoberezi ba Kristo bayitibwa mu kuyita okutukuvu nti, “Kale muve wakaati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu.” Omusana ogw’ekigambo kya Katonda gutulaga nga tuba batuufu okugamba nti okutukuzibwa tekuyinza kuba kwa mazima omuntu bw’atayinza kwogera nga bw’avudde ku kugoberera ebikolwa eby’obubi n’okwagala okukutta ensi.EE 306.2

    Katonda asuubiza abo bonna abakkiriza okubeera abawulize nti: “Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, nammwe munaabeeranga abaana gye ndi abaana aboobulenzi n’aboobuwala, bw’ayogera Mukama Omuyinza w’ebintu byonna.” 2Abakkolinso 6: 17, 18. Buli Mukristaayo alina omukisa n’obuvunaanyizibwa okuba n’enkolagana engagga mu bintu bya Katonda. “Nze musana gw’ensi,” Yesu bwe yagamba. “Angoberera tataambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n’omusana ogw’obulamu.” Yokaana 8:12. “Naye ekkubo ly’abatuukirivu liriŋganga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe bulituukirira.” Engero 4:18. Buli kigere ekitambulibwa mu kukkiriza n’okuba omuwulize, kisembeza omwoyo ku nkolagana ey’okumpi n’Omusana gw’ensi, “so mu ye ekizikiza temuli n’akatono.” Omusana ogwakayakana nga guva ku Njuba ey’obutuukirivu nga gwakira abaddu ba Katonda, nabo kibagwanira okugumulisa eri abalala. Ng’emmunnyeenye bwe zitutegeeza nti mu ggulu eriyo omusana ogw’ekitiibwa ekingi okwo kwe zijja okumasamasa kw’azo, n’Abakristaayo bwebatyo, kibagwanira okugumulisa bategeeze nti mu ggulu eriyo Katonda atudde ku ntebe ey’ensi zonna alina empisa ezisaanidde okutenderezebwa n’okulabirako. Ekisa kya Katonda ekituweebwa nga kiyita mu Mwoyo we, okutuukirira n’obutukuvu obw’empisa ze, byonna bya kweyoleka mu bajulirwa be.EE 306.3

    Mu bbaluwa ye gye yawandiikira Abakkolosaayi, Pawulo alaga obugagga bw’emikisa egiweebwa abaana ba Katonda. Agamba nti: “Naffe kyetuva tetulekaayo,... okubasabira n’okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera eby’Omwoyo, okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda; nga muyinzisibwanga n’obuyinza bwonna ng’amaanyi ag’ekitiibwa kye bwe gali, olw’okugumiikiriza kwonna n’okuzibiikiriza awamu n’okusanyuka.” Abakkolosaayi 1:9-11.EE 307.1

    Era awandiika nga alaga bye yeegomba ku lw’abooluganda mu Efeso batuuke okutegeera obuwanvu n’obugazi bw’emikisa gy’Abakristaayo. Atandika ng’abalaga byonna omuli amaanyi ageewunyisa n’amagezi bye balina okuweebwa ng’abaana aboobulenzi era n’aboobuwala ab’Oyo ali waggulu. Agamba nti: “Abawe mmwe, ng’obugagga bw’ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n’amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu owoomunda,... mubeerenga n’emmizi munywezebwenga mu kwagala,... okukwatanga awamu n’amagezi awamu n’abatukuvu bonna obugazi n’obuwanvu n’obuguIumivu n’okugenda wansi bwe biri, n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa.” Naye essaala y’omutume etuuka ku ntikko y’emikisa bw’asaba ng’agamba nti, “mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.” Abaefeso 3: 16-19.EE 307.2

    Wano tulagibwa obugulumivu bw’ebyo bye tuyinza okutuukako mu bisuubizo bya Kitaffe ow’omu ggulu okuyita mu kukkiriza singa tutuukiriza by’ayagala. Tulina omukisa okutuuka ku ntebe ey’obuyinza bwa Katonda obutaggwaawo okuyita mu bulungi bwa Kristo. “Ataagaana mwana we ye naye naamuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?” Abaluumi 8:32. Kitaffe yawa Omwana we Omwoyo we Omutukuvu mu butagera, olwo naffe tulyoke tumugabaneko mu bujjuvu. Yesu agamba: “Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ow’omu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba?” Lukka 11:13. “Bwe munaasabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo naakikolanga.” “Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe Iituukirire.” Yokaana 14:14, 16:24.EE 307.3

    Wadde nga Omukristaayo kimugwanira okuba omwetoowaze, naye tasaana kuba mu bulamu obunakuwavu n’okwekubagizanga. Kubanga buli muntu alina omukisa okubeera omulamu era nga Katonda waakumusiima era amuwe n’omukisa. Ekigendererwa kya Kitaffe ow’omu ggulu si kwe kutulabanga nga buli kiseera tuwulira okusingibwa omusango n’okuba mu kizikiza. Ekyo si kye kikakasa omuntu okutambulanga ng’akotese omutwe n’omutima gwe ng’agujjuzza okwekubagiza nti olwo Iw’aba omwetoowaze. Tugende eri Yesu atulongoose, olwo tuyimirire mu maaso g’amateeka nga tetukwatibwa nsonyi wadde okuwulira muli okusingibwa omusango. “Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu,” “abatatambula kugoberera mubiri wabula Omwoyo.” Abaluumi 8:1,4.EE 307.4

    Okuyita mu Yesu abaana ba Adamu abaagwa bafuuka “abaana ba Katonda.” “Kubanga oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa b’omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga abooluganda.” Abaebbulaniya 2:11. Obulamu bw’Omukristaayo kyebuva bubeera obw’okukkiriza, obuwanguzi era awamu n’okusanyukira mu Katonda. “Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe.”EE 307.5

    lYokaana 5:4. Nnabbi wa Katonda Nekkemiya yayogera bulungi nti: “Kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.” Nekkemiya 8:10. Ne Pawulo agamba: “Musanyukirenga mu Mukama waffe ennaku zonna: nate njogera nti, Musanyukenga.” “Musanyukenga ennaku zonna; musabenga obutayosa; mwebazenga mu kigambo kyonna: kubanga ekyo Katonda ky’abagaaliza mu Kristo Yesu gye muli.” Abafiripi 4:4; 1 Abasessaloniika 5:16-18.EE 308.1

    Ebyo bye bibala ebiva mu bukyufu n’okutukuzibwa kwa Bayibuli; era ensonga Iwaki ebibala bino tebitera kulabikalabika eri nti Abakristaayo tebakyassaayo mwoyo eri ebiragiro ebikulu eby’obutuukirwu ebiri mu mateeka ga Katonda. Eyo ye nsonga ereetera Omwoyo wa Katonda eyabeeranga mu nkuŋŋaana z’okudda obuggya mu biro biri okubeera mu kigera ekitono.EE 308.2

    Bwe tutunula olwonno tukyusibwa. Era bwe wabaawo okulagajjalira ebiragiro ebyo ebitukuvu Katonda mwayita okubikkulira abantu obutukuvu n’obutuukirivu bw’empisa ze, ebirowoozo by’abantu bisikirizibwa ne bitwalibwa endowooza n’enjigiriza z’abantu, n’ekivaamu kwekuddirira mu bulamu obw’omwoyo mu bantu abali mu kkanisa. Mukama agamba: “Bandese nze oluzzi olw’amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba tanka z’omu ttaka ebitayinza kubaamu mazzi.” YeremiyaEE 308.3

    “Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi.... Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mwalowooleza emisana n’ekiro. Naye alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; nabuli ky’akola akiweerwamu omukisa.” Zabbuli 1:1-3. Okutuusa nga amateeka ga Katonda gazziddwaayo mu kifo kyago ekituufu olwono lwe wayinza okubaawo okudda obuggya okw’amazima mu kukkiriza awamu n’okutya Katonda mu bantu be abamukkiriza. “Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo agedda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo.” Yeremiya 6:16.EE 308.4

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents