Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
Essuubi Eritaggwaawo - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    39 — Ekiseera Eky’okubonaabona

    “Era mu biro ebyo Mikayiri aliyimirira, omulangira omukulu ayimiririra abaana b’abantu bo: era waliba ekiseera eky’okunakuwaliramu, ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga okutuusa ku biro ebyo: era mu biro ebyo abantu bo baliwonyezebwa, buli alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo. Danieri 12:1.EE 393.3

    Obubaka bwa malayika owookusatu bwe bunnakoma, ekisa kinaaba kikomye okwegayirira ku lw’abantu abonoonyi abali ku nsi. Abantu ba Katonda baliba bamaze okutuukiriza omulimu gwabwe. Nga bamaze okuweebwa “enkuba ey’oluvannyuma,” ebiro eby’okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke,” era kaakano beetegefu okuyingirira essaawa ey’okugezesebwa ebasemberedde. Bamalayika bali mu kudduka badda eno n’eri. Buli malayika akomawo ng’ava ku nsi okudda mu ggulu ategeeza nga omulimu gwe bwe guwedde; ekiseera eky’okugezesebwa kaakano kituuse ku nsi, era abo bonna abeeraze nga bwe bali abawulize eri ebiragiro bya Katonda bamaze okuteekebwako “envumbo ya Katonda omulamu.” Awo ne Kristo amalirizza omulimu gwe ogw’okuwolereza mu yeekaalu ey’omu ggulu. Awanika emikono gye nga bw’agamba mu ddoboozi eddene nti: “Kiwedde;” n’eggye lya bamalayika ne liggya engule zaabwe ku mitwe nga bw’alangirira nti: “Ayonoona abeere ng’akyayonoona: era omugwagwa abeere ng’akyali mugwagwa: era omutuukirivu abeere ng’akyakola obutuukirivu: era n’omutukuvu abeere ng’akyali mutukuvu.” Kubikkulirwa 22:11. Buli muntu ajjakuba ng’amaze okusalirwa omusango, okuba omulamu oba okuttibwa. Kristo yasasulira omutango ku lw’abantu be era n’asangulawo ebibi byabwe. Omuwendo gw’abalonde be amaze okuguwezaEE 393.4

    abagenda okusikira obulokozi; balyoke baweebwe, “Obwakabaka n’okufuga n’obukulu bw’obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo,” ne Kristo afuge nga Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abaami.EE 394.1

    Kristo bw’aliva mu yeekaalu, ekizikiza kigenda kubuutikira abatuula ku nsi. Mu kiseera ekyo eky’entiisa, abatukuvu bajja kuyimirira mu maaso ga Katonda omutukuvu nga tebalina muwolereza. Omwoyo abadde akwatiridde ababi amaze okugibwawo, ne Setaani afunye obuyinza bwonna okufuga abagaanidde ddala okwenenya. Ekisa kya Katonda kikomye. Ensi egaanye okusaasira kwe, era banyoomye okwagala kwe, ne balinnyirira n’amateeka ge. Ababi tebaagadde kisa kibaweereddwa; olw’okubanga bagaanye Omwoyo wa Katonda, naye abamugiddwako. Olw’okusigala nga tebalina kisa kya Katonda ekikuuma, bwebatyo tebalina bukuumi bwonna eri omubi. Kati olwo Setaani alyoke abbike abatuula ku nsi mu kunakuwala okusembayo okutayogerekeka. Bamalayika ba Katonda bwe balirekeraawo okuziyiza empewo ez’obulabe bw’okwegomba kw’omuntu, abantu baliba bafunye eddembe okweyisa nga bwe balaba. Ensi yonna egenda kufuuka matongo okusinga n’ago agaatuuka ku Yerusaalemi eky’edda.EE 394.2

    Malayika omu yekka ye yazikiriza ababereberye bonna ab’Abamisiri ensi n’ejjula okukungubaga. Dawudi bwe yasobya Katonda ng’abaze abantu, malayika omu yekka ye yaleeta okuzikirira okwo kwonna olw’ekibi kye yakola. Amaanyi agazikiriza bamalayika ba Katonda ge bakozesa nga Mukama alagidde, ge gamu agalikozesebwa bamalayika ababi bw’aliba nga Katonda akkirizza. Amaggye ge geetegese kaakano, era gali bulindaala singa Katonda akkiriza, okubunya okuzikiriza wonna.EE 394.3

    Kaakano omusango guteekeddwa ku abo abassaamu amateeka ga Katonda ekitiibwa nti be baleese obubi ku nsi, era batunuulirwe nga be bavuddeko okutabuka kw’ensi, entalo n’okuyiwa omusaayi mu bantu abaleetedde ensi okwennyamira. Amaanyi agali mu bubaka buno obusembayo obw’okulabula gajja kuleetera ababi okweyongera okutabuka; bajja kunyiigira buli oyo yenna anakkiriza obubaka, era Setaani aleete okusasamala kungi ng’asiga mu bantu omwoyo gw’obukyayi n’okuyigganya.EE 394.4

    Ekitiibwa kya Katonda bwe kyaggweerawo ddala mu ggwanga ly’Abayudaaya, abantu ne bakabona tebayinza kukimanya. Wadde nga baali bafugibwa Setaani, nga n’okwegomba kwabwe kujjudde bubi bwereere, baasigala bakyeraba ng’abalonde ba Katonda. Okuweereza mu yeekaalu kwasigala kukyagenda mu maaso; ssadaaka nga zikyayokerwa ku byoto ebyonooneddwa, era nga basabira omukisa gwa Katonda buli lunaku ku bantu abaamala okusingibwa omusango gw’okuyiwa omusaayi gw’Omwana wa Katonda era nga banoonya n’okutta abaweereza be n’abatume. Bwekityo n’okusalawo okusembayo okw’omu yeekaalu ey’omu ggulu bwe kulirangirirwa, n’ensi ng’emaze okusalirwa omusango emirembe gyonna, abantu abatuula mu nsi tebagenda kukitegeera. Okusinza okwenjawulo kwakugenda mu maaso mu bantu abaamala okugibwako Omwoyo wa Katonda; omwoyo wa Setaani omulangira w’obubi gw’agenda okubawa asobole okutuukiriza ebigendererwa bye eby’obubi, ajja kufaananamu n’oyo owa Katonda.EE 394.5

    Olw’okubanga Ssabbiiti y’efuuse ensonga enkulu ereeseewo obutakkaanya mu Bakristaayo bonna, era nga n’aboobuyinza mu ddiini ne mu nsi beegatidde wamu okuwaliriza okukuuma Sande, ako akabinja akaliguguba obutadda ku luuyiEE 394.6

    Iw’abasinga obungi, kajja kutwalibwa ng’ekikolimo ky’ensi yonna. Bajja kutegeeza nti abo abatono abasigadde nga bawakanya etteeka ly’ekkanisa awamu n’ensi tebasaanidde kusaagirwako; kisingako bo okubonaabona okusinga amawanga gonna lwe gatuuka mu kutabukatabuka n’obwa kireereese. Ebigambo bye bimu “abafuzi b’abantu” bye baagamba ne Yesu emyaka nga lukumi mu lunaana egiyise Kayaafa bwe yagamba nti, “So temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n’eggwanga lyonna lireme okubula.” Yokaana 11:50. Endowooza eno eggya kutwalibwa ng’eyenkomeredde; olwo balyoke bayisize ddala etteeka erirwanyisa abatukuza Ssabbiiti ey’etteeka eryookuna, nga libateekako ebibonerezo ebikambwe ddala era nga liwa abantu eddembe, oluvannyuma lw’ekiseera, babatte. Abakkiririza mu ddiini y’Abaluumi ey’edda n’Abapulotestanti abavudde ku Katonda ab’omulembe guno bajja kutambulira mu bigere bye bimu okuyigganya abo abassaamu amateeka ga Katonda ekitiibwa.EE 395.1

    Awo abantu ba Katonda balyoke bayingirire embeera eyo ey’okunyigirizibwa n’obuyinike eyogerwako nnabbi nga ekiseera kya Yakobo eky’okubonaabona. “Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Tuwulidde eddoboozi ery’okukankana, ery’okutya so si lya mirembe... n’amaaso gonna gafuuse ebbala lyago! Woowe! kubanga olunaku olwo lukulu so tewali lulwenkana: kye kiseera Yakobo mwalirabira ennaku; naye alirokoka mu zo.” Yeremiya 30:5-7.EE 395.2

    Ekiro ekyo Yakobo mweyalumirwa ennyo omwoyo gwe, bwe yali ng’asaba okununulwa okuva mu mikono gya Esawu (Lubereberye 32:24-30), kifaanana n’ekirituuka ku bantu ba Katonda mu kiseera ky’okubonaabona. Yakobo yadduka okuwonya obulamu bwe muganda we Esawu bwe yamutiisa ng’ayagala okumutta olw’obulimba bwe yakola ng’ayagala okutwala omukisa gwa kitaawe ogwali ogwa Esawu. Ng’amaze emyaka mingi ng’ali mu buwaŋŋanguse, yasalawo okukomawo mu nsi ye, ye ne bakyala be n’abaana be, ensolo ze n’amagana ge olw’ekiragiro kya Katonda. Bwe yatuuka ku nsalo, n’ajjula okutya olw’amawulire ga Esawu nti ajja okumusisinkana n’eggye ly’abalwanyi, abalabika ng’abazze okumwesasulizaako. Yalabika ng’agenda okuwamba ekiwedde olw’ekibinja kya Yakobo, abataalina byakulwanyisa era abatasobola na kweyamba. Era awamu n’okweralikirira n’okutya, yagattako ensonyi n’okwevuma kubanga kyali kibi kye ekyavaako obubi buno bwonna. Essuubi lye lyokka nga lisigadde mu kusaasira kwa Katonda; obukuumi bwe nga buli mu kusaba. Kyokka teyayinza kulagajjalira nsonga yonna gy’ayinza okukola okusobola okutabagana ne muganda we era n’okuggyawo akabi akaali kamwolekedde. Bwebatyo n&pos;abagoberezi ba Kristo bwe balina okuba nga bwe banaatera okutuuka ku kiseera eky’okubonaabona, bafube okweteeka mu musana omutuufu mu maaso g’abantu, beggyeko obukyayi n’okuggyawo akabi akoolekedde eddembe ly’okusinza.EE 395.3

    Bwe yamala okweggyako abantu be baleme okumulaba nga bwabonaabona, Yakobo yasigala yekka asobole okumeggana ne Katonda mu kusaba. Yayatula ekibi kye era ne yeebaza Katonda mu ngeri ey’ekitalo olw’okumukwatirwa ekisa; yeegayirira wakati mu kukakkana okungi Katonda ajjukire endagaano gye yakola ne bajjajjaabe n’ebisuubizo bye yamulaga mu kwolesebwa okwekiro e Beseri ne mu nsi gye yawaŋŋangukira. Kaakano atuuse mu kiseera ekyakatyabaga; buli kimu kiri mu lusuubo. Ayongera okwegayirira wakati mu kizikiza era nga yeyawuddeEE 395.4

    nga bwe yeetoowaza mu maaso ga Katonda. Amangu ago omukono ne gumukwata ku kibegabega. Alowooza nti oboolyawo omulabe anoonya okumalawo obulamu bwe, kwe kusituka mu maanyi ge wakati mu kusoberwa ameggane n’omutemu. Obudde bwe bwali bunaatera okukya, omusajja n’akozesa amaanyi agatali ga buntu; bwe yamukwatako omusajja abadde omuzira n’asannyalala, n’agwa wansi, nga takyeyinza, n’akaaba nga yeegayirira eno nga bw’anywezezza omulabe we gwatategeera. Yakobo kwe kukitegeera nti ono Malayika ow’endagaano gw’alwana naye. Wadde nga kaakano yali awenyera era ng’alina n’obulumi bungi, teyayinza kuva ku kigendererwa kye. Yali amaze ebbanga ddene ng’asobeddwa, yeekubagiza, era ng’abonaabona olw’ekibi kye; kati yali yeetaaga akakase nti asonyiyiddwa. Malayika awulira ayagala okugenda; kyokka Yakobo amunywezezza, yeegayirira amale okumuwa omukisa. Malayika n’ayogera nti: “Nta, kubanga emmambya esala;” kyokka Yakobo n’amuddamu nti: “Sijja kukuta, wabula ng’ompadde omukisa.” Nga yayolesa obuvumu bungi, ate nga mukakafij, era ng’alemeddeko! Singa Yakobo yali yeewaana bwewanyi nga teyekakasa, yandizikiriziddwaawo; wabula kye yali alina bwe bukakafu nti bw’ayatula obunafu bwe era ne bw’atasaana, kyokka nga yeesiga okusaasira kwa Katonda oyo akuuma endagaano ekyo kimala.EE 396.1

    “Weewaawo, yabanga n’obuyinza ku malayika n’awangula.” Koseya 12:4. Omuntu ono ow’omubiri ogufa, asobya era ayonoona yayinza okuwangula Katonda Omukulu atuula mu ggulu, lwa kwetoowaza, okwenenya, n’okweteeka mu mikono gye. Yeenywereza ku bisuubizo bya Katonda wakati mu kukankana, era n’omutima gw’oyo alina okwagala okungi tegwayinza kukyuka eri obutawuliriza kusaba kwa mwonoonyi oyo. Erinnya lye lyakyusibwa okuva ku eryo eryamujjukizanga ekibi kye okudda mu eryo erinamujjukizanga obuwanguzi bwe akabonero akalaga obuwanguzi n’okuzaamu abalala amaanyi batwale eky’okulabirako kye. Yakobo bwe yalaba ng’amaze okuwangula Katonda ne yeekakasa ng’ajja kuwangula n’abantu. Yali takyalina kutya okwaŋŋanga obusungu bwa muganda we, kubanga Mukama ye yali omulwanyi we.EE 396.2

    Setaani yali aloopye Yakobo mu maaso ga bamalayika ba Katonda, ng’ayagala aweebwe olukusa amutte olw’ekibi kye; yagenda ewa Esawu n’amuyingizaamu endowooza y’okumulwanyisa; era mu kiseera ekyo ekiwanvu Yakobo kye yamala ng’ali mu kusaba ekiro, Setaani yafuba nnyo okwagala okumulumiriza olwo aggweemu amaanyi, amujje ku Katonda. Kumpi Yakobo katono aggweemu essuubi; kyokka n’akimanya nti awatali buyambi okuva mu ggulu agenda kuzikirira. Ekyamazima yali yeenenyerezza ddala ekibi kye, era n’asaba Katonda okumukwatirwa ekisa. Yali takyayinza kuwugulwa okuva ku kigendererwa kye, wabula okunyweza Malayika ng’amwegayirira amusaasire wakati mu bulumi obungi okutuusa Iwe yawangula.EE 396.3

    Nga Setaani bwe yayingiza mu Esawu endowooza y’okulwanyisa Yakobo, bwatyo bw’agenda okusaakiriza ababi bazikirize abantu ba Katonda mu kiseera eky’okubonaabona. Era nga bwe yalumirizaamu Yakobo, era bwatyo bw’agenda n’okuvunaana abantu ba Katonda. Kumpi abantu bonna abali mu nsi babe; kyokka akabinja kali akakuuma ebiragiro bya Katonda kagaanye obufuzi bwe. Singa afuna omukisa n’akasaanyaawo okuva ku nsi, olwo anaaba atuuse ku buwanguzi. Alaba nga bamalayika abatukuvu be babakuuma, era ng’atebereza nti ebibi byabweEE 396.4

    byasonyiyibwa; naye tamanyidde ddala oba nga amannya gaabwe tegakyaliko musango mu yeekaalu ey’omu ggulu. Amanyidde ddala ebibi bye bazze bakola kubanga ye y’abadde abakema ne babikola, era ebyo by’alagayo mu maaso ga Katonda ng’abigezzezza, abalage nga nabo bwe bwekibagwanira okugibwako ekisa kya Katonda nga ye. Agamba nti Katonda tayinza kuba mwenkanya okusonyiwa ebibi byabwe kyokka n’amuzikiriza ye ne bamalayika be. Agamba nga nabo bwe bali ababe era ng’asaba nti Katonda abamuwe abazikirize.EE 397.1

    Setaani olw’okwagala okuvunaana abantu ba Katonda ebibi bye baakola, ne Katonda ajja kumuwa omukisa abageze okutuusa bw’ayinza. Obwesige bwabwe, okukkiriza kwabwe n’obuvumu, byakugezebwa. Abantu bwe baagezaako okutunulako ku bulamu bwabwe obwayita, essuubi lyabwe ne lyennyika, anti nga tebalabayo kalungi konna. Bamanyidde ddala obunafu bwabwe awamu n’obutaliimu bwabwe. Ne Setaani n’ayongera okubatiisa ng’abalowoozesa nga abatakyalina ssuubi, nti amabala ag’obwonoonefu bwabwe tegayinza kunaazibwawo. Kyayagala kwe kuzikiriza okukkiriza kwabwe, olwo balyoke baggweemu amaanyi olw’ebikemo bye, era bajje obuwulize bwabwe ku Katonda.EE 397.2

    Newakubadde ng’abantu ba Katonda bagenda kwebulungululwa abalabe abaagala okubazikiriza, kyokka okubonaabona kwe baliyitamu si kwekwo okubatiisa balyoke bafiirwe amazima; kye basinga okutya by’ebibi bye batanaba kwenenya, era nga balowooza nti olw’ensobi yaabwe emu yokka bw’eti, ekisuubizo ky’Omulokozi ekigamba nti: “Nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa ekigenda okujja ku nsi” Kubikkulirwa 3:10, kiyinza obutabatuukirirako. Okubonyabonyezebwa n’okufa tebiyinza kubatiisa singa bayinza okufuna obukakafu nti ebibi byabwe byasonyiyibwa; naye singa bakizuula nti tebasaanidde era nga baakufiirwa obulamu bwabwe olw’ensobi zaabwe, olwo bawulira ng’erinnya lya Katonda liswazibwa.EE 397.3

    Buli wamu bawulirayo abaagala okubasalira omusango gw’okulya mu nsi yaabwe olukwe, era nga balabira ddala okukola kw’obujeemu; era nga muli bawulira okwagala okungi nga kusituka mu bo, bawulira okulumwa kw’emyoyo, bawulira baagala bakalinkwe bano bakomebweko n’obubi bw’ababi bukome. Naye nga bali wakati mu kwegayirira Katonda akome ku bujeemu buno, ne bakitegeera nga balina kwenenya kubanga tebakyalina maanyi bo ku bwabwe agayinza okuwakanya oba okuziyiza omuyaga omunene ogw’obubi. Bawulira nga singa baakola n’amaanyi mu busobozi bwabwe nga baweereza Kristo, nga bava mu maanyi okudda mu maanyi, amaggye ga Setaani tegandibadde na maanyi okubawangula.EE 397.4

    Ne babonyaabonya emyoyo gyabwe mu maaso ga Katonda, nga bwe basonga ku nsobi zaabwe ze beenenya, era nga beegayirira ku lw’ekisuubizo ky’Omulokozi nti: “Oba akwate ku maanyi gange, atabagane nange, weewaawo, atabagane nange.” Isaaya 27:5. Bawulira nga tebayinza kuggwaamu ssuubi olw’okubanga essaala zaabwe teziddiddwaamu mangu ago. Wadde nga bawulira okweralikirira, entiisa, n’okulumwa mu mwoyo, tebalekeraawo kwegayirira. Bakwata era ne beenywerezza ku maanyi ga Katonda nga Yakobo bwe yenywereza ku Malayika; era nabo ne basaba nga bagamba nti: “Sijja kukuta wabula ng’ompadde omukisa.”EE 397.5

    Singa Yakobo yali tasoose kwenenya kibi kye bwe yatwala obukulu bwa Esawu mu bukuusa, Katonda teyandiyanukudde kusaba kwe n’amusaasira era n’awonyaEE 397.6

    obulamu bwe. Era bwekityo bwekiriba mu kiseera ky’okubonaabona, abantu ba Katonda bwe balibuutikirwa okutya n’okulumwa nga balaba ebibi bye batayatulidde Katonda; bagenda kuwulira ng’abatalina ssuubi, era nga tebalina bukakafu nti Katonda anawulira okusaba kwabwe okw’okununulibwa. Kyokka bwe balyeraba nga bwe batasaana, baliba nga tebalina nsobi ze bakwese zeetaaga kwatula. Ebibi byabwe biriba byatuuka dda mu kifo awasalirwa emisango era nga byasangulibwawo dda, era nga tebyetaaga na kujjukizibwa.EE 398.1

    Setaani aleetedde bangi okulowooza nti Katonda agenda kuyisa amaaso ku bibi ebirabika ng&pos;ebitono ebikolebwa mu bulamu; naye kino Mukama akiraga nga tayinza kuwagira oba okugumiikiriza ekibi kyonna nga bwe yakola ku Yakobo. Abo bonna abafuba okwewolereza oba okukweka ebibi byabwe, ne bakkiriza bisigale mu bitabo by’omu ggulu, nga tebiyatuliddwa wadde okusonyiyibwa, bajja kuwangulibwa Setaani. Ne bwe baba bagulumivu kyenkana wa oba nga babitiibwa, bye bakola gye bikoma okusigala nga bibi nnyo mu maaso ga Katonda, n’omulabe waabwe omukulu gy’akoma okutuuka ku buwanguzi. Abo abalwawo okweteekateeka olw’olunaku Iwa Katonda tebayinza kweteekerateekera mu kiseera eky’okubonaabona oba ekiseera ekirala eky’omumaaso. Abo essuubi lyabwe liba likomye.EE 398.2

    Abakristaayo abo abanaatuuka mu lutalo olukomererayo olukulu olw’entiisa nga tebeteeseteese, bajja kwatula ebibi byabwe Iwa kutya na kulumwa, ng’ababi bwe bajaganya olw’ennaku ebatuuseeko. Okwatula okw’engeri eno kufaanana n’okwo Esawu ne Yuda kwe baayatula. Abo abaatula, banakuwala lw’ebyo ebiva mu kwonoona, so si Iwakusingibwa musango. Tebawulira nsonyi, wadde okukyawa ekibi. Bakkiriza ekibi kyabwe Iwa kutya kibonerezo; kyokka, nga Falaawo bwe yali, baddamu ne bakakanyaza omutima gwabwe eri eggulu singa ekibonerezo kigibwawo.EE 398.3

    Ebyafaayo bya Yakobo byongera okutulaga nga, Katonda taligobera bweru abo bonna abagwa mu kibi olw’okulimba n’okukemebwa naye ne bakomawo gyali nga beenenyerezza ddala. Wadde nga Setaani anoonya okubazikiriza, Katonda ajja kubaweereza bamalayika okubagumya n’okubawa obukuumi mu kiseera eky’obuzibu. Obusaale bwa Setaani bukambwe era mumalirivu, abuzaabuza okukamala; wabula Mukama amaaso ge agatadde ku abantu be era n’okutu kwe kuwulira okukaaba kwabwe. Okulumwa kwabwe kungi, ennimi z’omuliro zibugujja zaagala okubamalawo; naye omuliro gw’omulongoosa gwakubaggyayo nga balongoofu okukira zaabu. Okwagala kwa Katonda eri abaana be mu kiseera kino eky’okugezebwa okw’okubulabe ennyo kwakweyongera mu maanyi okusinga ne bwekubeera mu biseera nga birungi; kyokka kibagwanira okwesuula mu muliro gw’omulongoosa; ebirowoozo byabwe eby’ensi byokebwe, ekifaananyi kya Kristo kirabike bulungi.EE 398.4

    Ekiseera kino kye tusemberedde omuli okunyigirizibwa n’okulumwa, kyetaagisa omuntu okuba n’okukkiriza okuyinza okugumiikiriza ebikooyesa, ebirwiisa n’okulumwa enjala - okukkiriza okutayinza kuddirira ne bwekugezebwa. Ekiseera eky’ekisa kiweereddwa abantu bonna basobole okwekyeteekerateekera. Yakobo yasobola okuwangula Iwansonga yasobola okugumiikiriza era nga yali mumalirivu. Obuwanguzi bwe yatuukako kabonero akalaga amaanyi agali mu kusaba obutakoowa. Era abo bonna abanaakwata ku bisuubizo bya Katonda, nga ye, era neEE 398.5

    bafuba n’okugumiikiriza nga bwe yakola, bajja kuwangula nga naye bwe yawangula. Ate abo abanaagaana okweresa, okwerumya mu maaso ga Katonda, ne balwawo nga basaba era nga beegayirira emikisa gye, tebagenda kuwangula. Nga batono abamanyi kye kitegeeza okumeggana ne Katonda! Nga batono abaali bawulidde emyoyo gyabwe nga gikaze olw’okunoonya Katonda okutuusa ennyingo zonna lwe ziggwaamu. Nga batono abayinza okunywera omuyaga gw’okuggwaamu essuubi nga gukunse, okukkiriza kwe balina mu bisuubizo bya Katonda ne kutayuuga nga kusaanyaawo okwegayirira kwabwe!EE 399.1

    Abo abalina okukkiriza okutono leero bali mu kabi kanene ak’okuwangulibwa amaanyi ga Setaani agabuzaabuza ko n’ekiragiro ekiriwaliriza abantu okusinza. Era newakubadde nga baliyinza okugumiikiriza okugezebwa, bajja kugwa mu kunyigirizibwa okungi awamu n&pos;okulumwa mu kiseera eky’okubonaabona, kubanga eyo teyali mpisa yaabwe ey’okwesiga Katonda. Okukkiriza kwe baalina okuyiga olw’ebyo ebibatuukako ate ne bakugayaalirira, bajja kuwalirizibwa okukuyiga wakati mu kunyigirizibwa n’okusaalirwa.EE 399.2

    Kitugwanira okwemanyiiza okubeeranga ne Katonda nga tukakasa ebisuubizo bye. Bamalayika bawandiika buli ssaala ey’amazima esabibwa. Era kitugwanira okweggyako endowooza y’okwematiza etuleetera obutafaayo kwetaba ne Katonda. Obwavu obusembayo, okwerumya kwonna, n’okusiimibwa kwa Katonda, bisinga obugagga bwonna, ebitiibwa, okusanyuka awamu n’emikwano kyokka ne tubeera naye. Kitugwanira okufuna obudde tusabenga. Singa tukkiriza ebirowoozo byatfe ne bijjuzibwa n’okwegomba kw’ensi, Mukama ayinza okutufunira ebiseera ng’atuggyeko bakatonda baffe ab’ebifaananyi ebya zaabu, eby’amayumba, oba eby’ettaka egimu.EE 399.3

    Abaana abato tebandiyinzizza kusendebwasendebwa ne bagwa mu kibi singa basalawo okugaana okutambulira mu kkubo lyonna eddala wabula mu eryo lyokka mwebayinza okusabira omukisa gwa Katonda. Singa ababaka abeetikka obubaka bw’okulabula eri ensi bayinza okusaba omukisa gwa Katonda, ne basaba nga tebemotyamotya, ne basaba nnyo mu kukkiriza, nga Yakobo bwe yakola, bandiyinzizza okutuuka mu bifo bingi gye bandiyogeredde ebigambo bino nti: ‘TMdabaganye ne Katonda mu maaso, n’obulamu bwange buwonye.” Olubereberye 32:30. Eggulu lyandibatunuulidde ng’abalangira, abalina amaanyi okuwangulira awamu ne Katonda era awamu n&pos;abantu.EE 399.4

    “Ekiseera eky’okunakuwaliramu ng’ekyo ekitabangawo,” kinaatera okutujjira; era kiritwetaagisa okuba n’okumanya kwetutalina leero ate bangi kwe bagayaaliridde okufuna. Abamu batera okulowooza nti akabi k’osuubira si bwe katera okuba, naye ekyo si bwekiriba ku luno. Tewali bigambo bitegerekeka obulungi ebiyinza okunnyonnyola okubonaabona kuno bwe kuliba. Mu kiseera ekyo eky’okubonaabona, buli mwoyo gwakuyimirirawo gwokka mu maaso ga Katonda. “Nuuwa ne Danieri, ne Yobu newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya mutabani waabwe newakubadde muwala waabwe; baliwonya emmeeme zaabwe bo zokka olw’obutuukirivu bwabwe.” Ezeekyeri 14:20.EE 399.5

    Kaakano, nga Sabakabona waffe bw’akyatuwolereza mu maaso ga Katonda, kitugwanira okunoonya obutuukirivu mu Kristo. Omulokozi waffe teyayinza kuzuulwamu nsobi yonna wadde mu kulowooza asobole okuwangulwa amaanyiEE 399.6

    g’ebikemo. Setaani afuba okunoonya ensonga yonna mu mutima gw’omuntu n’asinziira okwo; era bw’alabayo ekibi kyonna omutima kye gwegomba, olwo n’ayima okwo okuleeta ebikemo bye. Kristo yagamba nti: “Kubanga afuga ensi eno ajja: naye tandiiko kigambo.” Yokaana 14:30. Setaani teyayinza kuzuula nsonga yonna ku Mwana wa Katonda esobola okumutuusa ku buwanguzi. Ye yakuuma ebiragiro bya Kitaawe, era mu ye temwali kibi Setaani alyoke asinziire okwo okufuna kyayagala. Eno y’embeera abaliyimirirawo mu kiseera eky’okubonaabona mwe balisangibwa.EE 400.1

    Okuyita mu bulamu buno mwe tulina okweyawulira ku kibi okuyita mu musaayi gwa Kristo ogutunaazaako ekibi. Omulokozi waffe atuyita tumwegatteko, tugatte obunafu bwaffe ku maanyi ge, obusirusiru bwaffe ku magezi ge, obutaliimu bwaffe ku bulungi bwe. Mu kisa kya Katonda mwe tuyigira okwewombeeka n’obuteefu ng’ebya Yesu. Mukama bulijjo atuteerawo ebigendererwa ebituufu eby’obulamu, so si ebyo ffe bwe twagala oba ebyo ebirabika ng’ebyangu era ebitusanyusa. Kitukakatako okukolagana obulungi n’emikutu egikozesebwa eggulu mu kukyusa empisa zaffe zifaanane n’eky’okulabirako kya Katonda. Tewali n‘omu agwanidde kufiirwa mukisa guno oba okulowooza nti ekyo kikyali wala wabula ng’ayagala kufiirwa mwoyo gwe.EE 400.2

    Omutume Yokaana bwe yali mu kwolesebwa yawulira eddoboozi eddene eriva mu ggulu nga lyogera nti: “Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” Kubikkulirwa 12:12. Embeera eteekwa okuba nga yali ya ntiisa eggulu okusobola okwogeza eddoboozi eddene. Obusungu bwa Setaani bujja kweyongera obungi ekiseera kye gye kinaakoma okuyimpawala, era n’obulimba bwe awamu n’okuzikiriza ebintu byakutuuka ku ntikko yaabyo mu kiseera eky’okubonaabona.EE 400.3

    Ebintu eby’entiisa ebitali bya buntu binaatera okweyoleka mu bbanga ery’eggulu, nga bikolebwa obuyinza bwa badayimooni abakola ebyamagero. Emyoyo gya basetaani gyakugenda eri bakabaka b’ensi era n’eri ensi yonna, okubanywereza mu bulimba, era gibawalirize okwegattira awamu ne Setaani mu lutalo Iwe olusembayo ng’alwanyisa gavumenti ya Katonda. Ajja kulimba abafuzi awamu n’abantu bonna mu ngeri yeemu. Wajja kusitukawo abantu nga beefuula okuba nga Kristo yennyini, era nga bakaayanira ekitiibwa kye awamu n’okwagala okusinzibwa ebirina okukolebwa ku Mulokozi w’ensi yekka. Bajja kukola ebyamagero ebyewuunyisa nga bawonya enddwadde era nga beegamba nga bwe baafuna okubikkulirwa okuva mu ggulu okuwakanya obujulirwa bw’Ebyawandiikibwa.EE 400.4

    Setaani omukulu w’obulimba ajja kwefuula Kristo yennyini. Ekkanisa emaze ebbanga ddene ng’esuubira okulabika kw’Omulokozi anti y’entikko y’essuubi lyabwe. Olw’ekyo Setaani agenda kulabisa okujja kwe nga Kristo y’akomyewo. Setanni agenda kweraga eri abantu mu bitundu ebitali bimu eby’ensi mu kifaananyi ky’ekitonde ekyekitiibwa nga kitangalijja okufaanana ekifaananyi ky’Omwana wa Katonda nga bwe kiragibwa mu Kubikkulirwa 1:13-15. Ekitiibwa ekirimwetoloola nga kisukka ekintu kyonna amaaso g’omuntu kye gaali galabye. Amaloboozi ag’obuwanguzi galyoke gawulirwe mu bbanga nga gagamba nti: “Kristo akomyewo! Kristo akomyewo!” Abantu bavuuname wansi nga bamusinza, eno nga bw’awanise emikono gye era abagabire omukisa nga Kristo bwe yawa omukisa abayigirizwa be bwe yali ku nsi. Eddoboozi lye nga lyakawoowo era nga ggoonvu, nga liringaEE 400.5

    amaloboozi g’ennanga. Agenda kwogera amazima agamu ag’eggulu Omulokozi ge yayogerako: awonye endwadde z’abantu, era nga yenna yeeraga nga Kristo, ategeeze nga bwe yakyusa Ssabbiiti n’agizza ku Sande, era alagire bonna basinze olunaku Iwe yawa omukisa. Agenda kutegeeza nti abo bonna abalemedde mu kukuuma olunaku olwoomusanvu bali mu kuwoola linnya lye olw’okugaana okuwulira bamalayika be be yabaweereza nga balina omusana n’amazima. Buno bwe bulimba era n’okubuzaabuza okusembayo. Okufaanana n’Abasamaliya abaalimbibwa Simooni eyakolanga eby’obulogo, abantu bangi okuva ku muto okutuuka ku mukulu bajja kuwuliriza eby’obulogo bwe batuuke n’okugamba nti: “Ono ge maanyi ga Katonda.” Ebikolwa By’abatume 8:10.EE 401.1

    Kyokka abantu ba Katonda tebagenda kubuzaabuzibwa. Enjigiriza za Kristo ono ow’obulimba tezirina we zikwataganira n’ez’Ebyawandiikibwa. Emikisa gye agenda kugiwa abo abasinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, abantu bennyini Bayibuli beeyogerako nti bagenda kunywa ku kikompe ky’obusungu bwa Katonda ekitatabulwamu mazzi.EE 401.2

    N’ekirala, Setaani tagenda kuweebwa mukisa okukoppa engeri Kristo bw’alikomawo. Omulokozi yamala dda okulabula abantu be ku bulimba buno, era n’abategeeza ne bw’agenda okukomawo omulundi ogwookubiri. “Kubanga walijja ba Kristo ab’obulimba, ne bannabbi ab’obulimba, n’abo balikola obubonero obukulu n’ebyamagero; n’okukyamya bakyamye n’abalonde.... Kale bwe babagambanga nti Laba, ali mu ddungu; temufiilumanga: laba, ali mu kisenge munda; temukkirizanga. Kubanga ng’okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujya kw’Omwana w’omuntu.” Matayo 24:24-27, 31; 25:31; Kubikkulirwa 1:7; 1 Abasessloniika 4:616,17. Okujja kuno tekuliyinza kukoppebwa. Kugenda kumanyibwa ensi yonna - abantu bonna mu nsi bakulabe.EE 401.3

    Okujjako abo bokka ababadde abanyiikivu mu kuyiga Ebyawandiikibwa era ne bafuna n’okwagala amazima, be balikuumibwa eri obulimba buno obwamaanyi obuliwamba ensi yonna. Abantu bano nga bakozesa obujulirwa bw’Ebyawandiikibwa, bagenda kutegeera omulimba mwe yeebulizabuliza. Ekiseera eky’okugeza kyakutuuka ku bonna. Ebikemo nga biwewa, byakwoleka Abakristaayo abamazima. Naye, abantu ba Katonda banywevu mu kigambo kye nga tebaliyinza kwekkiriranya olw’ebyo bye balowooza? Baliyinza okwenywereza ku Bayibuli era Bayibuli yokka mu kiseera ekyo ekyakazigizigi? Setaani ajja kufuba okubalemesa, oba nga kiyinzika, baleme okweteekateeka okuyimirirawo ku lunaku olwo. Ajya kuteekawo embeera ebaziyiza, n’ebasibira mu by’obugagga bw’ensi, bafune ebibazitoowereza, emitima gyabwe gijjuzibwe emitawaana gy’obulamu buno n’olunaku lw’okugezebwa lubasangirize ng’omubbi.EE 401.4

    Ekiragiro ekiriteekebwa abakulembeze mu nsi z’Obukristaayo nga kirwanyisa abakuumi b’amateeka kijja kuggyawo obukuumi bwa gavumenti eri abantu abo, basigale mu buyinza bw’abo abaagala okubazikiriza, olwo abantu ba Katonda balyoke badduke okuva mu bibuga ne mu byalo bagende nga bekuŋŋaanyiza mu bubinja obutonotono eyo mu malungu ne mu bifo ebyesudde. Bangi bagenda kufuna obuddukiro wakati mu nsozi. Okufaanana n’Abakristaayo abaddukira mu biwonvu by’e Piyedimonti, ensozi zijja kubafuukira ebisulo era beebaze Katonda “olw’enkomera z’amayinja.” Isaaya 33:16. Wabula bangi ku bo okuva mu mawangaEE 401.5

    ag’enjawulo ne mu biti eby’enjawulo, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, abaddugavu n’abeeru, baakusuulibwa mu makomera agataliimu kusaasira n’akatono. Abaagalwa ba Katonda ne babonaabona olw’ennaku, ne basibwa mu njegere, ne baggalirwa mu makomera, ne basalirwa battibwe, abalala ne balekebwa bafe enjala wakati mu makomera ag’omu ttaka omuli enzikiza. Nga tewali kutu kwa muntu kuyinza kuwuliriza maziga gaabwe; nga tewali muntu n’omu ayinza kubayamba.EE 402.1

    Naye Mukama alireka abantu be mu kiseera kino eky’okugezebwa? Yayinza okwerabira Nuuwa eyali omwesigwa bwe yasalira ensi ey’edda omusango n’amataba? Yayinza okwerabira Lutti omuliro bwe gwakka okuva mu ggulu ne gusaanyawo ebibuga ebyali mu lusenyi? Yayinza okwerabira Yusuufu eyali yeebulunguluddwa abasinza ebifaananyi e Misiri? Yayinza okwerabira Eriya Yezebeeri bwe yalayira okwagala okumutta olwa bannabbi ba Baali? Yayinza okwerabira Yeremiya bwe yali asuuliddwa mu bunnya obukutte enzikiza obwali mu nnyumba mwe yasibirwa? Yayinza okwerabira abazira abasatu abaasuulibwa mu kikoomi ky’omuliro? oba Danieri mu bunnya bw’empologoma?EE 402.2

    “Naye Sayuuni n’ayogera nti Mukama andese, era Mukama anneerabidde. Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye? Weewaawo abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe. Laba nkuyoze mu bibatu by’emikono gyange.” Isaaya 49:14-16. Mukama ow’eggye agambye nti: “Kubanga abakomako mwe aba akomye ku mmunye y’eriiso lye.” Zekkaliya 2:8.EE 402.3

    Wadde ng’abalabe baabwe banaabasuulanga mu makomera, kyokka ebisenge by’amakomera ago tebiyinza kuggyawo mpuliziganya eri wakati w’emyoyo gyabwe ne Kristo. Oyo alaba obunafu bwabwe bwonna, oyo ategeera ebigezo ebya buli ngeri, ali waggulu w’obuyinza bw’ensi bwonna; era bamalayika banabakyaliranga mu makomera eyo gye bali, nga babaleetera omusana n’emirembe okuva mu ggulu. Amakomera gajja kuba ng’embiri za bakabaka; kubanga abagagga mu kukkiriza be babeera omwo, era n’ebisenge ebituggubadde byakumulisibwako n’omusana okuva mu ggulu okufaanana Pawulo ne Siira bwe baasaba era ne bayimba nga batendereza wakati mu ttumbi nga bali mu kkomera ly’Abafiripi.EE 402.4

    Katonda ajja kubonereza abo abanoonya okubonyaabonya n’okuzikiriza abantu be. Aguumiikirizza nnyo ababi era nabo ne beeyongera okukakanyaza emitima gyabwe mu kwonoona, kyokka yamala dda okukakasa nga bwe bagenda okubonerezebwa anti n’okulwawo kwalwawo. “Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu, alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu Gibyoni; akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw’ekitalo, era atuukirize ekikolwa kye, ekikolwa kye eky’ekitalo.” Isaaya 28:21. Katonda waffe ow’ekisa, okubonereza akitwala nga ekikolwa ekyewunyisa. “Nga bw’endi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi.” Ezeekyeri 33:11. Mukama ye, “Katonda ajjudde okusaasira, era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi, n’amazima amangi,.. .asonyiwa obutali buukirivu n’okwonoona n’ekibi.” Kyokka talirema kubonereza “oyo alibaako omusango.” “Mukama alwawo okusunguwala, era alina obuyinza bungi. Buli azzizza omusango tamuleka: amubonereza.” Okuva 34:6,7; Nakkumu 1:3. Katonda agenda kukozesa obutuukirivu bwe aggye omusango ku mateeka ge agalinnyiriddwa. Obukambwe bw’ekibonerezo ekirindiridde abagalinnyirira kiyinza kutegeerebwa ku ngeriEE 402.5

    Mukama gy’agumiikirizaamu okukiteeka mu nkola. Amawanga g’agumiikirizza okumala ebbanga eddene, ate nga si wakugabonereza okutuusa nga gajjuzza ekikompe ky’okwonoona kwago ewa Katonda, gajja kumala ganywe ekikompe ky’obusungu bwe awatali kusaasira.EE 403.1

    Okuweereza kwa Kristo mu yeekaalu bwe kulituuka ku nkomerero yaakwo, Katonda ajja kufuka obusungu bwe obutajunguluddwa obw’okuweebwa abo abasinza ensolo n’ekifaananyi kyayo era nga balina n’akabonero (Kubikkulirwa 14:9,10). Ebibonoobono ebyatuuka kuEE 403.2

    Misiri Katonda ng’anaatera okununula Abaisiraeri bifaananira ddala n’ebyo eby’okutuuka ku nsi. Bijja kuba bikambwe era byakubuna wonna Katonda ng’anaatera okununula abantu be. Omubikkuzi agamba, bwe yali annyonnyola ku bibonobono bino nti: “Ne wabaawo ebbwa ebbi ezzibu ku bantu abalina enkovu y’ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.” Ennyanja n’efuuka “ng’omusaayi ogw’omufu, na buli mwoyo omulamu ne gufa, n’ebyo ebyali mu nnyanja.” Era “emigga n’ensulo z’amazzi ne bifuuka omusaayi.” Wadde nga ebibonyobonyo bino bikambwe ekyenkanidde awo, Katonda asigala nga taliiko musango. Malayika wa Mukama agamba, nti: “Ggwe mutukuvu, kubanga wasala omusango bw’otyo: kubanga baafuka omusaayi gw’abatuku n’ogwa bannabbi, omusaayi ggwe gw’obawadde okunywa: basaanidde.” Kubikkulirwa 16:2-6. Olw’okusingisanga emisango ne battanga abantu ba Katonda, mazima omusango guba gubasinga kubanga baba ng’abayiwanga omusaayi gwabwe n’emikono gyabwe. Mu ngeri yeemu Kristo bwe yagamba Abayudaaya abaaliwo mu kiseera we yabeererawo nti balina omusango olw’omusaayi gw’abatukuvu gwe bazze nga bayiwa okuviira ddala ku Abeeri; kubanga baalina omutima gwe gumu era baali baagala okukola mu ngeri yeemu ng’abatemu bano abattanga bannabbi.EE 403.3

    Mu bibonyobonyo bino ebigenda okujja, enjuba yaweebwa obuyinza “okwokya abantu n’omuliro.” ennyir. 8,9. Era bw’ati nnabbi bw’annyonnyola embeera ensi mwegenda okubeera mu kiseera kino eky’entiisa: “Ennimiro ezise, ensi ewuubaala.... Omuzabbibu guwotose, n’omutunsi guyongobera... giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b’abantu.” “Ensigo zivunda wansi w’amafunfugu gaazo.... Ensolo nga zisinda! Amagana g’ente gabuliddwa amazzi, kubanga tezirina muddo.... Kubanga emigga gy’amazzi gikalidde n’omuliro gwokezza amalundiro ag’omu ddungu.” “Awo ennyimba z’omu yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.” Yoweeri 1:10-12, 17-20; Amosi 8:3.EE 403.4

    Ebibonobono bino tebigenda kubuna nsi yonna wamu anti olwo ensi yonna eba eggya kuggwaako abantu. Kyokka biggya kuba bibonyobonyo bikambwe nnyo okuva ku ebyo amaaso g’omuntu bye gaali galabye. Okubonereza kwonna Katonda kwagenda okubonerezamu abantu, ng’ekiseera eky’ekisa kinaatera okuggwaako, kujja kubaamu okusaasira. Omusaayi gwa Kristo ogwegayirira ku lw’omwonoonyi gukugira omwonoonyi obutaweebwa mu bujjuvu ekigera ky’obubi bwe; kyokka obusungu bwa Katonda bugenda kufukibwa mu kubonereza olukisembayo awatali kusaasira.EE 403.5

    Ku lunaku olwo, abantu bangi bagenda kunoonya obukuumi bw’ekisa kya Katonda bwe baamala ebbanga nga banyooma. “Laba ennaku zijja, bw’ayogera MukamaEE 403.6

    Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta y’amazzi, naye enjala y’okuwulira ebigambo bya Mukama. Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja endala, n’okuva obukiika obwa kkono okutuuka ebugwanjuba; balidduka mbiro eruuyi n’eruuyi okunoonya ekigambo kya Mukama, so tebalikiraba.” Amosi 8:11,12.EE 404.1

    Wabula abantu ba Katonda nabo tebagenda kutalizibwa; naye wakati mu kuyigganyizibwa n’okubonaabona, wadde nga baliba mu buzibu era nga n’emmere banoonya noonye, tebagenda kulekebwa bazikirire. Katonda oyo eyalabirira Eriya, tagenda kwerabira baana be abeewaddeyo. Oyo amanyi obungi bw’enviiri z’okumitwe gyabwe ajja kubalabirira, era ne mu biseera eby’enjala bajjanga kuliisibwa bakkutenga. Eno ababi nga bwe bafa olw’enjala n’endwadde embi, bamalayika bagenda kubugiriza abatukuvu era nga bwe babawa ne bye beetaaga. Ekisuubizo kijja eri oyo “atambula n’obutuukirivu,” nti, “emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira ” “Abaavu n’abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka.” Isaaya 33: 15,16; 41:17.EE 404.2

    “Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala, ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, ennimiro ne zitaleeta mmere yonna, embuzi nga zimaliddwawo ku kisibo, so nga tewali nte mu biraalo;” kyokka abo abamutya, “balisanyukira mu Mukama,” era bajagulize mu Katonda ow’obulokozi bwabwe. Kaabakuuku 3:17,18.EE 404.3

    “Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo. Enjuba terikwokya emisana, newakubadde omwezi ekiro. Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Oyo ye anaakuumanga emmeeme yo.” “Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego gw’omuyizzi, ne mu kawumpuli omubi. Anaakubikkangako n’ebiwawatiro bye, era wansi w’ebyoya bye w’onoddukiranga: amazima ge ye ngabo, ge gakukuuma. Totyenga Iwa ntiisa ya kiro newakubadde akakasaale akagenda emisana; olw’olumbe olutambula mu kizikiza, newakubadde olw’okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu. Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo, era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo; tekalikusemberera ggwe. Naye olitunula n’amaaso go, oliraba empeera y’ababi. Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange! Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w’otuula; tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.” Zabbuli 121:5-7; 91:3-10.EE 404.4

    Kiritandika okutegerekeka mu maaso ag’obuntu nti abantu ba Katonda banaatera okuteeka envumbo ku bujulirwa bwabwe n’omusaayi gwabwe ng’abajulizi abaabasooka. Balitandika okutya nti kaakano Katonda abalese bagwe mu mikono gy’abalabe baabwe. Kigenda kuba kiseera kya bulumi obw’entiisa. Bagenda kukaabirira Katonda emisana n’ekiro ajje abalokole. Olwo ng’ababi bali mu kujaganya, era nga bwe babaduulira nti: “Kaakano okukkiriza kwammwe kuliwa? Lwaki Katonda wammwe tabanunula okuva mu mikono gyaffe bwe muba nga ddala muli babe?” Wabula abakuumi ne bajjukira Yesu ku musaalaba nga bakabona abakulu n’abawandiisi bamuduulira nti: “Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musaalaba, naffe tunaamukkiriza.” Matayo 27:42. Kiriba kiseera kya kumeggana ne Katonda okufaanana ne Yakobo. EntunulaEE 404.5

    yaabwe ng’eraga olutalo oluli mu nda yaabwe. Amaaso gaabwe nga masiiwuufu. Kyokka nga tebaggwamu maanyi kwegayirira.EE 405.1

    Abantu singa baayinza okulaba n’amaaso ag’eggulu, baandirabye ebibinja bya bamalayika abamaanyi nga byetoloodde abo abaakuuma ekigambo ky’okugumiikiriza kwa Kristo. Bamalayika bano bazze nga balaba okubonaabona kwabwe era nga bawulira okusaba kwabwe wakati mu kubasaasira n’okubalumirwa. Bali mu kulindirira kigambo okuva eri omukulembeze waabwe babakwakkule okuva mu kabi kaabwe. Kyokka kibagwanira okugumiikirizaako. Abantu ba Katonda kibagwanira okunywa ku kikompe era babatizibwe mu kubatizibwa. Okulinda kuno, wadde nga kwa bulumi nnyo gye bali, kye kyokuddamu ekisinga eri okusaba kwabwe. Nga bwe bafuba okulinda wakati mu kwesiga Mukama ajje abalokole, bayiga okukkiriza, okusuubira, n’okugumiikiriza ebintu bye babadde tebakola nnyo mu bulamu bwabwe obw’Obukristaayo. Kyokka ku lw’abalonde, ekiseera eky’okubonaabona kigenda kusaalibwako. “Kale ne Katonda taliramula balonde be abamukaabirira emisana n’ekiro, ng’akyagumiikiriza? Mbagamba mazima nti alibalamula mangu.” Lukka 18:7,8. Enkomerero ya kujja mangu okusinga abantu nga bwe basuubira. Eŋŋaano yakukungulibwa esibwe mu biganda eri Katonda omukunguzi; ebisasiro bikuŋŋaanyizibwe bisuulibwe mu muliro gubizikirize.EE 405.2

    Abakuumi, bonna nga batunudde nkaliriza, beeyongera okulinda. Wadde ng’ekiragiro kiriba kimaze okuteekawo ekiseera we bagenda okuttira abakuumi b’amateeka, abalabe baabwe bonna nga beesunga okuteeka ekiragiro mu nkola, kyokka ng’ekiseera tekinatuuka, bajja kwagala okubazikiriza. Wabula nga tewali n’omu ayinza kuyita ku bakuumi abamaanyi abateekeddwa ku buli mwoyo omwesigwa.EE 405.3

    Mu buli mulembe, Katonda azze ng’ayamba abantu be era ng’abalokola okuyita mu bamalayika abatukuvu. Ebitonde eby’omu ggulu bizze nga byetaba mu byafaayo by’abantu. Bizze nga birabikira mu byambalo ebitemagana okufaanana okumyansa, oluusi ng’abantu abeesibye eby’okulwanyisa. Bamalayika bazze nga balabikira mu kifaananyi eky’obuntu eri abantu ba Katonda. Oluusi ne bawummulira wansi w’emiti mu ttuntu ng’abakooye. Ate ne baanirizibwa abantu ne babawa n’obugenyi. Abatambuze obudde be buzibiridde ne babayamba. Ne bakuma omuliro ku kyoto eky’obubaane n’emikono gyabwe. Ne baggula enzigi z’amakomera era ne basumulula abaddu ba Mukama. Bajja ne bayiringisa ejjinja eryali ku ntaana y’Omulokozi nga bajjuziddwa ebyambalo by’eggulu.EE 405.4

    Emirundi mingi bamalayika bajjira mu bifaananyi eby’abantu ne beetaba mu nkuŋŋaana z’abatukuvu; era ne bagenda ne mu nkuŋŋaana z’ababi; baagenda ne mu Sodoma okufuna obuwandiike bw’ebibi byabwe, okulaba oba nga basusse okugumiikiriza kwa Katonda. Katonda asanyukira okusaasira; era ku lw’abalonde be abatono abamuweereza, n’akwatiirira ku bubi n’ayongezangayo mu bantu akalembereza. Kyokka abanoona ku Katonda tebakimanyi nti balina okumwebaza ku lw’obulamu bwabwe olw’abeesigwa bano abatono be banyooma era be baagala okuyigganya.EE 405.5

    Wadde ng’abafuzi b’ensi eno babadde tebakimanyi, kyokka emirundi mingi bamalayika babadde bateeseza mu nkiko zaabwe. Amaaso g’abantu gabadde gabalaba; amatu g’abantu gabadde gawulira okusaba kwabwe; emimwa gy’abantuEE 405.6

    ne giwakanyanga ebigambo byabwe era ne banyoomanga okuteesa kwabwe; emikono gy’abantu ne gibatuusangako obulabe n’okuswazibwa. Ababaka bano abava mu ggulu bazze nga balaga nga bwe bateegeera ku byafaayo by’omuntu; era ne bakakasa nga bwe basobola okuwolereza abanyigirizibwa okusinga omwogezi kayingo. Bazze nga bawangula enkwe z’omulabe ezandizizza omulimu gwa Katonda ennyuma era ezandituusizza obulabe obwamaanyi ku bantu be. Mu ssaawa akabi nga kanajja n’okubonaabona, “malayika wa Mukama asiisira okwetoloola abo abamutya, n’abalokola.” Zabbuli 34:7.EE 406.1

    Bonna nga beesunga, abantu ba Katonda balindirira okulaba obubonero bw’okujja kwa Kabaka waabwe. Abakuumi nga basemberedde, batandika okubuuza nti: “Eby’ekiro biri bitya? ne baddibwamu mangu ago nti: “Enkya ejya, era n’ekiro.” Isaaya 21:11,12. Omusana gutandika okuvaayo mu bire waggulu ku nsozi. Era mangu ago ekitiibwa kye ne kirabika. Enjuba y’Obutuukirivu eryoke ebaviireyo okubamulisiza. Nga tewakyali njawulo wakati wa misana n’ekiro - entandikwa y’olunaku olutagenda kuziba nate eri abatuukirivu, ababi bayingirire ekiro ekitagenda kuggwaawo.EE 406.2

    Abamegganyi nga bali mu kwegayirira eri Katonda, olutimbe olubadde lubaawula obutalaba ebyo ebirabika n’amaaso kumpi ne lugibwawo. Eggulu ne litemagana okwaniriza olunaku olutagenda kuddamu kuziba nate, ne bawulira amaloboozi ng’aga bamalayika nga bayimba ebigambo nti: “Mugume, munywere. Mugenda kuyambibwa.” Kristo, Omuwanguzi owamaanyi, ng’akutte engule ey’ekitiibwa ekitaggwaawo mu mukono gwe okuwa abalwanyi abakooye; olwo eddoboozi lye ne liwulirwa ngaliva mu mulyango gw’eggulu eriggule nti: “Laba, nze ndi wamu nammwe. Temutya. Mmanyi okulumwa kwammwe; neetikka obuyinike bwammwe. Si mmwe musoose okulwana n’abaklabe abo. Nalwana olutalo ku Iwammwe, era muli bawanguzi mu linnya lyange n’okukirawo.”EE 406.3

    Omulokozi waffe ow’omuwendo ajja kutuweereza obuyambi awo wennyini we tubwetaagira. Ekkubo erigenda mu ggulu lyatukuzibwa ye olw’okusooka okuliyitamu. Amaggwa gonna agatufumita gaasooka kufumita ye. Omusaalaba gwonna gwe tuyitibwa okwetikka ye yasooka okugwetikka ku Iwaffe. Katonda akkiriza ne wabaawo entalo olw’okuteekateeka omwoyo gufune emirembe. Ekiseera eky’okubonaabona kya ntiisa nnyo eri abantu ba Katonda; kyokka kye kiseera ekirungi eri buli mukkiriza owamazima okutunula waggulu, olw’okukkiriza ayinze okulaba emikisa enkuyanja egimwetoloodde.EE 406.4

    “N’abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuuni n’okuyimba; n’essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n’okujaguza, ennaku n’okusinda biriddukira ddala. Nze, nze mwene, nze mbasanyusa: ggwe ani n’okutya n’otya omuntu afa, n’omwana w’omuntu alifuuka ng’omuddo; ne weerabira Mukama Omukozi wo... n’ozibyanga obudde ng’otya olw’obukaali bw’omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw’omujoozi? Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa n’akka mu bunnya, so n’emmere ye teribula. Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma: Mukama ow’eggye lye linnya lyange. Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisseeko mu kisiikirize ky’omukono gwange.” Isaaya 51:11- 16.EE 406.5

    “Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, era atamidde naye si na mwenge: bw’atyo bw’ayogera Mukama wo Mukama era Katonda wo awoza ensonga ey’abantu be, nti laba, nziye mu mukono gwo ekikompe eky’okutagatta, kye kibya eky’ekikompe eky’obukaali bwange; tokyakinywangako Iwakubiri: era nditeeka mu mukono gwange abaakubonyaabonya; abaagamba obulamu bwo nti kutama tuyiteko: naawe n’oteekawo amabegago ng’ettaka era ng’oluguudo eri abo abayitako.” Ennyir. 21-23.EE 407.1

    Eriiso lya Katonda, nga lirengera okuyita mu mirembe gyonna, lizze nga lyetegereza okubonaabona abantu be kwe bagendanga basanga, obuyinza bw’ensi nga bwekobaana okubalwanyisa. Era okufaanana n’abawambe, bagendanga kutya olw’okulaba ng’abagenda okussibwa enjala oba okufiira wakati mu kavuyo. Naye Oyo Omutukuvu eyayawulamu Ennyanja Emyufu mu maaso g’AbaYisiraeri, agenda kwolesa obuyinza obwamaanyi ge akyuse obuwambe bwabwe. “Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w’eggye, ku lunaku Iwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng’omusajja bw’asonyiwa mutabani we ye amuweereza.” Singa omusaayi gw’abajulizi ba Kristo abeesigwa, gubadde nga gwakuyiibwa mu kiseera kino, tegwandibadde nsigo ezisimbibwa okubala ebikungulwa eri Katonda ng’ogw’abajulizi bali. Obwesigwa bwabwe tebwandiviiriddeko balala okukkiriza amazima, kubanga abakakanyavu b’emitima bazze nga basindiikiriza eri oluggi olw’ekisa okutuusa Iwe lutakyayinza kweggula. Singa abatuukirivu kaakano balekebwa okugwa mu mikono gy’abalabe baabwe, obwo buba buwanguzi eri omulangira w’ekizikiza. Omuyimbi wa zabbuli agamba: “Kubanga ku lunaku olw’okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye. Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza.” Zabbuli 27:5. Kristo agambye nti: “Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okunyiiga Iwe kuliggwaawo. Kubanga, laba, Mukama aya ng’afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw’obutali butuukirivu bwabwe.” Isaaya 26:20,21. Kiriba kitiibwa kinene eri abanunule abazze nga balinda okujja kwe wakati mu kugumiikiriza nga n’amannya gaabwe gaawandiikibwa mu kitabo ky’obulamu.EE 407.2

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents