Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
Essuubi Eritaggwaawo - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    34 — Abafu Bayinzaokwogera N’abalamu?

    Amazima agagumya era agasanyusa buli mugoberezi wa Kristo g’eg’okuweereza kwa bamalayika nga bwe boogerwako mu Byawandiikibwa. Kyokka enjigiriza ya Bayibuli ku nsonga eno yayonoonebwa era n’enyoolebwa n’enjigiriza ez’obulimba eziriwo ensangi zino. Enjigiriza y’emyoyo egitafa, eyasooka okujjibwa mu ndowooza z’obukaafiiri, era n’eyingizibwa mu bukristaayo bwe waaliwo okugwa okwamaanyi okuva mu kukkiriza mu kiseera eky’ekizikiza, ewanyisiddwa n’ekigambo eky’amazima, ekiyigirizibwa okuyita mu Byawandiikibwa, nti “abafu tebalina kye bamanyi.” Abantu nkumu nnyo batuuse n’okukkiriza nti emyoyo gy’abafu “gy’emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw’abo abagenda okusikira obulokozi.” Kyokka era nga tebafuddeeyo na ku bujulirwa bw’Ebyawandiikibwa, nti waaliwo bamalayika okuva mu ggulu omuntu nga tannatondebwa, era ne bwe waali nga tewannabaawo muntu yenna afa.EE 354.3

    Enjigiriza etegeeza nti omuntu ne bw’afa aba akyategeera, naddala endowooza egamba nti emyoyo gy’abafu gikomawo okuweereza abalamu, ereeseewo obusamize obuli ku mulembe. Singa abafu bakkirizibwa okutuuka mu maaso ga Katonda ne bamalayika abatukuvu, ne bafuna n’omukisa gw’okuweebwa amagazi agasinga ku ago ge baalina, olwo Iwaki tebakomawo ne bageziwaza era n’okuyigiriza abalamu?EE 354.4

    Ddala emyoyo gy’abafu singa gijja ne gibeera kumpi ne mikwano gyabwe abali ku nsi, nga bannaddiini abamu bwe bayigiriza, lwaki teboogerako nabo, babalabule obutakola bibi, oba okubagumya nga bali mu nnaku? Lwaki abakkiririza mu ndowooza y’abafu okuba nga bakyategeera bagaana okukkiriza amazima agajja gye bali nga omusana oguva mu ggulu nga gutegeezebwa emyoyo egy’ekitiibwa? Wano we wali omukutu omugumu ddala Setaani gwakoleramu okutuukiriza ebigendererwa bye. Bamalayika abaagwa abakola by’ayagala balabikira mu kifaananyi ky’ababaka okuva mu nsi ey’omwoyo. Omulangira w’obulimba n’akozesa obulogo bwe ng’atuula ku birowoozo by’abantu era nga bw’abalaga nga abalamu bwe basobola okwogera n’abafu.EE 355.1

    Alina obuyinza okuleeta ebifaananyi by’abafu eri abaali mikwano gyabwe. Ekifaananyi ne kirabika nga kya mazima; endabika, ebigambo, enjogera, byonna nga by’ebyo byennyini. Bangi ne batuuka n’okulimbibwa nga bagumizibwa nti abaagalwa baabwe bali mu ssanyu mu ggulu beesiima, era nga tebafudde nayo ku kabi akayinza okuvaamu, ne bawuliriza “emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani.”EE 355.2

    Bwe batuuka okulimbibwa ne bakkiriza nti ddala abafu bakomawo ne boogerako nabo, Setaani aleeta n’abo abaafa ne baziikibwa nga si bakkiriza. Bategeeza nga bwe bali mu ggulu era nga basanyufu, era nga baaweebwayo n’ebifo ebyekitiibwa, olwo obulimba ne busasaana nga tewali njawulo eriwo wakati w’abatuukirivu era n’ababi. Bakyefuula bano abeefuula nti bagenyi abavudde mu nsi ey’emyoyo, oluusi boogera n’ebigambo eby’okulabula ate ebirabika nga ebituufu. Abantu bwe beeyongera okubassaamu obwesige, olwo ne baleeta enjigiriza ezisaabulula okukkiriza okuli mu Byawandiikibwa. Beeraga nga abafaayo era abalumirwa mikwano gyabwe abali ku nsi, eno nga bwe babayingizaamu enjigiriza ez’obulimba ate nga za bulabe. Olw’okubanga oluusi boogera ebigambo ebituufu, era nga basobola n’okwogera eby’okubaawo, abantu olwo batandika okwesiga ebigambo byabwe, olwo ne baaniriza obulimba bwabwe ng’amazima ageetengeredde, gy’oba ago ge mazima ga Katonda aga Bayibuli. Amateeka ga Katonda baagavaako, Omwoyo ow’ekisa n’anyoomebwa n’omusaayi ogw’endagaano ne gutabalwa nti gwa nsonga. Emyoyo gya Setaani tegikkiriza nti Kristo Katonda era gyenkanyankanya Omutonzi awamu na gyo. Bwatyo Setaani nga yeekwese mu ngeri eno endala ne yeeyongera okulwana ne Katonda mu lutalo olwatandikira mu ggulu ne lutuuka ne ku nsi kwe Iwakamala emyaka kumpi nga kakaaga.EE 355.3

    Bangi bagezaako okutwala obusamize buno nga obufuusa n’okubuzabuza bwe balaba abakola batyo. Naye newakubadde nga ebiva mu bulimba obwo bitera ne bikwekebwa okulabika nga amazima, naye era waliwo n’ebikolebwa amaanyi ga Katonda. Obulimba buno obwasibukamu obusamize obw’emirembe gino, tebwasooka kukolebwa bukalabakalaba bwa muntu, wabula okwo kwali kukola kwa bamalayika ba Setaani, abaasooka okugunjaawo obulimba obuzikiriza emyoyo. Bangi baakugwa mu mitego gya Setaani nga balowooza nti abantu be baagunjaawo obusamize olw’okwagala okunyaga bantu bannaabwe; nga bwe bamala ne balaba n’amaaso gaabwe ebikoleddwa ebitali bya bulijjo, babiraba nga amaanyi ga Katonda, olwo ne balimbibwa nga balowooza nti obwo buyinza bwa Katonda.EE 355.4

    Abantu bano babuusa amaaso gaabwe okugajja ku bujulirwa bw’ebyawandiikibwa ebitukuvu we byogerera ku byewuunyo Setaani n’ababaka be bye byakola. Setaani ye yakoza abalaguzi ba Falaawo ne bakola ng’ebyo ebyakolebwa Katonda. Pawulo akikkaatiriza nti, amaanyi ga Setaani gakweyongera okweyoleka mu ngeri yeemu Kristo nga tanakomawo mulundi gwakubiri. Setaani wakukola “n’amaanyi gonna n’obubonero n’ebyamagero eby’obulimba, n’okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu” (2Abasessaloniika 2:9,10), Mukama waffe ng’anaatera okudda. Era n’omutume Yokaana ng’ayogera ku buyinza obukola ebyamagero ebirigenda nga byeyoleka wano ne wali mu nnaku ez’enkomerero agamba nti: “N’ekola obubonero obunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g’abantu. N’erimba abatuula ku nsi olw’obubonero bwe yaweebwa okukola.” Kubikkulirwa 13:13,14. Obulimba obulagulwako wano si bwebwo obwa bulijjo. Abantu baakulimbibwa olw’ebyamagero ababaka ba Setaani bye balinako obuyinza okukola, so si lwakwefuula bwefuuzi.EE 356.1

    Omulangira w’ekizikiza amaze ebbanga eddene nga yeefunyiridde okulimba abantu bonna, akozesa ebikemo bye mu magezi ag’ekitalo okulimba abantu ab’engeri ez’enjawulo ne mu ngeri ez’enjawulo. Abantu abakkiririza mu mpisa ez’obuwangwa abayita mu busamize n’okweraguza asobole okubasuula mu mitego gye. Amagezi agaleetebwa obusamize g’ego omutume Yakobo g’ayogerako nti “si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani.” Yakobo 3:15. Kyokka kino kitaawe w’obulimba agezaako okukikweka mu ngeri esoboka okusobola okuyisaawo ebigendererwa bye. Oyo eyajja eri Kristo mu ddungu ng’ayambadde ekitiibwa kya baseraafi ab’omu ggulu ayinze okumukema, ajja eri abantu mu ngeri esikiriza ng’afaanana ne malayika ow’omusana. Aleeta ebirowoozo ebisikiriza; asanyukira nnyo ebintu ebyomuwendo omunene era ebicamuukiriza; n’afuna n’abamuwagira olw’okwogera kwe obulungi. Acamuukiriza ebirowoozo omuntu okutambulira mu bifo ebyawaggulu, abantu ne bafuna amalala mu mitima gyabwe olw’amagezi ge balina okutuuka okunyooma Abeerawo emirembe gyonna. Ekitonde kino ekyekitalo ennyo ekyatuuka n’okutwala Omulokozi w’ensi ku lusozi oluwanvu ennyo ne kimulengeza obwakabaka bwonna obw’ensi n’ekitiibwa kya bwo, kyakukema abantu mu ngeri ng’eyo okusobola okuwabya okutegeera kw&pos;abo bonna abatetooloddwa buyinza bwa Katonda.EE 356.2

    Setaani alimbalimba abantu leero nga bwe yalimbalimba Kaawa mu lusuku Adeni ng’ayogera ebigambo ebisikiriza, ng’akoleeza mu bo okwagala okufuna amagezi agatali mu buyinza bwe, ng’asiga okwegulumiza mu bo. Ekyo kye kyamuviirako okugwa olw’okwegomba ebibi bino, era afuba nnyo okubikozesa aleetere abantu bangi okuzikirira. “Nammwe muliba nga Katonda,” bw’agamba, “okumanyanga obulungi n’obubi.” Olubereberye 3:5. Obusamize buyigiriza “nti omuntu kye kitonde ekigenda nga kyeyongera okukulakulana; nti era yatondebwa kukula, okutuuka mu butaggwaawo, okusemberera obwakatonda.” Nti era: “buli muntu yeekomako ku bubwe, so si mulala y’amukomako.” “Ky’osalawo kye kibeera ekituufu, kubanga gwe weefuga.... Entebe efuga eri mu nda mu ggwe.” Olumu omuyigiriza w’obusamize bwe yali “alinnyiddwako emizimu,” yagamba nti: “Bantu bange, ffena twali bakatonda nga tetunagwa.” Ate omulala n’agamba nti: “Kristo kye kitonde kyokka ekitukuvu era ekyatuukirira.”EE 356.3

    Bwebatyo bwe bawanyisa obutuukirivu era n’obutukuvu bwa Katonda ataggwaawo, oyo yekka agwanidde okusinzibwa; era ne bawanyisa obutukuvu bw’amateeka ge, ekigera kyokka ekyaweebwa omuntu, Setaani n’abiwanyiisaamu n’obwonoonefu bw’omuntu eyagwa nti yagwanidde okusinzibwa, era nga y’alina obuyinza yekka okusalawo n’okulamula empisa ezigwana. Kituufu kuno kukulakulana, naye si Iwakugenda waggulu, wabula okwo kuba kudda wansi.EE 357.1

    Tteeka lya butonde erikwata ku kutegeera awamu ne mu bulamu obwomwoyo nti bwe tutunuulira ennyo ekintu tukyusibwa. Ebirowoozo bigenda biyingiza mpola ekyo ekibeera kiteekeddwako omwoyo. Biyiga era ne byefaananyiriza ekyo kye bisinga okwagala n’okusaamu ekitiibwa. Olwekyo omuntu taliyinza kusituka n’asinga obutukuvu bwe we bukoma, oba obulungi bwe wadde amazima g’ategeera. Okwerowoozaako bwe kiba nga ky’atwalira waggulu, talirowoozaayo kirala kigulumizibwa okusinga ku ekyo. Wabula, abeera yeyongera kukka wansi. Ekisa kya Katonda kyokka kye kirina obusobozi okusitula omuntu. Naye bw’atayambibwako, ekkubo aba alina limu lyokka, lya kukka wansi.EE 357.2

    Abaagala okwekkussa, abaagala amasanyu n’abeemalidde ku by’ensi, obusamize bweyoleka gye bali kyokka si mu ngeri yakyama nnyo okufaanana abafaayo era abasingako mu kutegeera; eri bo asinga kweyolekera mu ebyo bye beegomba. Setaani yeetegereza buli kabonero konna akalaga obunafu bw’omuntu, ne yeetegereza ebibi buli omu by’ayanguyirwa okukola, olwo n’ajjira mu kiseera nga buli kye yeetaaga weekiri okukkussa okwegomba kw’omubiri. Akema abantu okweyonoonesa ekisusse olw’obutegendereza mu ebyo ebirungi, batere banafuye emibiri gyabwe, amagezi gaabwe n’obulamu bwabwe obwomwoyo. Azikirizza bangi era akyazikiriza n’abalala nkumu okuyita mu kuyaayaana olw’okwagala okwekkussa, olwo n’atugumbula obutonde bw’omuntu yenna. Era olw’okwagala okutuukiriza omulimu gwe, kyava ayogera ng’ayita mu babaka be nti, “okumanya okutuufu kufuula omuntu oweddembe;” nti “buli ekiriwo, kye kisaana;” nti “Katonda tagenda kutuvunaana;” nti era “ebibi byonna ebikolebwa bikolebwa mu butamanya.” Abantu bwe batuuka okukkiriza batyo nti okwegomba lye tteeka ekkulu, nti eddembe likuwa olukusa okukola ky’oyagala, nti era omuntu yeenenya yekka, kati olwo tuba twewunyiza ki bwe tulaba nga obulyake n’obwonoonefu bw’empisa butuzinzeeko ffenna? Abantu nkumu bayayaanira okutwala enjigiriza ezibawa eddembe okugondera okwegomba kw’omutima. Okwefuga n’okugumiikiriza ne bimalibwawo okwegomba, okuteesa kw’ebirowoozo n’emmeeme ne kuba ng’okwensolo, olwo Setaani n’ajaganya ng’ayooledde bangi abeeyita abagoberezi ba Kristo mu kitimba kye.EE 357.3

    Kyokka waleme kubaawo alimbibwa olw’obulimba bw’obusamize. Kubanga Katonda awadde ensi omusana ogumala basobole okuzuula emitego gino. Nga bwe twasoose okulaba, endowooza eteekawo omusingi gw’obusamize erwanagana n’ekigambo kya Katonda. Bayibuli egamba nti abafu tebaliiko kye bamanyi; nti ebirowoozo byabwe bibula; nga tebakyalina mugabo mu ebyo ebikolebwa wansi w’enjuba; tebayinza kumanya ssanyu wadde okunyolwa mikwano gyabwe kwe baba batuuseemu wano ku nsi.EE 357.4

    Ate ekirala, Katonda agaana engeri yonna eteekawo empuliziganya n’ebyo ebirowoozebwa okuba emyoyo gy’abafu. Waaliwo abantu abamu mu biseera by’Abaebbulaniya abaagambanga okufaananako n’abasamize b’omu biseera byaffe nti, boogera n’abafu. Kyokka “emizimu” gino egyalowoozebwanga nti giva muEE 357.5

    nsi ndala Bayibuli egyogerako nga “balubaale.” (Laba Okubala 25:1-3; Zabbuli 106:28; lAbakkolinso 10:20; Kubikkulirwa 16:14.) Okusamirira balubaale, ekyo Bayibuli ky’eyogerako nti kyamuzizo eri Mukama, era nga Katonda yakigaana, eyagaananga yattibwanga. Abaleevi 19:31; 20:27. Ekiyitibwa okusamira kyonna kuba kunyooma. Waliwo n’abalowooza nti abantu okusobola okwetaba n’abafu nti ezo nfumo ezagunjibwa mu kiseera ky’ekizikiza. Obusamize obulina abagoberezi abali eyo mu nkumi n’enkumi, mazima bukadde na bukadde, kati nga bukolebwa ne bannasaayaansi, obusamize obuzinze amakanisa, obusanyukirwa abakiise b’enkiiko z’amawanga, nga butuuse ne mu mbiri z’abakabaka - obulimba buno buzuukidde buzuukizi, kaakano nga bwambadde eddiba ddala, bwe bulogo obwavumirirwanga era ne buganiibwanga mu biseera ebyedda.EE 358.1

    Bwe waba tewali bukakafu bulala bwonna obuyinza okulaga ekifaananyi ekituufu ku busamize, kino kyokka kimala eri Omukristaayo nti emyoyo emibi tegirabawo njawulo wakati w’obutuukirivu n’obubi, wadde wakati w’abatume ba Kristo abalungi era abatukuvu n’abaddu ba Setaani abasingayo okuba ababi. Setaani ategeeza eri ensi olw’abantu abasembayo okuba ababi abagambibwa nti bali mu ggulu, era nti bassibwamu ekitiibwa nti: “si kye kikulu ggwe okuba omwonoonefu; si kikulu ggwe okuba nga oli mukkiriza oba tokkiriza Katonda ne Bayibuli. Weeyise nga bw’oyagala; eggulu ge maka go.” Abasamize kyebategeeza kye kino, nti: Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era Mukama amusanyukira; oba nga mwebuuza nti Katonda omwenkanya ali ludda wa?” Malaki 2:17. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Zisanze abo abayita ekibi ekirungi, n’ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky’omusana, n’omusana mu kifo ky’ekizikiza.” Isaaya 5:20.EE 358.2

    Abatume, nabo baatuuka n’okulimbibwa emyoyo gino egy’obulimba, ne bakubagana empawa mu ebyo bye baawaandiika nga baluŋŋamizibwa Omwoyo Omutukuvu bwe baali ku nsi. Baawakanya Katonda okuba nga y’ensibuko ya Bayibuli, bwebatyo ne bamenya omusingi gw’essuubi ly’Obukristaayo era ne bazikiza omusana ogumulisa ekkubo erigenda mu ggulu. Setaani ayagala okutegeeza ensi nti Bayibuli nfumo ezagunjibwa, oba nti kitabo ky’abantu abakyali abato, nga kaakano kirabibwa nga ekitakyali ku mulembe. Kati olwo ekigambo kya Katonda n’akiwanyisaamu n’obusamize. Guno gwe mukutu gw’alinako obuyinza bwonna; era okuyita mu ggwo ensi yonna ayinza okugikozesa ky’ayagala. Ekitabo ekigenda okumusaliza omusango ye n’abagoberezi be, n’akisiikiriza ng’akiteeka wekitalabikira; Omulokozi w’ensi n’amufuula okuba omuntu waabulijyo. Era ng’abaserikale ba Luumi abaali bakuuma entaana ya Yesu bwe baasaasaanya obulimba bakabona n’abakadde bwe baabakuutira okwogera bawakanye okuzuukira kwe, n’abakkiririza mu byamagero ebikolebwa Setaani bwe bagezaako okukola nga bakiraga nti si kikulu nnyo Omulokozi waffe okuba nga mulamu. Olwo bw’amala okuteeka Yesu waatayinza kulabikira bulungi, olwo abantu ne bassa amaaso ku byamagero ye by’akola, nga bw’agamba nti bino bisukkuluma ku ebyo Kristo by’akola.EE 358.3

    Ky’amazima, obusamize bugenze bukyusa enfaanana ya bwo bufaanane Obukristaayo nga bwe bubikka ku bikolobero ebimu. Naye enjogera ya bwo okusinziira ku ebyo ebizze byeyoleka, ezze etegerekeka okumala emyaka mingi, era mu yo mwolabira empisa ze nga bwe zifaananira ddala. Enjigiriza ze zino teziyinza kukisibwa wadde okwegaanibwa.EE 358.4

    Bw’obwetegereza mu bissera bino, bulabika nga obutali bubi nnyo nga bwe bwali mu kusooka, kyokka bwa bulabe nnyo kubanga bukola mu ngeri ya lukujjukujuu mwe bulimbira. Wadde nga mu kusooka bwasooka ne buwakanya Kristo ne Bayibuli, ennaku zino bweraga nga bukkiriza byombi. Bayibuli ennyonnyolwa mu ngeri esanyusa omutima ogutazzibbwa buggya, olwo amazima agagirimu ne gamalwamu ensa. Okwagala ne kwogerwako nga y’empisa ya Katonda enkulu, kyokka ne kufeebezebwa okutuuka ku kucaamuukiza abantu nga tokyayinza kulabawo njawulo wakati wa bulungi n’obubi. Obutuukirivu bwa Katonda, bw’akyawamu ekibi, ebiragiro ebiri mu mateeka ge amatukuvu, ne bijjibwako amaaso. Abantu ne bayigirizibwa amateeka ekkumi kyokka nga tegalina maanyi ku bo. Enfumo ezisanyusa okuwulira, ne zitwala ebirowoozo byabwe, abantu ne bakyawa Bayibuli ekola omusingi gw’okukkiriza kwabwe. Kristo akyegaanibwa nga mu kusooka; kyokka Setaani azibye amaaso g’ abantu nga tebayinza kulaba bulimba buno.EE 359.1

    Batono nnyo abamanyidde ddala amaanyi g’obulimba bw’obusamize n’akabi akali mu kuwambibwa amaanyi gano. Bangi babuyingiramu Iwa kwagala kwesanyusa. Tebalina kye babutegeerako, era nga singa bafumiitiriza nti bali mu kweteeka mu bufuge bwa myoyo gino emibi, bandijjudde entiisa. Wabula basalawo okutambulira mu kkubo lye baziyizibwa okutambuliramu, olwo omuzikiriza n’akozesa obuyinza bwe bwonna abakozese ky’ayagala. Ne kamala kabatanda ne bakkiriza okugondera ebiragiro bye, olwo ng’amaze okubawamba. Kati olwo kiba kizibu nnyo okuwaguza ne bava mu bulimba bwe nga beesigamye ku maanyi gaabwe. Tewali kirala kyonna wabula amaanyi ga Katonda, agabaweebwa nga bayise mu kusaba okwamaanyi mu kukkiriza, ge gayinza okulokola emyoyo gino egyagwa mu kyambika.EE 359.2

    Abo bonna abasalawo okwonoona obulamu bwabwe, oba ne bakola ekibi mu bugenderevu, baba beeyitira bokka bikemo bya Setaani. Beeyawula okuva ku Katonda era ne ku bamalayika be ababakuuma; olwo omubi bw’aleeta obulimba bwe, baba tebalina bukuumi era bwebatyo ne bawambibwa. Abo bonna abakola batyo nga beeteeka mu buyinza bwe, bayinza obutamanya wa gye bagenda. Setaani bwamala okubawangula, olwo abakozesa ng’ababaka be okulimba abalala nabo bagwe mu kuzikirira.EE 359.3

    Isaaya nnabbi agamba nti: “Era bwe babagambanga nti mubuuze abo abaliko emizimu n’abafumu, abalira ng’ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by’abalamu bandibibuuzizza bafu? Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Oba nga teboogera ng’ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.” Isaaya 8:19,20. Singa abantu babadde bakkiriza okutwala amazima nga bwe gayigirizibwa mu Byawandiikibwa agakwata ku butonde bw’omuntu n’ekituuka ku muntu ng’afudde, bandisobodde okulaba mu ebyo obusamize bye bwogera ne bye bukola okukola kwa Setaani mu maanyi ge n’obubonero n’ebyamagero eby’obulimba. Mu kifo ky’okugondera eddembe eriweebwa abantu okusinga okwemalira ku by’omubiri, ne beegaana ebibi bye basinga okwagala, bangi baziba amaaso gaabwe baleme okulaba omusana ne batambula nga beeyongerayo, nga tebafuddeeyo na kukulabula okubaweebwa, eno nga Setaani bw’ayongera okubasibira mu kitimba kye okubazikiriza. “Kubanga tebakkirizza kwagala mazima, balyoke balokoke,” bwatyo “Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby’obulimba.” 2Abasessaloniika 2:10,11.EE 359.4

    Abo abawakanya enjigiriza z’obusamize, bali mu kulumba so si bantu bokka, naye Setaani ne bamalayika be. Bali mu kumeggana n’amagye g’emyoyo emibi, egy’abakungu, egy’ab’obuyinza, n’egy’abafuzi egy’omu bbanga. Setaani si wakukkiriza kufiirwa wadde akatundu akamu ak’ettaka wabula ng’asindikiriziddwa n’obuyinza bw’ababaka abava mu ggulu. Abantu ba Katonda kibagwanira okumwanukula nga n’Omulokozi waffe bwe yakola n’ebigambo bino nti: “Kyawandiikibwa.” Setaani asobolera ddala okujuliza mu Byawandiikibwa leero nga bwe yakolanga ne mu biseera bya Kristo, era wakunyoola enjigiriza ze asobole okunyweza obulimba bwe. Abo abanaayinza okuyimirirawo mu kiseera kino eky’obulabe kibagwanira okwetegerera bo ku bwabwe obujulirwa bw’Ebyawandiikibwa.EE 360.1

    Bangi bajja kulabikirwanga emyoyo gino emibi nga gijjira mu bifaananyi by&pos;abeŋganda zaabwe oba mikwano gyabwe nga gyogera ebigambo ebyobulabe ennyo ddala ate ebiwabya. Gijya kulaga nga bwe gibalumirwa ennyo n’okukola ebyewunyisa mu maaso gaabwe okunyweza obulimba bwa gyo. Kitugwanira okuba abeteefuteefu okugiwakanya n’amazima ag’ekigambo kya Katonda nti abafu tebaliiko kye bamanyi era nga ebyo ebirabika gy’emyoyo gya Setaani.EE 360.2

    Ebbanga si ddene tugenda kuyingirira “ekiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi.” Kubikkulirwa 3:10. Abo bonna abalina okukkiriza okutanywezeddwa bulungi mu kigambo kya Katonda bajja kugwa mu bulimba era bawangulibwe. Setaani akola “n’okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu” okuwamba abaana b’abantu, era obulimba bwe bwakugenda nga bweyongera. Kyokka atuuka ku kye yeetaaga abantu bwe baakkiriza okugondera ebikemo bye. Bonna abanoonya mu buwombeefu okutegeera amazima era nga bafuba okulongoosa emyoyo gyabwe okuyita mu kubeeranga abawulize, nga bakola kye basobola okweteekerateekera olutalo, baakuweebwa obukuumi mu Katonda ow’amazima. “Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa” (Olunny. 10), Omulokozi bwe yasuubiza. Mangu nnyo waakuweereza bamalayika bonna okuva mu ggulu bakuume abantu be okusinga okuleka omwoyo ogumu bweguti ogulina obwesige mu ye okuwangulibwa Setaani.EE 360.3

    Nnabbi Isaaya atulaga bulungi obulimba obw’ewunyisa obulituuka ku babi, nga beerimba bokka nga bwe balina obukuumi era nga tebalina kiyinza kubatuukako nti: “Kubanga mwogedde nti tulagaanye endagaano n’okufa, era tutabaganye n’amagombe; ekibonyobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby’obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w’obukuusa.” Isaaya 28:15. Abamu ku bantu aboogerwako wano mwe muli abaasalawo okugugubya emitima gyabwe, abeegumya nga beeteekamu essuubi nti omwonoonyi talibonerezebwa; nti abantu bonna, si nsonga boonoonefu kyenkana ki, baakuweebwa ebifo ebyekitiibwa mu ggulu, babeere nga bamalayika ba Katonda. Naye era waliwo n’abo abakola endagaano enywevu n’okufa ne bategeeragana n’amagombe, abagaana amazima agaweebwa okuva mu ggulu, ago agakuuma abatuukirivu ku lunaku lw’ekibonyoobonyo, nga bafudde eby’obulimba bwa Setaani ekiddukiro - kwe kubuzaabuza kw’obusamize.EE 360.4

    Ekisinga okwewunyisa bwe buzibe bw’amaaso obuli mu bantu aboomulembe guno obutayogerekeka. Abantu nkumi na nkumi bagaana ekigambo kya Katonda nga bagamba nti tekikkirizika, kyokka ne bayayaana nga batwala obulimba bwa Setaani. Abantu ababuusabuusa n’abasekerezi banenya nnyo abo abaagala okwetwalira ekyokulabirako ky’okukkiriza kwa bannabbi n’abatume nga babasekerera okubawugula okujja ebirowoozo byabwe ku Byawandiikibwa ebyogera ku Kristo n’enteekateeka y’obulokozi, n’ekiruyi ekirisasulwa abo abagaanyi okwetwalira amazima. Baleeta okutya mu birowoozo by’abantu abato mu kukkiriza, abanafu era abakyakkiririza mu malogo ne batakkiriza kigambo kya Katonda n’okugondera ebiragiro ebiri mu mateeka ge. Babagumya nga balinga ddala abaakola endagaano n’okufa ne bategeeregana n’amagombe - nga kiringa abaateekawo omuziziko omugumu ddala era ogutayitamu kintu kyonna nga guli wakati waabwe ne n’ekiruyi kya Katonda. Tewali kintu kyonna kiyinza kuleeta kutya mu bo. Bonna bali mu mikono gya mukemi, nga beegasse nnyo nnyini ddala, era bonna basaabaanye ebirowoozo bye nga tebakyalina maanyi wadde obusobozi okukutula ekitimba kye.EE 361.1

    Setaani amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka okukola olulumba olusembayo okulimba ensi. Omusingi gwe yakola yaguteekawo Iwe yakakasa Kaawa mu lusuku Adeni nti: “Okufa temulifa.” “Kubanga olunaku Iwe muligulyako, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda, okumanyanga obulungi n’obubi.” Olubereberye 3:4,5. Agenze azimbira ku musingi ogwo obulimba bwe okugutuusa ku busamize. Tanaba kutuukira ddala kigendererwa kye kyennyini; kyokka ajja kukituukako mu nnaku ze ezisemberayo ddala. Nnabbi agamba nti: “Ne ndaba... emizimu emibi esatu, nga giri ng’ebikere: kubanga gye mizimu gya balubaale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b’ensi zonna, okubakuŋŋaanya eri olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinzaweebintu byonna. Kubikkulirwa 16:13,14. Okujjako abo bokka abanaakuumibwa amaanyi ga Katonda, okuyita mu kukkiriza ekigambo kye, ensi yonna yakumalibwawo ng’eggweera mu bulimba buno. Abantu baanguwa mbiro nga babuguyazibwa n’obukuumi obutaliimu, we balizuukukira nga bali mu kufukibwako kiruyi kya Katonda.EE 361.2

    Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, nti: “Era ndifuula omusango okuba omuguwa ogugera, n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza: n’omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky’omulimba, n’amazzi galyanjaala mu kifo ky’okwekwekamu. N’endagaano gye mwalagaana n’okufa eriuulukuka, so n’okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n’amagombe tekulinywera; ekibonyobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu ne kiryoka kibalinnyirira wansi.” Isaaya 28:17,18.EE 361.3

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents