Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
Essuubi Eritaggwaawo - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    28 — Ebitabo Bikeberwa

    “Ne ndaba,” nnabbi Danieri agamba, “okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. Omugga gw’omuliro ne gutiriika okuva mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa.” Danieri 7: 9,10.EE 308.5

    Bw’atyo nnabbi bwe yalagibwa mu kwolesebwa olunaku olukulu era olw’entiisa empisa era na buli bulamu bwa muntu lwe birikeberwa mu maaso g’Omulamuzi omukulu ow’ensi, era “alisasula buli ng’ebikolwa bye bwe byali.” Omukadde eyaakamala ennaku ennyigi ye Katonda Kitaffe. Omuyimbi wa zabbuli agamba: “Ensozi nga tezinnazaalibwa, era nga tonnabumba nsi n’ebintu, okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.” Zabbuli 90:2. Oyo ye nsibuko ya buli kintu, era ensulo ya buli tteeka, agenda okusala omusango. “Enkumi n’enkumi, n’obukumi emirundi akakumi” ku bamalayika abatukuvu abamuweereza era abaliwo ng’abajulizi, baaliwo mu kkooti enkulu eno.EE 309.1

    “Era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajuira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, baamuweerezanga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” Danieri 7: 13,14. Okujja kwa Kristo okwogerwako wano si kwekwo okw’omulundi gwe ogwookubiri ng’akomawo ku nsi. Agenda eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi mu ggulu okuweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, obulimuweebwa ku nkomerero y’okuweereza kwe nga omutabaganya. Okwo kwe kujja okwalangibwa mu bunnabbi okwaliwo ku nkomerero y’ennaku 2300 mu 1844, so si kujja mulundi gwakubiri. Nga yenna yeetoolodwa bamalayika ab’omu ggulu, Kabona waffe asinga obukulu yayingira mu watukuvu w’awatukuvu okulabika mu maaso ga Katonda ng’atandika obuweereza bwe obukomererayo ku Iw’omuntu kwe kukebera ebitabo mu kusala omusango n’okutangirira buli yenna eyalabika ng’asaanira.EE 309.2

    Mu kuweereza okw’oku nsi, buli yenna eyajjanga eri Katonda nga ayatudde obutali butuukirivu bwe era nga yeenennyezza, era ng’ebibi bye, okuyita mu musaayi gwa ssaddaaka ey’ekibi, bimuggiddwako ne biyingizibwa mu watukuvu, yeetabanga mu kuweereza okw’okutangirira. Era bwekityo bwekiriba ne ku lunaku olukulu olw’okutangirira okulisembayo awamu ne mu kukebera ebitabo mu kusala omusango: amannya g’abo bokka agalirowoozebwako ge g’abantu ba Katonda. Okusala omusango gw’ababi kwo kwanjawulo, era kweyawudde, era kwa kubaawo mu kiseera eky’omumaaso eyo. “Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda.” 1 Peetero 4:17.EE 309.3

    Ebitabo eby’omu ggulu omuwandiikibwa amannya n’ebikolwa bya buli muntu, bya kwesigamizibwako ensala y’omusango. Anti nnabbi agamba: “Entebe ne ziteekebwawo, ebitabo ne bibikkulwa.” Omubikkuzzi bwe yali ng’annyonnyola ebyali mu kifo ekyo ayongerako na kino nti, “n’ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky’obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu kitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali.” Kubikkulirwa 20:12.EE 309.4

    Ekitabo ky’obulamu kirimu mannya g’abo bonna abakkiriza okwetaba mu kuweereza kwa Katonda. Yesu yawenya ku bayigirizwa be nti: “Musanyuke, kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.” Lukka 10:20. Pawulo ayogera ku bakozi banne abeesigwa nti, “amannya gaabwe gali mu kitabo ky’obulamu.” Danieri bwe yalengera n’alaba “ekiseera eky’okunakuwaliramu, ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga,” yalaba ng’abaana ba Katonda baliwonyezebwa, “buli muntu alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo.” Ne Yokaana omubikkuzziEE 309.5

    agamba nti amannya g’abo “abawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu eky’omwana gw’endiga,” be bokka abaliyingira ekibuga kya Katonda. Kubikkulirwa 21:27.EE 310.1

    “Ekitabo eky’okujjukiza ne kibawandiikirwa,” mu maaso ga Mukama omuli obuwandiike bw’ebikolwa byabwe ebirungi “abo abaatya Mukama era ne balowooza erinnya lye.” Malaki 3: 16. Ebigambo byabye eby’okukkiriza, ebikolwa byabwe eby’okwagala, byonna biwandiikibwa mu kitabo kino eky’omu ggulu. Era kino Nekkemiya kye yali ayogerako bwe yagamba nti: “Onjijjukiranga ai Katonda wange,... so tosangula bikolwa byange ebirungi bye nnakolera ennyumba ya Katonda wange.” Nekkemiya 13: 14. Ebikolwa byonna eby’obutuukirivu biwandiikibwa mu kitabo kya Katonda kino eky’okujjukiza okubeerea omwo olubeerera. Buli kikemo kyonna ekyewaliddwa, buli bubi obuwanguddwa, ekigambo kyonna eky’okusaasira, byonna mwe biwandiikibwa. Okwerumya okwengeri yonna, okubonaabona n’ennaku ebigumiikiriziddwa ku lwa Kristo, mwe biwandiikiddwa. Omuwandiisi wa zabbuli agamba: “Ggwe obala okutambulatambula kwange: oteeka amaziga gange mu kasumbi ko; tewagawandiika mu kitabo kyo?” Zabbuli 56: 8.EE 310.2

    Era waliwo n’obuwandiike obw’ebibi by’abantu. “Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi, oba nga kibi.” “Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw’omusango. Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n’ebigambo byo bye birikusinza omusango.” Omubuulizi 12: 14; Matayo 12: 36,37. Ebigendererwa ebikyamu ebikisiddwa awamu n’endowooza yonna birabikira mu kitabo kino omutali nsobi; kubanga Katonda “alimulisa ebikwekeddwa eby’omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw’omu mitima.” lAbakkolinso 4:5. “Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange,... obutali butuukirivu bwammwe n’obutali butuukirivu bwa bajyajjamwe wamu, bw’ayogera Mukama.” Isaaya 65:6,7.EE 310.3

    Buli mulimu gwa buli muntu gwa kukeberwa mu maaso ga Katonda era gwawandiikibwa olw’okulaba obwesigwa n’obutali bwesigwa bw’abantu. Era ku buli linnya eryawandiikibwa mu bitabo eby’omu ggulu kugobererwako buli kigambo kyonna ekibi nga bwe kyali, okwerowoozaako okwengeri zonna, obuvunaanyizibwa obutaatukirizibwa, na buli kibi eky’omu kyama era n’okubuzaabuza okwengeri zonna. Obubaka obw’okulabula nga buva mu ggulu oba okunenya okulagajjaliddwa, ebiseera ebyonooneddwa, emikisa egitavisiddwamu magoba, okusendasenda kwonna okw’obubi awamu n’ebibi ebivaamu, byonna biwandiikibwa malayika awandiika.EE 310.4

    Ekigera okulipimirwa empisa era na buli bulamu bwa muntu mu kusala omusango ge mateeka ga Katonda. Omusajja omugezigezi agamba: “Otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu. Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu.” Omubuulizi 12:13,14. Omutume Yakobo abuulirira baganda be nti: “Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng’abagenda okusalirwa omusango n’amateeka ag’eddembe.” Yakobo 2:12.EE 310.5

    Abo abalisangibwa nga “basaanira” mu kiseera eky’okusala omusango, be balibeera mu kuzuukira okw’abatuukirivu. Yesu yagamba nti: “Naye bali abalisaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw’omu bafu... kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b’okuzuukira.” Lukka 20: 35,36. Era agamba nti: “Abo abaakolanga ebirungi, balizuukirira obulamu.” Yokaana 5:29. Abafu abatuukirivu tebalizuukizibwa okutuusa ku nkomerero y’okusalaEE 310.6

    omusango Iwe balisangibwa nga basaanyizibwa “okuzuukirira obulamu.” Bwekityo si baakubaawo mu buntu ku mmeeza esalirwako emisango ebikolwa byabwe bwe biriba bikeberebwa n’okubasalira omusango.EE 311.1

    Kristo yaaliyimirirawo ku Iwabwe ng’omuwolereza, nga yeegayirira ku Iwabwe mu maaso ga Katonda. “Era omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Katonda, Yesu Kristo omutuukirivu.” l Yokaana 2:1. “Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n’emikono, ekyafaanana ng’ekyo eky’amazima; naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda ku Iwaffe.” “Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.” Abaebbulaniya 9:24; 7:25.EE 311.2

    Ebitabo bwe biriba bibikkulibwa mu kusala omusango, obulamu bwa buli omu eyakkiriza Yesu bwakulabika mu maaso ga Katonda. Nga atandikira ku abo abasooka okubeerawo ku nsi, Omuwolereza waffe wa kwanjula amannya ga buli mulembe ogugenda guddako, olwo afundikire n’abalamu abalibeerawo. Buli linnya lyakwogerwako, era buli muntu yeetegerezebwe. Amannya agamu gaakukkirizibwa, amannya amalala gagaanibwe. Bwe walibeerawo abakyalina ebibi byabwe mu bitabo nga tebabyenenyanga wadde okusonyiyibwa, amannya gaabwe gaakusangulibwa okuva mu kitabo eky’obulamu, n’ebikolwa bybwe ebirungi bisangulibwe mu kitabo kya Katonda eky’okujjukiza. Mukama yagamba Musa nti: “Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnasangula mu kitabo kyange.” Okuva 32:33. Ne nnabbi Ezeekyeri agamba: 4tNaye omutuukirivu bw’akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n’akola ebitali bya butuukirivu,...tewaliba ku bikolwa bye eby’obutuukirivu ebirijjukirwa.” Ezeekyeri 18:24.EE 311.3

    Abo bonna abeenennyezza mu mazima, era okuyita mu musaayi gwa Kristo ne basaba okusonyiyibwa olwa ssaddaaka ye, baweebwa ekisonyiwo era ne kiwandiikibwa ku mannya gaabwe mu bitabo eby’omu ggulu; olw’okubanga bakkiriza okussekimu n’obutuukirivu bwa Kristo, era n’empisa zaabwe ne zisangibwa nga zitabagana n’amateeka ga Katonda, ebibi byabwe byakusangulibwawo, bwebatyo ne babalibwa okuba nga basaanidde okufuna obulamu obutaggwaawo. Mukama ayogera ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti: “Nze, nze mwene, nze nzuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo.” Isaaya 43:25. Yesu yagamba nti: “Bw’atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n’akatono linnya lye mu kitabo ky’obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange, ne mu maaso ga bamalayika be.” “Kale buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Naye yenna alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” Kubikkulirwa 3:5; Matayo 10:32,33.EE 311.4

    Ekimu ku bintu ebisinga okusanyusa kwe kusalawo kw’emisango mu kkooti z’abantu so nga zirina ekifaananyi kitono ddala ku kkooti ez’omu ggulu eri amannya agaayingizibwa mu kitabo eky’obulamu bwe galeetebwa okwetegerezebwa mu maaso g’Omulamuzi wa bonna abali ku nsi. Katonda Omuwolereza awoza nga bw’ategeeza nti abo bonna abawangudde okuyita mu kukkiriza omusaayi gwe basonyiyibwe okwonoona kwabwe, bazzibweyo mu maka gaabwe ag’omu Adeni, era battikkirwe engule ez’okuba abasika awamu naye ku “kufuga okwedda.” Mikka 4:8. Setaani mu bukujjukujju bwe yafuba okubuzaabuza olulyo Iwafife, ngaEE 311.5

    ky’ayagala kwe kwonoona enteekateeka ya Katonda mu kutonda omuntu; naye kaakano Kristo alagira nti enteekateeka eno eddemu okugoberebwa nga kiringa omuntu atayonoonangako. Yeegayirira ku Iw’abantu si Iwa kisonyiwo kyokka n’okuweebwa obutuukirivu mu bujjuvu era obutuukiridde, naye era baweebwe ne ku kitiibwa kye ekitukuvu era basikire wamu naye entebe ey’obwakabaka bwe.EE 312.1

    Eno Kristo nga bw’ali mu kwegayirira ku Iw’abantu be olw’ekisa kye, ne Setaani ku ludda olulala ali mu kubavunaana nga bwe bali abamenyi b’amateeka. Ssabalimbi yeefunyiridde okubayingizaamu okubuusabuusa, baggweemu obwesige mu Katonda, beeyawule okuva ku kwagala kwe, era bamenyere ddala amateeka ge. Abalaga ensobi zaabwe, nga bwe batatuukiridde, Kristo by’akyawa, ebyaleetera okuswaza Omununuzi waabwe, n’ebibi byonna by&pos;azze ng’abakozesa, era olwa bino byonna kyava abakayanira nti babe.EE 312.2

    Kristo taleka bulesi bibi byabwe, wabula alagayo okubonerera kwabwe awamu n&pos;okukkiriza, era naye nga bw’abasabira okusonyiyibwa eno nga bwasitula ebibatu by’emikono gye ebyafumitibwa mu maaso ga Kitaffe ne bamalayika, nga bw’agamba nti: Mmanyi amannya gaabwe, nnaboola ku bibatu by’emikono gyange. “Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: omutima ogumenyese, ai Katonda, togugayenga.” Zabbuli 51:17. Era n&pos;agamba ssabaloopi nti: “Mukama akunenye, ggwe Setaani; wewaawo Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?” Kristo waakwambaza abeesigwa be n’obutuukirivu bwe asobole okubanjulayo eri Kitaawe nga “ekkanisa ey’ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino.” Abaefeso 5: 27. Amannya gaabwe nga gawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, nga kuliko ebigambo bino nti: “Balitambula nange mu ngoye enjeru; kubanga basaanidde.” Kubikkulirwa 3:4.EE 312.3

    Bwekityo ekisuubizo ky’endagaano empya ne kiryoka kirituukirira mu bu[juvu nti: “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe sirikijjukira nate.” “Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw&pos;ayogera, Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya, so nga tewali; n’ebibi bya Yuda, so tebirirabika.” Yeremiya 31:34; 50:20. “Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n’ebibala by’ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi. Awo olulituuka oyo asigadde mu Sayuuni n’oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi.” Isaaya 4:2,3.EE 312.4

    Omulimu gw’okukebera ebitabo mu kusala omusango n’okusangulawo ebibi gwakumalirizibwa Mukama waffe nga tannakomawo mulundi gwakubiri. Era olw’okubanga ababi balisalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, olwo kiba tekisoboka okusangulawo ebibi by’abantu mu kiseera kino okutuusa nga wabaddewo okunoonyereza ku misango gyabwe. Kyokka omutume Peetero akyawula bulungi nnyo bw’agamba nti ebibi by’abakkiriza byakusangulibwawo “ebiro eby&pos;okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke; naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu.” Ebikolwa 3:19,20. Okukebera ebitabo mu kusala omusango bwe kunaggwa, Kristo waakukomawo ng&pos;ajja n&pos;empeera ye okusasula buli muntu ng&pos;ebikolwa bye bwe biri.EE 312.5

    Mu kuweereza okw’oku nsi, kabona asinga obukulu bwe yamalanga okutangirira Isiraeri, yafulumanga okuwa omukisa ekibiina kyonna. Ne Kristo bwatyo, kuEE 312.6

    nkomerero y’okuweereza kwe nga omutabaganya, alirabika “awatali kibi” (Abaebbulaniya 9:28), okuwa abantu be obulamu obutaggwaawo eri abo ababadde bamulindirira. Okufaanana nga ne kabona, bwe yaggyangawo ebibi okuva mu yeekaalu, n’abyatulira ku mutwe gw’embuzi ya Azazeri, ne Kristo waakuteeka ebibi byonna ku Setaani, ensibuko era omutandisi w’ekibi. Embuzi ya Azazeri, eyeetikanga ebibi bya Isiraeri, yasindiikirizibwanga “mu nsi eteriimu bantu” (Abaleevi 16:22); ne Setaani bwatyo, alyettikka omusango gw’ebibi byonna bye yatuusa ku bantu ba Katonda, alisibirwa ku nsi eno eriba esigadde amatongo, so nga temuli muntu n’omu, okumala emyaka lukumi, era oluvannyuma aweebwe ekibonerezo ky’ekibi mu bujyuvu wakati mu muliro ogulizikiriza obubi bwonna. Bwetyo enteekateeka y’obulokozi nnamutaayiika lw’eriba etuuse ku ntikko y’okusaanyaawo ekibi n’okununula abo bonna ababadde abamalirivu okwegaana ekibi.EE 313.1

    Omulimu gw’okukebera ebitabo mu kusala omusango n’okusangulawo ebibi gwatandikibwa okukolebwa mu 1844, ekiseera ekyalondebwawo okutandika okusala omusango - y’enkomerero y’ennaku 2300. Bonna abazze nga beetwalira erinnya lya Kristo bateekwa okuyita mu kakuŋŋunta ako. Abalamu era n’abafu baakusalirwa omusango “mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali.”EE 313.2

    Ebibi byonna abantu bye bateenenyezza era ne babyerabira si byakusonyiyibwa wadde okuggibwa mu bitabo gye biwandiikibwa, wabula byakuyimirirawo ng’omujulizi eri omwonoonyi ku lunaku Iwa Katonda. Ayinza okuba ng’ekibi kye yakikola obudde bwa misana oba wakati mu kizikiza eyo mu kiro; naye kyali kirabika era nga kyeyolese mu maaso g’oyo atutegeera. Bamalayika ba Katonda baalinga balaba buli kibi ekikolebwa era ne kiwandiikibwa mu buwandiike obutasanguka. Ekibi kiyinza okukisibwa, kiyinza okwegaanibwa, n’okikweka kitaawo, nnyoko, mukyala wo, abaana bo, mikwano gyo; nga teri mulala wabula omukozi waakyo nga yakyetegerera; naye mu maaso ge ggulu kiba kyetadde. Ekizikiza wakati mu ttumbi, n’okukisa kwonna okukyasinzeeyo, tebiyinza kusiikiriza kutegeera kw’Oyo abeerawo emirembe gyonna. Katonda alina obuwandiike bwa buli kikolwa ekitali kya butuukirivu awamu n’ebikolwa ebitali bya bwenkanya. Talimbibwalimbibwa na ndabika ya kungulu. Tawubwa mu kulumiitiriza kwe eri omuntu yenna. Abantu bayinza okulimbibwa bannaabwe abalina emitima emyonoonefu, naye Katonda asensera okwefuula kwa buli ngeri yonna era ye asoma omutima.EE 313.3

    Nga kya ntiisa nnyo! Buli lunaku oluyitawo luliko obuwandiike obuteekebwa mu bitabo bye ggulu. Buli kigambo ekyali kyogeddwa, n’ebikolwa ebitali bimu, biyinza okwerabirwa. Kyokka bo bamalayika bawandiika buli kikolwa ekirungi wadde n’ekibi. Omuwanguzi nnamige ku nsi tayinza wadde okujjukirayo ebikolwa eby’olunaku olumu Iwokka. Wabula ebikolwa byaffe, ebigambo byafife, newakubadde ebyo ebiri mu mitima gyaffe, byakutusaliza omusango oba ku lw’obulungi oba ku lw’obubi. Newakubadde nga tuyinza okubyerabira, byakutujulira okutuweesa obutuukirivu oba okutusingisa omusango.EE 313.4

    Ng’omubumbi bw’abumba ebibumbe ne bisobola okuba nga bifaananira ddala mu ndabika awatali kuwubwa, bwekityo, n’empisa za buli muntu bwe zibumbiddwa mu bitabo eby’omu ggulu. Naye ng’okweralikirira kutono ddala abantu kwe bawulira olw’obuwandiike obwo obulitunulwako ebitonde eby’omu ggulu. Singa olutimbe olwawula ensi eno ku nsi eterabwa na maaso luggibwawo, abaana b’abantu ne balabaEE 313.5

    malayika ng’awandiika buli kigambo na buli kikolwa ekikolebwa, byebalisanga ku lunaku Iw’omusango; ng’ebigambo bingi ebyogerwa buli lunaku ebitandiyogeddwa, ng’ebikolwa bingi ebikolebwa ebitandikoleddwa.EE 314.1

    Engeri talanta zaffe gye zikozesebwamu yakwetegerezebwa ku lunaku lw’omusango. Tukozesezza tutya ebyo eggulu bye lyatusigira? Mukama waffe bw’alikomawo aliweebwa ebibye nga mulimu amagoba? Tukulakulanyizza obuyinza obwatuweebwa, mu mikono gyaffe, mu bwongo bwaffe ne mu mutima, okuweesa Katonda ekitiibwa n’ensi okuweebwa omukisa? Tukozesezza tutya ekiseera kyaffe, ekkalaamu zaffe, amaloboozi gaffe, ensimbi zaffe, n’amaanyi gaffe? Kristo tumukoledde ki ali mu kifaananyi ky’abanaku, ababonaabona, bamulekwa, oba bannamwandu? Katonda yatuteresa ffe ekigambo kye ekitukuvu; naye omusana awamu n’amazima ebyatuweebwa okugeziwaza abantu beefunire obulokozi tubikozesezza tutya? Okwatula obwatuzi erinnya lya Kristo si kye kyo’omuwendo; naye okwagala okulagibwa okuyita mu bikolwa kwe kubeera okwamazima. So era kwagala kwe kufuula ekikolwa kyonna eky’omuwendo mu maaso g’eggulu. Buli ekikolebwa okuyita mu kwagala, newakubadde nga kitono kitya mu maaso g’abantu, kisiimibwa era Katonda akiweera empeera.EE 314.2

    Okwerowoozaako okukwekeddwa mu mitima gy’abantu kulabibwa kyeere mu bitabo eby’omu ggulu. Obuwandiike obuli eyo bulaga obuvunaanyizibwa bwabwe bwe batatuukirizza eri bantu bannaabwe, olw’okwerabira Kristo by’ayagala. Era eyo gye balirabira emikisa egyaweebwa Setaani omuli ekiseera, okulowooza n’amaanyi ebyali ebya Kristo. Kyannaku nnyo okulaba obuwandiike obwo bamalayika bwe bakutte okulaga eri eggulu. Ebitonde ebyagwa, n’ababadde abagoberezi ba Kristo abaamalibwawo n’okwekuŋŋanyizaako obugagga bw’ensi, oba okusanyukiranga amasanyu g’ensi. Ensimbi, ebiseera, n’amaanyi byonna biweereddwayo olw’okweraga n’okweyonoonesa; kyokka nga bawaddeyo ekiseera kitono ddala olw’okusaba, okunoonya mu Byawandiikibwa, okwetoowaza mu mwoyo n’okwatula ebibi.EE 314.3

    Setaani avumbudde engeri nnyingi ezijjuza ebirowoozo byaffe, olwo bireme okulowooza ku mulimu gwennyini gwe tugwanidde okumanya obulungi. Omulyolyomi akyawa amazima agooleka ssaddaaka ya Kristo etangirira era etabaganya omuntu ne Katonda. Akimanyi nga ebintu byonna byetoloolera ku ye mu kuwabya ebirowoozo by’abantu okubiggya ku Yesu n’amazima agali mu kigambo kye.EE 314.4

    Abo bonna abandyagadde okwetwarira ku mikisa gy’okutabaganya kw’Omulokozi kibagwanidde obutawubisibwa okuva ku buvunaanyizibwa bwabwe obw’okwetukuza mu kutya Katonda. Essaawa ezo ez’omuwendo, mukifo ky’okuzimalira mu kwesanyusa, okweraga, oba okunoonya ebitiibwa, ziwongebweyo olw’okusaba n’okuyiga ekigambo eky’amazima. Ekyokuyiga ky’ekifo ekitukuvu n’okukebera ebitabo mu kiseera eky’okusala omusango bigwanibwa okutegeerebwa obulungi abantu ba Katonda. Abantu bonna kibagwanira okwetegeerera bo ku bwabwe ekifo Kristo mwali era n’omulimu gw’akola nga Ssabakabona omukulu. Bwekitaba kityo baakukaluubirirwa okuba n’okukkiriza mu kiseera kino oba okutuukiriza Katonda ky’abagaza okukola. Buli mukkiriza alina omwoyo ogulina okulokolebwa oba okubula. Era buli omu alina ensonga ey’okuwoza ku mmeeza esalirwako emisangoEE 314.5

    eya Katonda. Buli omu waakuyimirira maaso na maaso n’Omulamuzi omukulu. Abange, nga kikulu buli muntu okufumiitiriza ku kkooti eyo Iw’erituula, ebitabo ne bibikkulwa, buli omu Iw’aliyimirira, nga ne Danieri, mu kifo kye ye ku nkomerero y’ekiseera.EE 315.1

    Buli abo bonna abafunye omusana ku byokuyiga bino baakutegeeza obujulirwa obwo obukulu obwamazima Katonda bwe yabakwasa. Yeekaalu ey’omu ggulu y’entabiro y’omulimu gwa Kristo gw’akola ku Iw’abantu. Ezingiramu buli mwoyo gwonna oguli ku nsi. Etubikkulira ne tulaba enteekateeka y’obulokozi, okutuuka ku nkomerero y’ekiseera, era n’etubikkulira ensonga enkulu ey’obuwanguzi mu lutalo wakati w’obutuukirivu n’ekibi. N’olwekyo kikulu nnyo abantu bonna okunoonyereza ku byokuyiga bino era bayinze okwanukula buli oyo yenna ababuuza ku ssuubi lyabwe lye balina.EE 315.2

    Kristo okwegayirira ku Iw’omuntu mu yeekaalu ey’omu ggulu nsonga nkulu nnyo mu nteekateeka y’obulokozi okufaanana n’okufa kwe ku musaalaba. Yatandika omulimu ogwo bwe yafa era oluvannyuma bwe yazuukiriza n’alinnya mu ggulu okugumaliriza. Naffe kitugwanira okuyingira wamu ne “Yesu mwe yayingira omukulembeze ku Iwaffe.” Abaebbulaniya 6:20. Eyo gye tulabira omusana nga gumulisa okuva ku musaalaba e Gologoosa. Eyo gye tuyinza okwetegerereza obulungi ebyama by’okulokolebwa. Eggulu lyasasulira okulokolebwa kw’omuntu omuwendo ogutabalika; ssaddaaka eyaweebwayo ng’etuukira ddala ku mateeka ga Katonda agaamenyebwa kye gasaba mu bugazi bwakyo. Yesu yaggulawo ekkubo erituuka ku ntebe ya Katonda, era okuyita mu ye abo abamunoonya mu mazima nga bajja gyali okuyita mu kukkiriza abanjulayo eri Katonda.EE 315.3

    “Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna omukisa.” Ngero 28:13. Singa abo bonna abagezaako okubikka n’okuwolereza ensobi zaabwe bayinza okulaba nga Setaani bw’ajaganya, nga bwasoomoza Kristo ne bamalayika abatukuvu olw’ebyo bye bakola, bandidduse mbiro okugenda okwatula ebibi byabwe era n’okubyerabira. Setaani asinziira ku bunafu bw’omuntu okufuga ebirowoozo bye byonna, era nga akimanyi nti omuntu bw’asigala nga yeegombeza mu bwo, wakumuwangula. N’olwekyo Setaani yefunyiridde okulimba abagoberezi ba Kristo ng’akozesa obukujjukujju nti kizibu bo okuwangula. Kyokka Kristo yeegayirira ku Iwabwe nga bw’alagayo ebiwundu ebiri mu bitatu bye, omubiri gwe ogwafumitibwafumitibwa; n’ategeeza buli ayagala okumugoberera nti: “Ekisa kyange kikumala.” 2Abakkolinso 12:9. “Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu mwoyo gwammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” Matayo 11:29,30. Olwekyo, tewabaawo agamba nti obunafu bwange tebuyinza kuwona. Katonda waakumuwa okukkiriza n’ekisa kye ayinze okubuwangula.EE 315.4

    Kaakano tuli mu biro eby’okutangirira. Mu kuweereza okw’oku nsi, kabona asinga obukulu bwe yabanga ali mu kutangirira Isiraeri, buli omu kyamugwaniranga okwebonyabonya nga yeenenya ebibi bye n’okwetoowaza mu maaso ga Mukama, si kulwa nga asalwako ku bantu. Mu ngeri yeemu, abo bonna abandyagadde amannya gaabwe gasigale mu kitabo eky’obulamu kibagwanira kaakano, ku nnaku entono ennyo ezisigaddeyo ekiseera eky’ekisa okuggwaako, babonyebonye emyoyoEE 315.5

    gyabwe mu maaso ga Katonda nga banakuwalira ekibi n’okwenenya okwamazima. Wateekwa okubaawo okwenoonya mu mutima okwamazima. Omwoyo gw’okusaagirira oguyingidde mu Bakristaayo guteekwa okuggibwawo. Wateekwa okubaawo olutalo mu kumenyamenya ekyo ekisokasoka okukola obubi olwo bulyoke butufuge. Okweteekateeka kwa buli sekinoomu. Tetulokolerwa mu kibinja. Obulongoofu n’okwewonga kw’omuntu omu tekubiweesa mulala nti kubanga naye abyagala. Wadde ng’amawanga gonna gaakuyita mu maaso ga Katonda w’alisalira omusango, kyokka waakukebera erinnya lya buli muntu era aryetegereze nga gy’oba tewakyali mulala asigaddeyo ku nsi. Buli muntu waakwetegerezebwa obutabaako katonnyeze oba olutunyiro wadde ekifaanana ng’ebyo.EE 316.1

    Byonna ebisigaddeyo ku mulimu gw’okutangirira omuntu bikulu bya ntiisa. Mujjudde ebintu ebikulu ddala ebyetaaga okumanya. Okusala omusango kugenda mu maaso eyo mu yeekaalu mu ggulu. Era omulimu guno gubadde gukolebwa okumala emyaka mingi. Mangu nnyo - tewali amanyi ddi - baakutuuka ku balamu. Amannya gaffe gaakutuuka mu maaso ga Katonda ow’entiisa okwetegerezebwa. Mu kiseera kino, kikakata ku buli muntu okussaayo omwoyo eri ebigambo bya Kristo okusinga ekintu ekirala kyonna nti: “Mwekuumenga, mutunulenga, musabe: kubanga temumanyi biro we birituukira.” Makko 13:33. “Kale bw’otolitunula, ndijja gy’oli ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu.” Kubikkulirwa 3:3.EE 316.2

    Omulimu gw’okukebera ebitabo mu kusala omusango bwe gulikomekkerezebwa, buli omu aliba amaze okusalirwawo gy’alibeera, oba mu bulamu oba mu kufa. Ekiseera eky’ekisa kyakuggwaako ng’ebula ekiseera kitono Mukama waffe alyoke alabike ku bire eby’eggulu. Kristo ng’ayogera ku kiseera ekyo yagamba bw’ati mu kitabo kya Kubikkulirwa nti: “Ayonoona abeere ng’akyayonoona: era omugwagwa abeere ng’akyali mugwagwa: era n’omutuukirivu abeere ng’akyakola obutuukirivu: era n’omutukuvu abeere ng’akyali mutukuvu. Laba, njijja mangu; n’empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli.” Kubikkulirwa 22:11,12.EE 316.3

    Abatuukirivu n’ababi baliba bakyali ku nsi eno era mu mibiri gyabwe egifa - abantu bwe baliba nga basiga era nga bazimba, nga balya era nga banywa, naye nga tebamanyi nti okusalawo okwenkomeredde kumaze okulangirirwa mu yeekaalu mu ggulu. Amataba nga tegannabaawo, Nuuwa bwe yayingira mu lyato, Katonda yamuggalirayo mu nda era naggalira abatatya Katonda ebweru; kyokka okumala ennaku musanvu abantu nga tebamanyi nti akabi kaboolekedde, baagenda mu maaso n’okumala geeyisa, mu kwagala amasanyu, nga bwe basekerera okulabula kw’omusango ogubindabinda. uBwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu.” Matayo 24:39. Ekiseera kijja, mukasirise, ng’omubbi ekiro mu ttumbi, Iwe balinyweza enkomerero ya buli muntu: ababi Iwe baliggibwako ekisa ekibadde kibaweereddwa.EE 316.4

    “Kale mutunule... anaatera okujja amangu ago n’abasanga nga mwebase.” Makko 13: 35,36. Zibasanze mmwe abanatuye era abatakyayagala kutunula, abakyukidde ebisanyusa by’ensi. Omusuubuzi ng’amaliddwaawo n’okufuna amagoba, ayagala amasanyu ng’amaliddwaawo n’amasanyu, muwala w’emisono ng’ali mu kwetonatona - kiyinza okuba mu ssaawa eyo Omulamuzi wa bonna abali kunsi n’alangirira nti: “Ogereddwa mu kigera, era olabise nga obulako.” Danieri 5:27.EE 316.5

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents