Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
Essuubi Eritaggwaawo - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    42 — Olutalo nga Luwedde

    Emyaka olukumi bwe gyaggwa, Kristo n’akomawo nate ku nsi. Ng’awerekerwako eggye ly’abanunule, era nga yeetoolooddwa bamalayika. Nakkira mu kitiibwa ekisuffu era n’akowoola ababi abataali balamu bazikirizibwe. Ne bajja, eggye nga ddene, abatayinza kubalika ng’omusenyu gw’ennyanja. Nga waliwo enjawulo nnene okuva ku abo abazuukizibwa mu kuzuukira okw’olubereberye! Abatukuvu baali bambaziddwa obutafa nga bato bulungi era nga balungi. Ababi nga balabika bajjudde endwadde n’okufa.EE 425.2

    Buli liiso eryali mu bantu abangi batyo ne likyuka okutunuulira ekitiibwa ky’Omwana wa Katonda. Ababi ne balyoka boogerera wamu nti: “Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Mukama.” Tebaayogera batyo kubanga baali baagala nnyo Yesu. Amazima ge gaawagaanya ne gawaliriza emimwa gyabwe okwogera ebigambo ebyo. Ababi nga bwe baagenda mu ntaana zaabwe, era bwe batyo bwe baazivaamu nga balina obukyayi n’omwoyo gw’obujeemu eri Kristo. Tebagenda kuweebwa kiseera kirala kyonna eky’ekisa nti bayinze okutererezaamu ebyo ebyawaba mu bulamu bwabwe obwayita. Tewali kye bakyayinza kulokola. Ekiseera kye baamala nga boonoona tekikkakkanyizza mitima gyabwe. Era singa baweebwa ekiseera ekirala nate, nakyo bandikimalidde mu kwesulubabba ebiragiro bya Katonda n’okwagala okuteekawo obujeemu nga bwe kyali mu ekyo ekyasooka.EE 425.3

    Kristo akkira ku lusozi lw’emizeyituuni awo we yava okulinnya mu ggulu oluvannyuma ng’amaze okuzuukira, era mu kifo bamalayika we baddiramu ekisuubizo kye nti alikomawo nate. Nnabbi agamba nti: “Era Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu bonna wamu naawe.” “Era aliyimirira n’ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n’olusozi lulyatika wakati waalwo... era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo.” “Era Mukama aliba Kabaka w’ensi zonna. Ku lunaku luli Mukama alibeera omu n’erinnya lye limu.” Zekkaliya 14:5,4,9. Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu awamu n’ekitiibwa kyakyo ekimasamasa, kyakutuuzibwa mu kifo ekiyonjeddwa era nga kitegekeddwa bulungi, awo Kristo n’abantu be awamu ne bamalayika balyoke bayingire Ekibuga Ekitukuvu.EE 425.4

    Mu kiseera kino, Setaani ateekateeka olutalo lwe olusembayo nga lwamaanyi asobole okuwangula. Omulangira w’obubi yakwatibwa ennaku era nga munyiivu olw’okubanga abadde agiddwako obuyinza bwe era nga takyayinza kulimba; naye ababi bwe baazuukizibwa era n’alaba ekibiina ekinene nga kiri ku ludda Iwe, n’addamu essuubi, era n’amalirira obutaggwaamu maanyi mu lutalo luno olunene. Agenda kukuŋŋaanya amaggye gonna mu abo abaagwa badde wansi w’obukulembeze bwe, era agezeeko okutuukiriza enteekateeka ze ng’ayita mu bo. Ababi baamala okuwambibwa Setaani. Bwe beegaana Kristo olwo ne bakkiriza omukulu w’abajeemu okubafuga. N’olwekyo beeteefuteeku okuteeka mu nkola ebirowoozo bye n’okukola by’ayagala. Kyokka ekyamazima, era nga bwe yasooka okulimba takkiriza nti ye, ye Setaani. Yeeyita mulangira alina obuyinza bwonna okufuga ensi era nga yanyagibwako bunyagibwa obusika bwe. Yeeraga eri abantu be beyabuzaabuza nti ye mununuzi, nga bw’abakakasa nti amaanyi ge gegabazuukizza okuva mu ntaana zaabwe era ng’anaatera okubanunula okuva mu bufuzi bwefugabbi. Olw’okubanga ekitiibwa kya Kristo kyali tekiriiwo mu kiseera kino, Setaani n’akola ebyamagero asobole okunyweza by’ayogera. Abanafu yabawa amaanyi era n’abawa n’omwoyo gwe awamu ne ku maanyi ge. Yabasikirizisa abakulembere balumbe olusiisira lw’abatukuvu era bawambe Ekibuga kya Katonda. Yenna nga yeekalakasa, kwe kutegeeza ababi abaazuukizibwa abali eyo mu bukadde n’obukadde n’abagamba nti ye ng’omukulembeze waabwe asobolera ddala okusuula ekibuga ekyo era yeddize n’entebe ye awamu n’obwakabaka bwe.EE 426.1

    Mu kibiina ky’abantu ekinene kityo mwe mwali n’olulyo lw’abantu abaaliwo ng’amataba teganabaawo; abasajja abawagguufu era abamagezi ennyo, abo abeetaba ne bamalayika abaagwa, ne bakozesa obukujjukujju n’okumanya kwabwe olw’okwagala okwegulumiza; abasajja abaatuuka n’okusinzibwa nga bakatonda olw’amagezi gaabwe, naye olw’obukambwe bwabwe n’okugunjanga obubi, ne boonoona ensi n’okwonoona ekifaananyi kya Katonda, kyeyava abasangulawo ku maaso g’ensi. Mulimu ne bakabaka awamu n’abafuzi abaawangulanga amawanga, abasajja abazira abatalemwanga ntalo, abamalala, abalwanyi nnamige, abo abakankanyanga obwakabaka. Bano okufa tekwayinza kubakyusa. Bwe baava mu ntaana zaabwe, ebirowoozo byabwe we byakoma we baatandikira. Ekibakozesa gwe mwoyo guli ogw’okwagala okuwamba abo abaabafuganga ku lunaku Iwe baagwa.EE 426.2

    Setaani n’akubaganya ebirowoozo ne bamalayika be era awamu ne bakabaka n’abawanguzi ko n’abasajja abazira. Ne batunuulira amaanyi n’omuwendo ogwali ku luuyi eri, bwebatyo ne balaba ng’amaggye agali mu kibuga tegawera bwe gagerageranyizibwa n’agaabwe, era nti basobola n’okugawangula. Ne bakola enteekateeka basobole okunyaga obugagga n’ekitiibwa ebyali mu Yerusaalemi Ekiggya. Bwebatyo ne banguwa okukola olulumba. Abasajja abagezigezi ne batema empenda z’olutalo. Abakulu mu maggye, abamanyiddwa nti bawanguzi, ne bakuŋŋaanya eggye ly’abasajja abalwanyi nga babateeka mu bibinja eby’enjawulo.EE 426.3

    01uvannyuma lwa byonna, ekiragiro ne kiweebwa, olwo enkuyanja y’abantu n’esimbula - eggye ng’eryo abawanguzi abamaanyi ku nsi lyebatabanga nalyo, eggye eryenkana n’amaggye gonna agaali gabaddewo kasookedde wabaawo olutalo ku nsi nga gakuŋŋaanyiziddwa wamu. Setaani omulwanyi asinga mu bonna,EE 426.4

    n’akulemberamu, ne bamalayika be ne bagattako amaggye gaabwe mu lutalo luno olukomererayo. Bakabaka n’abalwanyi ne bamugoberera, okwo ne kuddako enkuyanja y’abantu nga bali mu bibinja, buli kimu n’omukulembeze waakyo. Ne batandika okukumba mu nnyiriri z’amaggye nga bwe bagenda bayita ku nsi ewomoggosse nga basemberera Ekibuga kya Katonda. Kristo n’alagira enzigi za Yerusaalemi Ekiggya ne ziggalwa, olwo amaggye ga Setaani ne geebulungulula ekibuga nga geeteeseteese okukikuba.EE 427.1

    Kristo nate n’addamu okulabika eri abalabe be. Entebe ye ey’obwakabaka eyali esimbiddwa ku musingi ogwa zaabu aziguddwa obulungi, yali ng’esituliddwa waggulu mu bwengula bw’ekibuga. Ne ku ntebe eyo Omwana wa Katonda ye yali atuddeko, nga yeetoolooddwa abantu abali mu bwakabaka bwe. Tewali lulimi luyinza kunnyonnyola wadde ekkalaamu okuwandiika obuyinza n’ekitiibwa ebya Kristo. Omwana wa Katonda yali abugaanye ekitiibwa kya Kitaffe ataggwaawo. Ekibuga kya Katonda nga kijjudde ekitiibwa ky’okwakayakana kwe, era nga kufulumye ne mu nzigi z’ekibuga ne kujjuzza omusana ensi yonna.EE 427.2

    Okumpi n’entebe nga waliwo abo abaali abamaanyi ku luuyi Iwa Setaani kyokka ne bakwakkulibwa mu muliro ng’ekisiriiza, olwo ne bagoberera Omulokozi waabwe mu kwagala okungi era nga bawulize. Ne kuddirirwa abo abaakuuma empisa zaabwe ez’Obukristaayo nga ntukuvu wakati mu muyaga gw’obulimba n’okuva ku mazima, abo abassaamu ekitiibwa amateeka ga Katonda mu kiseera ensi we zaalabira ng’agataliimu nsa, ko obukadde n’obukadde bw’abantu abattibwa okuyita mu mirembe gyonna nga balangibwa okukkiriza kwabwe. Awo ne kuddako “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga, n’ebika n’abantu n’ennimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe, ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n’amatabi n’enkindu mu mikono gyabwe.” Kubikkulirwa 7:9. Bakomekkerezza olutalo, era bawangudde. Badduse mu mbiro ez’empaka, era baweereddwa ekirabo. Amatabi g’enkindu agali mu mikono gyabwe ke kabonero ak’obuwanguzi, n’ebyambalo ebyeru kye kifaananyi ky’obutuukirivu bwa Kristo obutaliiko bbala kaakano obufuuse obwabwe.EE 427.3

    Abanunule ne basitula amaloboozi ag’okutendereza ne gagenda nga galinnya era ne galinnya mu busolya bw’eggulu nti: “Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga.” Olunyir. 10. Malayika ne seraafi ne bayungako amaloboozi gaabwe nga basinza. Abanunule bwe balaba obuyinza n’obubi bwa Setaani, ne bakitegeera okusingako ne mu kusooka, nga tewali maanyi okujjako ago aga Kristo agandibayinzisizza okuwangula. Tewaliwo n’omu mu abo abanunule eyayinza kwetendereza olw’okulokolebwa kwe nti bwali bulungi bwe na buyinza bwe okusobola okuwangula. Tewali n’ekimu kye baayogera ku ebyo bye baakola wadde okubonaabona; kyokka omulamwa gwa buli luyimba lwe baayimbanga, ebigambo ebikulu ebyalinga mu buli luyimba, nga bigamba nti: Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga.EE 427.4

    Wakati mu kibiina ekinene eky’abantu abatuula ku nsi ne mu maaso g’eggulu lyonna, Omwana wa Katonda n’atuuzibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka. Kaakano, n’aweebwa obuyinza bwonna obw’omuyinzawabyonna, n’amaanyi, Kabaka wa bakabaka n’asalira omusango abajeemu ababadde balwanyisa obwakabaka bwe era n’asingisa omusango abo abayonoonanga amateeka ge era ne bayigganyanga n’abantuEE 427.5

    be. Nnabbi wa Katonda agamba: “Ne ndaba entebe ey’obwakabaka ennene enjeru, n’oyo eyali agituddeko, eggulu n’ensi ne bidduka mu maaso ge; n’ekifo kyabyo tekyalabika. Ne ndaba abafu abakulu n’abato, nga bayimiridde mu maaso g’entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n’ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky’obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu kitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali.” Kubikkulirwa 20:11,12.EE 428.1

    Amangu ddala ng’ebitabo bibikkuddwa, ne Kristo n’atunula ku babi, olwo ababi ne batandika okulumirizibwa ebibi byonna bye baali bakoze. Batandika okulaba ebigere byabwe we byaviira mu kkubo eddungi era ery’obutuukirivu, ne balaba amalala n’obujeemu gye bibatuusizza mu kulinnyirira amateeka ga Katonda. Ebikemo ebyabasendasendanga ne bagwa mu kwonoona, ne bagirira ekyejo emikisa gya Katonda, ne battanga ababaka be, ne banyoomanga okulabula kwa Katonda, era ne bagaananga okusaasira kwe olw’omutima gwabwe omukakanyavu byonna ne birabika ng’ebiwandiikiddwa mu nnukuta ez’omuliro.EE 428.2

    Waggulu w’entebe ey’obwakabaka waalabika omusaalaba; n’ekifaananyi ky’okukemebwa n’okugwa kwa Adamu, ko n’emitendera egy’enjawulo egiraga enteekateeka y’obulokozi. Okuzaalibwa kw’Omulokozi; obulamu bwe obwasooka, obulongoofu n’obuwulize bwe; okubatizibwa kwe mu Yoludaani; okusiiba n’okukemebwa kwe mu ddungu; omulimu gwe mu bantu, ng&pos;abikkulira abantu emikisa gy’eggulu egisinga okuba egy’omuwendo omunene mu ggulu; ennaku ezaddirira ezakolerwamu ebikolwa eby’okwagala n’ekisa; ebiseera eby’ekiro bye yamalanga mu kusaba n&pos;okutunuula ku nsozi ng’ali yekka; okuliibwamu olukwe okw’obuggya, obukyayi n&pos;ettima eryatuukiriza amangu ebigendererwa bye; obulamu obw’entiisa mu Gesusemaani, wansi w’omugugu omuzito ogw’ebibi by’ensi yonna; okuliibwamu olukwe mu mikono gy’ekibiina ky’abantu abassi; ebintu eby’entiisa ebyabaawo mu kiro ekyo eky’entiisa - omusibe atakoowa, eyayabulirwa abayigirizwa be beyayagala ennyo; ne bamutambuza mu nguudo z’ekibuga Yerusaalemi mu ngeri ey’obukambwe; Omwana wa Katonda ng’atwaliddwa mu maaso ga Ana, n&pos;awozesebwa mu maaso ga kabona asinga obukulu, mu kisenge ekisalirwamu emisango ekya Piraato, mu maaso ga Kerode ow’ensonyi ate nga mukambwe; ng’aduulirwa era ng’avumibwa, ngg’abonyabonyezebwa n&pos;okusalirwa omusango okuttibwa - byonna nga bisiigiddwa mu kifaananyi ekirungi ddala.EE 428.3

    Kaakano ne mu maaso g’ekibiina ekijugumira, ne balagibwa ebintu ebisembayo - Kristo eyagumira okubonaabona ng’akutte ekkubo okugenda e Gologoosa; Omulangira w’eggulu ng’awanikiddwa ku musaalaba; bakabona abamalala n’ekibiina nga bamuduulira ali mu bulumi n’okubonaabona; ekizikiza ekitaali kya bulijjo; okuyuuga kw’ensi, enjazi okwatika, entaana okubikkuka, byakakasa ekiseera Omulokozi w’ensi we yaweerayo obulamu bwe.EE 428.4

    Ebyo ebitunuulirwa eby’entiisa byalabikira ddala nga bwe byali. Setaani, bamalayika be, n’abantu be nga tebalina buyinza kukyusa kifaananyi kya mulimu gwabwe. Buli alina ekitundu kye yakola ng’ajjukira bulungi ekyo kye yakola. Kerode eyatta abaana ab’e Beserekemu abatalina musango ng’ayagala okuzikiririzaamu Kabaka wa Isiraeri; Kerodiya atalina mpisa, alina omusango gwa Yokaana Omubatiza; Piraato omunafu eyaweereza okumala akaseera; abaserikale abaduuze; bakabona n’abafuzi n’ekibiina ekyali liraruse abaayogereranga waggulu nti:EE 428.5

    “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana bafife” - bonna ne batunuulira obunene bw’omusango gwabwe. Baagezaako okwagala okwekweka okuva mu maaso g’Omuyinzawabyonna, okumasamasa kwe nga kusinga okwaka kw’enjuba, naye nga buteerere, so ng’abanunule basuula ngule zaabwe ku bigere bya Mulokozi, nga bwe boogera nti: “Yafirira nze!”EE 429.1

    Mu kibiina ky’abanunule mwe mwali n’abatume ba Kristo, Pawulo omuzira, Peetero omunyiikivu, Yokaana eyayagalibwa n’ayagala, ne baganda baabwe abalina omutima ogw’amazima, era awamu nabo ekibiina ekinene eky’abattibwa; kyokka ng’ebweru wa bbuggwe y’eri buli kintu kyonna eky’omuzizo, abo abaabayigganyanga, abaabasibanga mu makomera, ne babatta. Eyo we waali ne Nero omukambwe era omubi asingayo, ng’atunuulira essanyu n’ekitiibwa ky’abo be yabonyabonyanga, n’asanyusa ne Setaani olw’ebyo bye yakolanga. Ne nnyina, naye yali eyo okulaba n’okukakasa ebyava mu kukola kwe; okulaba empisa embi ze yamuwa, obusungu omwana we bwe yamuyigirako obuleese ku nsi emisango n’etuuka n’okukankana.EE 429.2

    Waaliwo n’abo abeeyita abasigire ba Kristo, kyokka nga baabonyabonyanga abantu n’okubookya omuliro nga baleegeddwa ku miti, abaabasibiranga mu makomera ag’omu ttaka nga baagala okufuga endowooza zaabwe. Bapaapa abeegulumiza okusinga Katonda ne bawanyisa n’amateeka g’Oyo ali waggulu ennyo bonna nga bali omwo. Abo abeeyitanga bakitaabwe b’ekkanisa abalina omusango gwe batagenda kusonyiyibwa. Baakitegeera obudde bubayiseeko nnyo okulaba nga Omuyinzawabyonna akwatirwa obuggya amateeka ge, era nga talimujjako musango oyo aligubaako. Ne bakitegeera nti Kristo asanyukira wamu n’okubonaabona kw’abantu be, era ne bawulira n’amaanyi agali mu kigambo kye nti: “Nga bwe mwakikola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.” Matayo 25:40.EE 429.3

    Ababi bonna nga bayimiridde mu maaso g’entebe ya Katonda esalirwako emisango, okusalirwa omusango gw’okujeemera gavumenti ya Katonda. Ne basalirwa omusango gw’okufa emirembe n’emirembe nga tebalina kyakuwoza so nga tebalina wakujulira.EE 429.4

    Kaakano ne kikakasibwa eri bonna nti empeera y’ekibi si ly’eddembe n’obulamu obutaggwaawo, wabula buddu, kuzikirira, na kufa. Ababi ne balaba kye bafiiriddwa olw’okubeeranga mu bulamu obujeemu. Baanyooma ekitiibwa ekinene eky’olubeerera ekyabaweebwa; kyokka kaakano nga bakyegomba. Omuntu abuze n’alyoka ayogera mu mutima gwe nti: “Bino byonna nandibifunye; naye nnalondawo okubyesamba. O! nga nnasiruwala nnyo! mu kifo ky’emirembe, essanyu n’ekitiibwa nfunyemu bubi, kuswala na butaba na ssuubi lyonna.” Bonna ne balaba ng’okugobebwa kwabwe mu ggulu kubadde kwa mazima. Baategeezanga nga bakyali balamu nti: “Tetwagala muntu oyo ayitibwa Yesu kutufuga.”EE 429.5

    Ababi nga balinga abazirise ne batunuulira Omwana wa Katonda bw’atikkirwa engule. Ne balaba ng’akutte mu ngalo ze ebipande eby’amateeka ga Katonda, ebiragiro bye baanyooma era bye baamenya. Ne balaba ku ssanyu eppitirivu ng’abanunule bawa Katonda ekitiibwa; amaloboozi ne gawulirwa n’ebweru w’ekibuga bonna nga boogera nti: “Byakitiibwa ebikolwa byo, Mukama Katonda Omuyinzawebintubyonna; gabutuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe” (Kubikkulirwa 15:3); ne bagwa wansi ne basinza Omulangira w’obulamu.EE 429.6

    Setaani n’alabika ng’asannyaladde bwe yalaba Kristo ng’ayambadde ekitiibwa n’obukulu. Oyo eyali kerubi abikkako n’ajjukira gyeyava okugwa. Yali serafi ayaka ennyo, “emunnyeenye y’okumakya;” kaakano nga yakyuka, nga yagwa! Agobeddwa emirembe gyonna okuva mu lukiiko gye yaweebwanga ekitiibwa. Kaakano ng’alaba omulala yayimiridde okumpi ne KitafFe, ng’ayambaziddwa ekitiibwa kya Kitaffe. Yalaba malayika omulala asukkulumiziddwa mu kitiibwa ng’atikkira Kristo engule ku mutwe gwe, era n’akimanya ng’ekifo kya malayika ono kyali kikye.EE 430.1

    Yajjukira amaka ge mwe yali tannayonoona era nga mutukuvu, eyalina emirembe era nga mumativu okutuusa Iwe yeyonoona ng’ayingiddwamu omuze gw’okwemulugunyanga eri Katonda n’okukwatirwa Kristo obuggya. Najjukira bye yaloopanga, obujeemu bwe, n’obulimba bwe ng’ayagala okufuna okusaasirwa n’okuwagirwa mu bamalayika, bwe yasalawo okukakanyaza omutwe gwe nga tayagala kukyuka okufuna okusonyiyibwa okuva eri Katonda byonna ng’abiraba bulungi. N’alaba bye yakolanga mu bantu n’ebyo ebyavaamu - nga bwe bukyayi bw’omuntu eri muntu munne, okufa, okusitukawo n’okugwa kw’obwakabaka, okuwambanga obufuzi, obusambatuko, entalo, n’enkyukakyuka z’eby’obufuzi. N’ajjukira bwe yawakanyanga Kristo ebyo bye yakolanga olw’okulokola omuntu, olwo omuntu amwongerere ddala okukka wansi. N’akiraba nga enkweze ze ezivaamu okuzikirira tezaalina maanyi okuzikiriza abo abateeka obwesige bwabwe mu Kristo. Setaani bwe yatunuulira obwakabaka bwe, ebivudde mu ntuuyo ze, ng’alaba kulemwa kwereere na kuzikirira. Atuuse n’okulimba enkuyanja y’abantu ne bakkiriza nti kyangu okuwamba Ekibuga kya Katonda; kyokka ng’akimanyi nti kino tekisoboka. N’ajja ng’awangulwanga byakitalo mu lutalo luno olunene, ng’awalirizibwa yeemenye. Era ng’amanyidde ddala amaanyi n’obuyinza bw’Oyo Omuyinzawabyonna abeerawo emirembe gyonna.EE 430.2

    Ekigendererwa ky’omujeemi omukulu bulijjo kibadde nti ayagala kweggyako musango akakase nti gavumenti ya Katonda y’evunaanyizibwa ku bujeemu buno. Era kino ky’amaliddeko amagezi ge gonna. Abadde akola nga yeegendereza nnyo, nga bw’ategeeza ye bw’alabamu olutalo luno olunene olumaze ebbanga eddene, era n’awangulanga bangi ne bamukkiriza. Kalinkwe ono azze abikka obulimba bwe okumala emyaka egiri eyo mu nkumi ng’ategeeza nti ago ge mazima. Naye kaakano ekiseera kituuse obujeemu bwa Setaani buwangulirwe ddala era atimbulweko by’abisse ku mpisa ze okumala ekiseera. Ssabalimba ajja kutimbulwako byonna bye yeebisseeko mu lutalo Iwe luno olukomererayo ng’ayagala okutwala entebe ya Kristo, azikirize abantu be n’okutwala Ekibuga kya Katonda. Bonna abaali bamwegasseeko bajja kumulaba nga ekyo tayinza kukituukako. Abagoberezi ba Kristo ne bamalayika nabo bajja kulaba obukujjukuiju bwe bwonna ng’ayagala okulwanyisa gavumenti ya Katonda. Ensi yonna yakumukyawa.EE 430.3

    Setaani n’ategeera nti obujeemu bwe bwe bumuziyizza okuyingira mu ggulu. Yakozesa amaanyi ge okulwanyisa obuyinza bwa Katonda; n’olwekyo yandirumiddwa nnyo buli Iwe yandirabye obulongoofu, emirembe n’okutabagana ebiri mu ggulu. Okwagala okunoonyanga ensobi ku butuukirivu bwa Katonda n’ekisa kye ne kukoma. Okunenya kwonna kw’abadde ateeka ku Yakuwa ne kudda ku ye kennyini. Kaakano Setaani n’avuunama wansi n’ayatula omusango ogumusaliddwa bwe guli ogw’ensonga.EE 430.4

    “Ani atalitya, Mukama, n’ataliwa kitiibwa linnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.” Olunny. 4. Ebibuuzo byonna ebikwata ku mazima n’obulimba mu lutalo luno olututte emyaka emingi nga lulwanibwa ne bitegeerebwa bulungi. Ebivudde mu bujeemu, ebibala ebiva mu kulekawo amateeka ga Katonda, byonna ne byanikibwa bulungi ebitonde byonna eby’omu ggulu babyetegereze. Enkola ya Setaani gy’afugamu n’enfiiga ya Katonda ne biteekebwa mu maaso g’ensi yonna abantu bagerageranye. Setaani n’asingibwa omusango olw’ebyo bye yakolanga. Obutuukirivu bwa Katonda n’obulungi bwe ne bisigala nga tebiriiko musango. Ne kirabibwa nga byonna by’azze akola mu lutalo luno olunene azze abikola ku Iw’obulungi bw’abantu be obw’emirembe gyonna ne ku Iw’obulungi bw’ensi zonna ze yatonda. “Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga ai, Mukama; N’abatukuvu bo banaakwebazanga.” Zabbuli 145:10. Ebyafaayo by’ekibi byakusigalawo emirembe gyonna ng’obujulirwa nti amateeka ga Katonda gaateekebwawo nga mwe muli essanyu ly’ebitonde byonna bye yatonda. Era bonna nga balaba amazima gonna agakwata ku lutalo olunene, ensi yonna, omuli abajeemu n’abawulize, bajja kwogerera wamu ne ddoboozi limu nti: “Gabutuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe ”EE 431.1

    Ssaddaaka ennene Kitaffe n’Omwana gye baawaayo olw’okulokola omuntu n’eryoka eragibwa eri ensi yonna. Essaawa ng’etuuse Kristo okuweebwa ekifo kye eky’obukulu bwe, okugulumizibwa okusinga obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna na buli linnya lyonna eriri wansi w’enjuba. Olw’essanyu eryo eryateekebwa mu maaso ge - alyoke aleete abaana bangi mu kitiibwa - eyaguumikiriza omusaalaba ng’anyooma ensonyi. Yagumira ensonyi n’obuswavu ebitakkirizika kyokka n’afuna essanyu n’ekitiibwa ekinene. Yakyuka n’alaba abanunule, nga bazziddwa buggya mu kifaananyi kye, nga buli mutima guliko akabonero ka Katonda ak’obutuukirivu, nga buli kyenyi kyoleka ekifaananyi kya Kabaka waabwe. Bwe yabatunuulira n’alaba ebyava mu kubonaabona kw’omwoyo gwe, n’awulira ng’ebyo bimumala. 01uvannyuma, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka eri ebibiina by’abatukuvu ebyali bitudde era n’ababi nti: “Laba be nnagula n’omusaayi gwange! Bano be nnabonaabonera, n’enfa ku lwabwe, basobole okubeera nange emirembe gyonna.” N’amaloboozi g’oluyimba lw’abanunule abaali bambadde ebyeru nga beetooloodde entebe ey’obwakabaka ne gasituka nga gatendereza nti: “Asaanidde Omwana gw’endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ettendo n’ekitiibwa n’omukisa.” Kubikkulirwa 5:12.EE 431.2

    Newakubadde nga Setaani yawalirizibwa okukkiriza obutuukirivu bwa Katonda n’okuvuunamira obukulu bwa Kristo, empisa ze tezaakyuka n’akatono. Omwoyo gw’obujeemu gwali nga gukyakulukuta nga mukoka. Yamalirira obutaleka lutalo lwe olwo olunene olw’obusungu obungi obwali bumujjudde. Kino kye kiseera okulwanyisa Kabaka w’eggulu mu lutalo olukomererayo. N’ayanguwa okugenda mu bantu okubakubiriza n’obusungu balwane masajja olutalo ate mu bwangu. Kyokka mu bukadde n’obukadde bwe yalimba okuyingira mu bujeemu nga temukyali n’omu akkiriza buyinza bwe. Obuyinza bwe nga bukomye. Ababi ne bakyawa Katonda muEE 431.3

    ngeri yeemu nga bwe baakyaye Setaani, anti nga balaba tebakyalina ssuubi, kubanga tebayinza kuwangula Yakuwa. Nga bajjudde obusungu bwa basetaani ne bakyukiza obusungu Setaani n’abo abaali ababaka be mu kulimba ne batanula okubalwanyisa.EE 432.1

    Mukama ky’ava agamba bw’ati, nti: “Kubanga osimbye omutima gwo ng’omutima gwa Katonda, laba kyendiva nkuleetako bannaggwanga ab’entiisa ab’omu mawanga: kale balisowola ebitala byabwe okulwanyisa obulungi obw’amagezi go, era balyonoona okumasamasa kwo. Balikussa mu bunnya.” “Nkuzikirizza ai kerubi abikakko, okuva wakati mu mayinja ag’omuliro... nkusudde wansi, nkutadde mu maaso ga bakabaka bakutunuulire... nkufudde ewu ku ttaka mu maaso g’abo bonna abakutunuulira... ofuuse entiisa so toobengawo nate ennaku zonna ” Ezeekyeri 28:6- 8, 16-19.EE 432.2

    “Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby’oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano, n’ebyambalo ebikulukuunyizibbwa mu musaayi, biriba bya kwokebwa bwokebwa, okuba enku ez’omuliro.” “Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n’ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna: abazikiririza ddala, abagabudde okuttibwa.” “Ku babi anaatonnyesanga ebyambika; omuliro n’ekibiriiti n’empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw’ekikompe kyabwe.” Isaaya 9:5; 34:2; Zabbuli 11:6. Omuliro ne guva eri Katonda mu ggulu. Ensi n’eyatikayatika. Ebyokulwanyisa byonna ebyakwekebwa mu bunnya bwayo ne bigibwayo. Ennimi z’omuliro ne ziva mu buli lwatika. Enjazi ne zikoleera omuliro. Olunaku nga lutuuse olwokya ng’ekikoomi. Ebintu eby’obuwangwa ne bisaanuuka olw’okwokebwa okungi, n’ensi n’ebikolwa ebigirimu ne bisirikka. Malaki 4:1; 2Peetero 3:10. Ensi yonna n’esaanuuka, n’efuuka ennyanja ey’omuliro. Kye kiseera ky’omusango gwa Katonda n’okuzikirira kw’abantu abatatya Katonda - lwe “lunaku olw’okuwalana eggwanga lya Mukama, omwaka ogw’okusasula empeera mu mpaka za Saayuuni.” Isaaya 34:8.EE 432.3

    Ababi ne baweebwa empeera yaabwe mu nsi. Engero 11:31. “Baliba bisasiro, awo olunaku olu[ja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama ow’eggye.” Malaki 4:1. Abamu balizikirira mu kaseera katono ate abalala babonaabonere ennaku eziwerako. Bonna ne babonerezebwa “ng’ebikolwa byabwe bwe byali.” Ebibi by’abatuukirivu ne biteekebwa ku Setaani, alina okubonaabona si Iwa bujeemu bwe kyokka, naye era n’olw’ebibi byonna bye yakozesa abantu ba Katonda. Ekibonerezo kye kyakusinga nnyo eky’abo be yalimba. Bonna abaagwa olw’obulimba bwe nga bamaze okuzikirizibwa, ye waakumalawo ekiseera ng’akyabonyabonyezebwa. Ababi bonna ne bazikirizibwa mu muliro, ekikolo n’amatabi Setaani kye kikolo, abagoberezi be ge matabi. Empeera y’okumenya amateeka ga Katonda n’etuukirizibwa; omutango nga guweereddwa, abatukuvu n’eggye lyonna ery’omu ggulu ne balaba era ne bategeeza Yakuwa bw’ali omutuukirivu.EE 432.4

    Ebikolwa bya Setaani ne bikomekkerezebwa ddala emirembe gyonna. Okumala emyaka kakaaga ensi abadde agikozesa by’ayagala, ng’agijjuzizza okukaaba n’okukuba ebiwoobe. Obutonde bwonna nga businda n’okubonaabona olw’obulumi. Kaakano ebitonde bya Katonda binunuddwa okuva mu bikemo bye. “Ensi yonna kaakano ewummudde, eteredde ntende. [Abatukuvu] ne babaguka ne bayimba.” Isaaya 14:7. N’amaloboozi ag’omwanguka nga gava mu nsi zonna ne gayimba ennyimba ez’okutendereza n&pos;obuwanguzi. “Eddoboozi ly’ekibiina ekinene,” “eddoboozi ery’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’okubwatuka okw’amaanyi,”EE 432.5

    ne liwulirwa nga lyogera nti: “Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinzawebintubyonna afuga.” Kubikkulirwa 19:6.EE 433.1

    Ensi yonna nga yetoolooddwa omuliro gw’omuzikiriza, abatukuvu bo baali mu ddembe mu Kibuga kya Katonda Ekitukuvu. Abo abaali mu kuzuukira okw’olubereberye okufa okwookubiri tekwalina buyinza ku bo. Katonda eri muliro ogwokya naye eri abatuukirivu njuba era ngabo. Kubikkulirwa 20:6; Zabbuli 84:11.EE 433.2

    “Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya: kubanga eggulu ery’olubereberye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze.” Kubikkulirwa 21:1. Omuliro ogwokya ababi ne gulongoosa ensi. Buli kintu kyonna eky’ekikolimo ne kiggwaawo. Omuliro tegugenda kubeera gwa mirembe na mirembe ogulikuumirwa mu maaso g’abanunule okubalaga ebintu eby’entiisa ebyava mu kibi. Ekijjukizo kimu kyokka kye kirisigalawo: ze nkovu ez’okukomererwa kw’Omununuzi waffe. Omutwe gwe ogwafumitibwa ebiwundu, ebibatu bye n’ebigere bye, kwe kulibeera obubonero obulaga obukambwe bw’ekibi. Nnabbi bwe yatunuulira Kristo ng’ali mu kitiibwa kye, agamba nti: “N’okumasamasa kwe kwali ng’omusana; yalina amayembe nga gava mu mukono gwe. Era omwo mwe mwali okukweka amaanyi ge.” Kaabakuuku 3:4. Embiriizi ze ezafumitibwa mwe muva omusaayi nga gukulukuta era ogwo gwe gututabaganya ne Katonda - omwo mwe muli ekitiibwa ky’Omulokozi; omwo mwe “mwali okukweka amaanyi ge.” Oyo “owamaanyi okulokola,” okuyita mu ssaddaaka ye, kyamazima yali wamaanyi okusalira omusango abo abaanyooma ekisa kya Katonda. Era mu kwetoowaza kwe mwe muva ekitiibwa kye ekinene; era ebiwundu bye eby’omusaalaba bye binaamutenderezesanga n’okulaga amaanyi ge okuyita mu mirembe gyonna.EE 433.3

    “Ggwe ekigo eky’ekisibo, akasozi ak’omuwala wa Saayuuni, kulituuka gy’oli; weewaawo, okufuga okw’edda kulidda.” Mikka 4:8. Ekiseera kituuse abatukuvu ab’edda kye batunuuliranga nga beegomba okuva ekitala ekimasamasa lwe kyaziyiza ababiri abaasooka okuddamu okuyingira mu Edeni, okutuusa “envuma ya Katonda lw’erinunulibwa.” Abaefeso 1:14. Ensi eyasooka okuweebwa omuntu okuba obwakabaka bwe, Setaani n’agimunyagako, era ng’ebadde mu mikono gy’omulabe okumala ebbanga eddene, kaakano ekomezeddwawo okuyita mu nteekateeka y’obulokozi ennene. Byonna ebyayonoonebwa olw’ekibi biziddwa buggya. “Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama... eyabumba ensi n’agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu.” Isaaya 45:18. Ekigendererwa kya Katonda mu kutonda ensi kaakano nga kituukiridde, kubanga efuuliddwa amaka g’abanunule. “Abatukuvu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna. Zabbuli 37:29.EE 433.4

    Okutya nti ensi empya gye tulisikira teribeererawo ddala okuleetedde abangi okukkiriza nti ebyo byakubeerawo mu mwoyo, ekirowoozo ekyo kiggyirawo ddala amazima agandituwadde essuubi nti ensi empya ge maka gafife. Kristo yakakasa abayigirizwa be nti agenda kubateekerateera ebifo mu nnyumba ya Kitaawe. Abo abakkiriza enjigiriza y’ekigambo kya Katonda tebayinza kubeera mu butamanya ku by’ekifo eky’omu ggulu. So era Pawulo agamba nti: “Eriiso bye litalabangako, n’okutu bye kutawuliranga, n’ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, byonna Katonda by’ategekedde abamwagala.” lAbakkolinso 2:9. Ebigambo by’abantu tebimala kutegeeza mpeera y’abatukuvu. Empeera eritegeerwa abo bokka abaligiweebwa. Tewali birowoozo bya muntu ebiyinza okutegeera ekitiibwa ky’Olusuku lwa Katonda.EE 433.5

    Mu Bayibuli obusika bw’abatukuvu byitibwa nsi. (Abaebbulaniya 11:14-16. Eyo Omusumba omukulu gyakulembera okutwala ekisibo kye okukitwala eri ensulo z’amazzi amalamu. Omuti ogw’obulamu ne gubala ebibala byagwo buli mwezi, nga n’amalagla gaagwo gakuwonyanga amawanga. Eriyo emigga egimasamasa, egikulukuta, nga gitangaala okukira endabirwamu, ku mabbali gaagyo emiti egiwuuba ebisiikirize byagyo okubituusa mu makubo agaateekerwateekerwa abanunule ba Mukama. Ebiwoonvu ebigazi ennyo gye bisitukira okufuuka ensozi ennungi, n’ensozi za Katonda gye zisiturira entikko zaazo empaanvu. Ku biwoonvu ebigazi bityo eby’eddembe ne ku migga gy’amazzi ag’obulamu, y’eribeera amaka g’abantu ba Katonda abamaze ebbanga eddene nga batambuze era emmomboze.EE 434.1

    “N’abantu bange balituula mu kifo eky’emirembe ne mu nnyumba ez’enkalakkalira ne mu biwummulo ebitereevu.” “Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n’enzigi zo Kutendereza.” “Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku z’emizabbibu ne balya ebibala byamu.Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya... abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw’engalo zaabwe.” Isaaya 32:18; 60:18; 65:21,22.EE 434.2

    Eyo, “olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti.” “Mu kifo ky’omweramannyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky’omutovu mulimera omumwanyi.” “N’omusege gulisula wamu n’omwana gw’endiga, n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi; n’ennyana n’omwana gw’empologoma... n’omwana omuto alizikaantiriza.” “Tebaliruma newakubadde okuzirika ku lusozi Iwange olutukuvu.” Bw’ayogera Mukama. Isaaya 35:1; 55:13; 11:6,9.EE 434.3

    Okulumwa tekuyinza kubeera mu ggulu. Tewaliba kukaaba maziga, teri kuziika wadde okukungubaga. “Okufa tekulibeerayo nate; so tewabeengayo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’oluberebyerye biweddewo.” “Naye atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde: abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.” Kubikkulirwa 21:4; isaaya 33:24.EE 434.4

    Eyo y’eri Yerusaalemi Ekiggya, ekibuga eky’ensi empya ey’ekitiibwa kya Katonda, “engule ey’ekitiibwa mu mukono gwa Mukama, n’enkuufiira ey’obwakabaka mu mukono gwa Katonda.” “Okumasamasa kwakyo ng’ejjinja ery’omuwendo omungi ennyo, ng’ejjinja yasepi, eritangalijja.” “N’amawanga ganatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.” Mukama agamba nti: “Ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange.” “Laba eweema ya Katonda awamu n’abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe.” Isaaya 62:3; Kubikkulirwa21:l 1,24; isaaya 65:19; Kubikkulirwa 21:3.EE 434.5

    Mu kibuga kya Katonda “teribeerayo kiro.” Tewali n’omu alyetaaga kuwummula. Tewalibaayo kukoowa kukola Katonda ky’ayagala newakubadde okukoowa okutendereza erinnya lye. Ennaku zonna tunaawuliranga obulamu nga bulungi era nga bwe buba mu kiseera eky’enkya. “So tebeetaaga kumulisa kwa ttabaaza n’omusana gw’enjuba; kubanga Mukama Katonda anaabanga omusana.” Kubikkulirwa 22:5.EE 434.6

    Omusana gw’enjuba tegulirabika olw’okumasamasa okutalumya, okumasamasa okusinga okw’omu ttuntu. Ekitiibwa kya Katonda n’Omwana gw’endiga be banaamasamasizanga mu Kibuga Ekitukuvu. Abanunule banaatambuliranga mu kitiibwa ekitali kya njuba ekitaggwaawo.EE 435.1

    “So ssaalabamu yeekaalu mu kyo: kubanga Mukama Omuyinzawebintubyonna n’Omwana gw’endiga ye yeekaalu yaakyo.” Kubikkulirwa 21:22. Abantu ba Katonda nga bafunye eddembe okunyumyamu ne Katonda awamu n’Omwana. “Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abeerabira mu ndabirwamu eteraba bulungi.” l Abakkolinso 13:12. Tulaba ekitiibwa kya Katonda nga kimasamasiza mu ndabirwamu, mu nkula y’ebitonde ne mu kukolagana kwe n’abantu; naye ku lunaku luli tulimulaba amaaso n’amaaso, wakati nga tewali lutimbe. Tuliyimirira mu maaso ge era tuliraba ekitiibwa ky’amaaso ge.EE 435.2

    Eyo abanunule balimanya era nga nabo bwe bamanyibwa. Okwagala n’okulumirwa Katonda yennyini bye yateeka mu mutima gye bigenda okweragira mu butuufu bwabyo. Okutabagana okutuukiridde n’ebitonde ebitukuvu, obulamu obw’okukkaanya ne bamalayika abaaweebwa omukisa era awamu n’abeesigwa ab’emirembe gyonna abaayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga, oyo agatta awamu “ekika eky’omu ggulu n’eky’oku nsi” (Abaefeso 3:15),- ebyo ne biyamba mu kuteekawo essanyu ly’abanunule.EE 435.3

    Eyo, ebirowoozo ebitafa gye birisomera n’essanyu amaanyi g’obutonzi ag’ekyewuunyo, ebyama by’okwagala okw’okununula. Teribeerayo mulabe ow’ettima akema abantu okwerabira Katonda. Buli buyinza bwonna obw’amagezi g’omuntu bw’alina, buli talanta, birikula, n’amagezi gonna ganeeyongera. Okufuna amagezi tekulikooyesa birooozo oba okuleeta okuggwaamu amaanyi. Eyo emirimu egisinga obunene girikolebwa na ssanyu, n’amaanyi agasingira ddala galifunibwa, ekigendererwa ekituufu kiryetegerezebwa; era walibawo n’ebintu ebikulu ebirala ebiryeyongerangako, ebintu ebiggya ebyewunyisa, amazima agetaaga okumanya, ebintu ebiggya ebyetaaga amaanyi g’ebirowoozo n’omwoyo n’omubiri.EE 435.4

    Amawanika gonna ag’ensi zonna gaakuggulibwawo eri abanunule ba Katonda okubayigirako. Abo okufa be kutaayinza, bajja kugenda nga babuuka awatali kukoowa okutuuka mu nsi ez’ewala - ensi ezakankananga olw’okulumwa nga balaba omuntu abonaabona ate nga batendereza n’ennyimba ez’essanyu nga balabye ku mwoyo ogununuddwa. Wakati mu ssanyu eritayogerekeka, abaana b’abantu ne bayingira mu ssanyu ne mu magezi ebitonde ebitaagwa bye geeyagaliramu. Ne babuulirwa obugagga obw’amagezi n’okutegeera bye bafunye okuyita mu mirembe gyonna olw’okufumiitirizanga ku mirimu gya Katonda. Ne balaba ekitiibwa eky’obutonzi nga tebalina kifu ku maaso gaabwe - enjuba, emmunnyeenye n’enkola zaabyo, byonna nga bwe byategekebwa nga byetooloola entebe ya Katonda. Ne ku buli kintu kyonna ekyatondebwa ekinene n’ekitono nga kuwandiikiddwako erinnya ly’Omutonzi, era nga byonna byolesa obugagga obw’obuyinza bwe.EE 435.5

    Era emyaka nga gigenda gyetooloola, giryeyongera okutubikkulira ekitiibwa kya Katonda era ne kya Kristo. Okutegeera nga kweyongera, n’okwagala kulyeyongera, okussaamu ekitiibwa era awamu n’essanyu. Abantu gye balikomya okutegeera Katonda gye balikomya okwewuunya empisa ze. Nga Yesu bwe yateeka mu maaso gaabwe obugagga bw’okununulibwa n’ebifuniddwa ebyewunyisa ebivudde mu lutaloEE 435.6

    luno olunene ne Setaani, emitima gy’abanunule giryeyongera okukuba n’amaanyi, ne beeyongera okukuba ennanga zaabwe eza zaabu mu ssanyu essukkirivu: obukumi emirundi obukumi mu enkumi emirundi enkumi ne bagatta wamu amaloboozi gaabwe ag’okutendereza.EE 436.1

    “Nabuli kitonde ekiri mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne ku nnyanja, n’ebiramu byonna nga byogera nti: Eri oyo, atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga, omukisa gubenga n’ettendo n’ekitiibwa n’amaanyi emirembe n’emirembe.” Kubikkulirwa 5:13.EE 436.2

    Olutalo olunene luwedde. Ekibi n’abonoonyi tebalyeyongera kubaawo nate, ensi ya Katonda yonna erongoose. Okukkaanya n’essanyu nga bye bitujja okwetooloola wonna mu bitonde. Obulamu n’omusana n’essanyu nga bye bikulukuta okuva mu oyo eyatonda byonna okubuna obwakabaka bwe obutakoma. Okuva ku kantu akasirikitu okutuuka ku bwaguuga bw’ensi, ebintu byonna, ebitambula n’ebitatambula, mu bulungi ne mu ssanyu lyabyo eritasiikiriziddwa era erituukiridde byogera nti Katonda kwagala.EE 436.3

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents