Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
Essuubi Eritaggwaawo - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    5 — Johnwycliffe

    Bayibuli zaabanga ntono nnyo ekiseera ekkanisa mwe yaddizibwa obuggya nga tekinatuuka, kyokka Katonda teyakkiriza Kigambo kye kuzikirizibwa. Amazima gaakyo tegaali ga kukwekebwa mirembe gyonna. Katonda yasobola okusumulula mangu enjegere ezaali zisibye ebigambo bye eby’obulamu nga bwe yasobola okusumulula enzigi ez’ekyuma ez’ekkomera okulokola abaweereza be. Mu nsi ez’enjawulo mu Bulaaya Katonda yagolokosa abantu okunoonya amazima g’ekyobugagga ekyakisibwa. Katonda n&pos;abakulembera okubatuusa ku Byawandiikibwa Ebilukuvu ne babisoma nga babisanyukira nnyo. Baamalirira okukkiriza omusana n’obutatya bintu byonna ebinaababaako. Newakubadde nga tebaasobola kulaba bintu byonna bulungi ddala, baasobola okulaba amazima agaali gakwekeddwa okumala ebbanga eddene. Baagenda ng’ababaka abatumiddwa okuva mu ggulu nga bakutula enjegere ez’obukyamu n’obusamize ne bayita bonna ababadde basibiddwa mu buddu bagolokoke okweddiza eddembe lyabwe.EE 50.3

    Ng’ogyeko mu Bakristaayo ba Waldensi, Ekigambo kya Katonda kyali nga kisibiddwa mu nnimi eziyinza okusomebwa abayivu bokka; naye kaakano ng’ekiseera kituuse Ebyawandiikibwa biwuunulwe mu nnimi endala okusomebwa abantu mu nsi ez’enjawulo. Ettumbi nga liyise. Ekiseera eky’ekizikiza nga kisasaana.era ng’emambya atandise okusala mu bitundu bingi.EE 50.4

    Mu kyasa eky’ekkumi n’ebina, mu Bungereza mwagolokokamu “emmunyenye ey’enkya ey’okuzza ekkanisa obuggya.” Jolin Wycliffe yabuulira obubaka obw’okuzza ekkanisa obuggya, si mu Bungereza mwokka naye mu bitundu byonna Obukristaayo mwe bwali bumaze okutuuka. Yawakanya enjigiriza za Luumi mu maanyi ag’ekitalo, era omwo mwe mwava amakanisa n’amawanga okufuna eddembe lyago.EE 51.1

    Wycliffe yayigirizibwa mu magezi ag’ensi era n&pos;akimanya nga mukutya Mukama amagezi mwe gasookera. Yalabirwawo ng’omuntu omujagujagu bwe yali ng’akyali mu ssomero olw’ebirabo eby’enjawulo bye yalina. Yayaayaana nnyo okumanya amagezi ag&pos;enjawulo agayigirizibwa. Yayigirizibwa mu bufirosoofo, mu mateeka g’eddiini awamu n&pos;ag’ensi, naddala ag’eggwanga lye. Nga kyangu okumanya ky’alibeera oluvannyuma Iw’okusoma. 01w&pos;obuyivu bweyafuna mu bufirosoofo obw’ekiseera ekyo, yayinzanga okuvumbula n’okwanika ensobi, so nga ate mu kuyiga amatceka g’ensi awamu n&pos;ag&pos;eddiini, yali ateekebwateekebwa okusisinkana emiziziko mu ggwanga ne mu ddembe ly’okusinza. Newakubadde nga yalina kukozesa Kigambo kya Katonda okuziyiza obusaale bwonna obw’omubi, yali afunye amagezi ag’essomero era ng’ategedde obukalabakalaba bw&pos;abantu. Ng’abantu bonna bamukkiririzaiimu era nga bamusaamu ekitiibwa si nsonga mikwano gye oba balabe be olw’ekirabo eky’amagezi kye yalina.EE 51.2

    Wycliffe bwe yali ng’akyali mu ssomero, yayingirira okusoma Ebyawandiikibwa. Abayivu bayanguyirwanga nnyo okufuna omukisa okusoma ku Bayibuli ensulo ey&pos;amazima mu biseera ebyo, olw&pos;okubanga zaabanga mu nnimi ez’edda, abatali bayivu ne baggalirwanga ebweru. Bwatyo, n&pos;ateekerwateekerwa ekkubo olw&pos;omulimu ogw&pos;okuzza ekkanisa obuggya gwe yalina okukola. Abayivu ne basomanga Ekigambo kya Katonda ne bazuula amazima amakulu ag’ekisa kya Katonda ekirokola nga kibikkuddwa. Era ne bayigirizanga amazima gano buli gye babuuliranga abantu ne bakyukira ebigambo eby’obulamu.EE 51.3

    Wycliffe ng’akyukidde okusoma Ebyawandiikibwa, yatandika okubinoonyerezaako mu ngeri yeemu nga bwe yakuguka mu magezi ag’essomero. Yali yegomba nnyo okuyiga Bayibuli naye nga tewali ayinza kugimusomesa n&pos;amatira, okutuusa ku mulundi ogwo. Mu Bayibuli n’azuulamu ebintu bingi bye yali yanoonya edda naye nga tabirabanga. Yalaba enteekateeka ya Katonda ey&pos;obulokozi era n&pos;ategeera nga Kristo yekka ye muwolereza eri olulyo Iw’omuntu. Bwatyo ne yeteeka mu mikono gya Yesu amukozese era n’amalirira okutegeeza amawulire ag’amazima g’azudde.EE 51.4

    Wycliffe okufaanana n&pos;abamusooka okuzza obuggya ekkanisa, teyamanya era teyasobola kulengera amanye ky&pos;akola gye kirimuluusa. Teyakigenderera kuwakanya butereevu kkanisa y’e Luumi. Naye olw’okwewonga kwe yali akoze okutegeeza amazima n&pos;ayingira mu lutalo Iw’okulwanyisa obulimba. Gye yakomanga okulaba ensobi mu njigiriza z&pos;obwapaapa, gye yakomanga okutegeeza enjigiriza ya Bayibuli. Yakizuula nga Luumi yali yava dda ku Kigambo kya Katonda era n’agoberera obulombolombo bw&pos;abantu; n’anenya abasasedooti awatali kutya olw’okusuula ebyawandiikibwa, nga bw’ategeeza nti Ebyawandiikibwa biddizibwe abantu era bibe nga bye bifuga mu kkanisa. Yali musajja mwogezi mulungi era omusomesa ow&pos;amagezi, nga osobola okulaba amazima g&pos;abuulira mu bulamu bwe. Ng’amanyiEE 51.5

    bulungi Ebyawandiikibwa, asobola okunnyonnyola ensonga, omusajja omwesimbu, atamala gakyusibwa ekyamuleetera okwagalibwa n’okussibwamu ekitiibwa. Abantu bangi nga betamiddwa enzikiriza z’eddiini yaabwe buli Iwe baalabanga ebibi ebikolebwa mu kkanisa y’e Luumi, era bwebatyo ne basanyukira nnyo omusana omuggya oguleetebbwa WyclifTe. Naye Obwapaapa ne bunyizibwa byansusso okulaba ng’omusajja ono ayagalibbwa okusinga bo.EE 52.1

    Wycliffe nga mwangu okuzuula ensobi weeri era emirundi mingi n’ayatuliranga Luumi emizizo gyeyakolanga mu bugenderevu awatali kutya. Olumu bwe yali akola ng’omusumba wa kabaka, yawakanya omusolo ogwawebwanga Paapa okuva mu bwakabaka bwa Bungereza, n’ategeeza nti Paapa talina w’ajja buyinza kufuga bakulembeze batali ba ddiini wadde mu Byawandiikibwa oba mu magezi agabulijjo. Omusolo gwa Paapa ogwo nga gwanyiiza dda abantu omuli n’abakulembeze. Kabaka n’abalangira kwe kujeemera obufuzi bw&pos;omulabirizi wa Luumi nga kw’otadde obutasasula musolo ogwamuwebwanga olw’ebigambo Wycliffe bye yayigiriza. Bwebutyo obufuzi bwa Paapa n&pos;ebukosebwa kinene nnyo mu Bungereza.EE 52.2

    Ekibi ekirala omusajja wa Katonda kyeyalwanyisa okumala ekiseera ekiwerako, bye bibiina by&pos;abantu ekkanisa y’e Luumi be yatongoza okukola emirimu gy’ekkanisa n’okuweereza mu bantu naye nga balabirirwa bantu eyo gye babeera mu byalo. Abantu bano baabuna Bungereza yenna nga basabiriza bwebatyo ne bakosa ebyenfuna n’obugagga bw’eggwanga. Baafuuuka ekivume eri abantu abakola mu makolero, mu byenjigiriza, ne mu mbeera ezabulijjo. Obulamu bwabwe obw&pos;ebbulabikolwa n&pos;okusabiriza tebwakoma mu kuttattana byanfuna mu bantu, naye era bwali kisekererwa. Abavubuka nga tebalina mwoyo gukola mirirnu era nga bonoonese. Bangi ne bayingira mu bibiina by&pos;abantu abo ne beesibira mu bulamu ebw’ebigo (monasteries), nga n’abazadde baabwe tebakimaanyiko wadde bo okwesalirawo okugenda mu bigo. Omusasedooti omu bwe yali awolereza obulamu bw’abantu ababeera mu bigo ng’abugerageranya n&pos;omukwano era n&pos;obuvunaanyizibwa bw’omuzadde n’omwana mu biseera ebyo yagamba bwati: “Newakubadde nga kitaawo ayimirira mu mulyango gw’ennyumba yo ng&pos;akaaba era ng&pos;akungubaga, era newakubadde nga nnyoko akweyambulira n&pos;akulaga amabeere agaakuyonsa, tolonzalonza, bayiteko mangu ogende eri Kristo.” Oluvannyuma Luther yayogera ku bikolwa bino ebiringa eby’ensolo ku baana nga bwe baakakanyaza emitima gyabwe eri abazadde nga balinga omusege oguwoomerwa omunyago - Barnas Sears, The Life of Luther, pages 70,69. Eyo y’engeri abakulembeze b’Obwapaapa bwe bakyusa etteeka lya Katonda okuba obulombolombo nga tebalumirwa muntu. Amaka ne gaggwaamu ekitiibwa, abazadde nga banyagiddwako abaana baabwe.EE 52.3

    N’abayizi abali mu matendekero agawaggulu nabo ne babuzaabuzibwa bakabona bano ab’obulimba okubegattako. Era bangi ne bejjusa olw’okusalawo kwabwe anti nga balaba baayonoona ebiseera byabwe ebyomumaaso nga n’abazadde baabwe nabo nga banakuwaziddwa; so ng’ate tekyali kyangu bo okuva mu mutego mwe baali bagudde okufuna eddembe lyabwe nate. Abazadde olw’okutya abasasedooti ne bagaana n’okutwala abaana baabwe mu matendekero agawaggulu. Era ne wabaawo okuddirira kwamaanyi mu muwendo gw’abayizi abasomera mu matendekero ago. Nga tewakyali kikolebwa ku masomero, bwebutyo obutamanya nc bweyongera.EE 52.4

    Ekirala, Paapa yawa obuyinza abasasedooti okuba nti bawulira okwenenya kw’ebibi by’abantu era babasonyiwe. Ekyo nno kyazaala ebibi nkumu nnyo. Anti, abantu bali ekkanisa y’e Luumi beyatongoza, olw’okwagala okutuukiriza bye beetaaga, baawa okusonyiwa abantu abazizza emisango egya nnaggomola olwo abatemu n’abamenyi b’amateeka nga baddukira gye bali, ebibi ne byeyongera. Abalwadde n’abanaku ne basigala nga babonaabona, nga n’obuyambi obwandibaweereddwa abasasedooti ne babubatwalako, nga babatiisatiisa okuboogera mu Iwatu nga bwe batasaamu kitiibwa bakulembeze ba ddiini bwe batabawa birabo bya sente. Ne bafuna obugagga bungi ng’ekyo okirabira ku meeza zaabwe mu kulya n’okwejalabya, akabonero akalaga okukontana n’ebirayiro bye baalayira eby’okuba abaavu. Nga newakubadde bali mu masanyu n’okwejalabya, nga balondayo abantu abalina okumanya okutono abasobola okutendereza n’okuwanawaana, abantu banyumirwe bwebatyo basigale mu bulimba bwabwe. So ng’ate bo bali mu kunyweza bulimba bwabwe mu bantu bawulirire mu bukulembeze bwa Paapa, okusinza abafu abatukuvu n’okubatonera ebirabo mbu olwo bakuweebwa ebifo mu ggulu.EE 53.1

    Abantu ab’obuvunaanyizibwa era abayivu ne bagezaako okuteekawo enkyukakyuka naye nga buteerere; kyokka Wycliffe mu bugumu obw’ekitalo, naatuuka ku mulandira era ensibuko y’ekibi bwe yabaatulira nti abantu abo tebagwanira kubaawo era basaana kugibwawo. Okukubaganya ebirowoozo ne kusituka abantu nga beewunya anti ng’ebirowoozo bitandise okuzuukuka. Abasasedooti ne batambula nga batunda ebisonyiwo bya Paapa okubuna eggwanga lyonna, abantu n’ebebuuza ekibaguzisa ekisonyiwo n’esente okusinga okugenda eri Katonda asonyiwa awatali kusasula. Nga bakoyesebbwa n’obunyunyunsi bwabwe olw’obutamatira. Ne batuuka n&pos;okwogera nti: “Abasasedooti n’abalabirizi ba Luumi batulya batumalawo nga kookolo. Katonda tutaase naye abantu bafa baggwaawo.” - D’Aubigne, b. 17, ch. 7. Olwo ng’abasasedooti bwe bagamba nti bakola bwebatyo bafaanane Omulokozi, era nti ne Yesu awamu n’abayigirizwa be baayambibwanga bantu mu ngeri eyo. Abantu bangi kyebaava basalawo okwenoonyeza amazima okuva mu Bayibuli, ekitaasanyusa Luumi kubanga ekigendererwa kya Luumi yayagala okukuumira abantu mu kizikiza ate nga kaakano bali mu kusoma Bayibuli ensibuko ey’amazima.EE 53.2

    Wycliffe kwe kutandika okuwandiika n’okufulumya mu kyapa obupapula obuwakanya ebibiina by’abantu abo, naye nga si lwakwagala kukaayana wamu nabo, naye abantu basobole okukyusiza ebirowoozo byabwe eri enjigiriza ya Bayibuli n’Omuwandiisi waayo. N’ategeeza nti obuyinza obusonyiwa omuntu ebibi bye oba obw’okugobebwa mu lubu Iw’abakkiriza Paapa bw’alina tebusinga bwa musasedooti mulala yenna, era nti tewali muntu yenna ayinza kugobera ddala muntu mu lubu Iw’abakkiriza okujjako ng’oyo y’awaulidde okusingibwa omusango mu mutima gwe. Naye era mu ekyo teyayinza kuwangula bulimba obunene ekyenkanidde awo obwateekebwawo obwapaapa ne buwamba emyoyo n’emibiri gy’abantu nkumu.EE 53.3

    Kyokka era Wycliffe yayitibwa okulwanirira obwakabaka bwa Bungereza kaakano obwali busekeetererwa Luumi; naaweereza ng’Omubaka w’obwakabaka bwa Bungereza mu nsi y’Abadaaci, gye yamala emyaka ebiri nga beetaba mu nkiiko n’ababaka ba Paapa. N’asisinkananga ababaka b’ekelezia okuva mu nsi nga Bufalansa, Yitale ne Sipeyini era n’afuna n’omukisa okulaba ebyama n’okutunaEE 53.4

    amagezi mu bintu bingi ekitandisobose bwe yandisigadde mu nsi ye. Yayiga bingi bye yalina okuteekako omulaka oluvannyuma lw’okuweereza kwe. Yayinza okumanya empisa n’ebigendererwa ebituufu ebyali mu bukulembeze bwa Luumi. Era bwe yakomawo e Bungereza, n’attukizza enjigiriza ze mu maanyi nga bw’ategeeza nti Luumi yeekolera baKatonda omuli okwegomba, amalala, n&pos;obulimba.EE 54.1

    Olumu yawandiika ku paapa n’abamusololezanga sente n’agamba nti: “Banyunyunse buli kantu akayinza okulabirira omunaku okwetoloola ensi yaffe, ne batwala sente ya kabaka Obwo obuweereza bwa kikolimo era bukontana n’amazima; so ng’ate bakirisizza n&pos;ensi zonna ez’Obukristaayo obulimba obwo. Era nkakasa nga singa tubadde n’olusozi olugulumidde nga lujjuddemu zaabo, nga tewali muntu mulala yenna amutoolako wabula abasolooza ba Paapa, yandimalidwawo mu kaseera buseera; kubanga bakuņņaanyizza buli sente yonna okuggwa mu nsi yaffe naye nga tewali kye tufunamu wabula ebikolimo bya Katonda olw&pos;okunyaga ebitukuvu bye.” - John Lewis, History of the life and sufferings of J. Wiclif, page 37.EE 54.2

    Amangu ddala nga Wycliffe yakakomawo e Bungereza, naafuna ebbaluwa okuva ewa kabaka ng&pos;emuyita okuweereza nga bwanamukulu w’ekigo ky’e Lutterworth. Kino kyamukakasa nti kabaka yali tannalaba buzibu bwonna mu bigambo bye. Kubanga okuyita mu Wycliffe ensi ya Bungereza yafuna okuluņņamizibwa mu kulamula emisango awamu n’okwezimba.EE 54.3

    Tewayita na kaseera obwapaapa ne bumwambalira. Anti paapa yawaandiika ebbaluwa satu ne ziweerezebwa e Bungereza, emu n’egenda mu ssettendekero endala ewa kabaka n’eyokusatu n&pos;egenda mu balabirizi b’ekkanisa y’e Luumi, nga zonna ziragira okusirisa omuyigiriza w&pos;obulimba. (Augustus Neander, Genaral History of the Christian Religion and Church, period 6, sec.2 pt. I par. 8.). Naye nga tezinatuuka, abalabirizi ne bayita Wycliffe okujja yeewozeeko. Eky&pos;omukisa omulungi n’awerekerwako abalangira babiri abamaanyi mu bwakabaka, era n&pos;abanUi bangi ne bebulungulula ekizimbe, ekyaleetera okutya mu balabirizi b’e Luumi okumusalira omusango, bwatyo Wycliffe ne yetambulira mirembe. Ekiseera tekyayita kiwanvu kabaka w’e Bungereza Edward III n&pos;afa anti mu oyo, abalibirizi b’e Luumi mwe baayagala okuvunaanira Wycliffe kabaka bwe yali nga mukadde, era n’asikirwa omulangira eyawa Wycliffe obukuumi ng’avunaanibwa.EE 54.4

    Ekiragiro ekyali mu bbaluwa ya Paapa kyalagira Bungereza okukwata n’okuggalira Wycliffe mukkomera olw’okuva ku Luumi. Nga kino kitegeeza kuttibwa. Era nga kyeraga lwatu nti Wycliffe waakugwa mu mikono gya Luumi okumugajambula. Naye oyo eyayogera eri abo abasooka nti, “Totya Nze ngabo yo” (Lubereberye 15:1), yali agolodde omukono gwe okukuuma omuddu we nate. Okufa ne kubaawo naye so si eri omuddu wa Katonda naye eri omulabirizi w’e Luumi eyalagira okuttibwa kwa Wycliffe. Bwebutyo obukulembeze bw’obwapaapa obwali bwesomye okumuwozesa ne bwabulukukamu olw&pos;okufa kwa Gregory XI.EE 54.5

    Omukono gwa Katonda ne guwanirira era ne guteekawo buli mukisa gwonna oguyamba okukula kw’ekkanisa mu kudda obuggya. Papa Gregory ng’afudde n’asikirwa ba papa babiri abalondebwa naye nga tebakkaanya. Obuyinza obw’emirundi ebiri obukkiriza nti tebuwaba era tebukola nsobi, kaakano nga buli omu anoonya kugonderwa. Buli omu n’ayita abagoberezi be bamuyambe okulwanyisa omulabe nga kw’otadde okumukolimira n’okusuubiza abawagizi nga bwe banaafunaEE 54.6

    empeera yaabwe mu ggulu. Kino ne kinafuya nnyo amaanyi g’obwapaapa. Nga buli omu akola kyonna ekisoboka okulumba omulala, bwatyo Wycliffe n’afuna akaseera okuweeramu. Ebikolimo n’okuyombagana ne biyitiņņana, ebitaba by’omusaayi ne bibuna wonna olw’ennyombo zaabwe. Obutemu n’obuvuyo ne bijjula ekkanisa. Mu kiseera ekyo nga Wycliffe yetuulidde mirembe afuba kusongera bantu ku Yesu Omulangira Owemirembe; bajje amaaso ku bapapa abalwanagana.EE 55.1

    Enjawukana ezajja, okulwana n’emivuyo ebyali mu kkanisa byatekateeka ekkubo ly’ekkanisa okudda obuggya abantu bwe baasobola okwerabira n’amaaso gaabwe ebigendererwa ebituufu eby’obwapaapa. Mu kapapula Wycliffe ke yafulumya mu kyapa nga kaliko omutwe: “Enjawukana Z&pos;obwapaapa,” yawandiika ng’ayita abantu beerabire ku bakabona bano aboogera amazima buli omu bw’anenya munne okuba omulabe wa Kristo. Agamba, “Katonda tayinza kukkiriza Setaani kufugira mu kabona omu yekka, naye abawuddemu, abantu basobole okubeewonya okuyita mu linnya lya Kristo.” - R. Vaughan, Life and Opinions of John de Wycliffe, vol. 2, p.6.EE 55.2

    Okufaanana ne Mukama we Omuyigiriza omukulu, Wycliffe enjiri yagibuuliranga bantu banaku. Era teyamatirako n’omulundi n&pos;ogumu okusasaanya ekitangaala mu kitundu ky’ewaabwe eky’e Lutterworth, bwatyo n’amalirira okubunyisa enjiri mu buli kitundu kyonna mu nsi ya Bungereza. Kwe kuteekateeka ekibiina ky’ababuulizi omuli abasajja abangu, abamalirivu, abaagala amazima nga tebalina kye beegomba kirala kyonna okusinga okugabunyisa. Abasajja bano ne batuuka mu buli kitundu, ne babuulira enjiri mu butale, mu nguudo z’ebibuga ne mubyalo. Ne banoonya abakadde n’abalwadde awamu n’abanaku nga babategeeza ku mawulire amalungi ag’ekisa kya Katonda.EE 55.3

    Bwe yali omusomesa w’ebyeddiini mu ssettendekero lya Oxford, Wycliffe yabuulira Ekigambo kya Katonda mu buli kisenge kya ssettendekero. Naategeezanga amazima eri abayizi beyasomesanga n’obwesigwa obwekitalo eky’amuweesa ekitiibwa kya “dokita w’enjiri.” Naye omulimu gwe yasinga okukola mu bulamu bwe kwe kuwunula Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ne biwandiikibwa mu lulimi Olungereza. Era bwe yawandiika ekitabo kye kyeyatuuma Amazima N&pos;amakulu G’ebyawandiikibwa yakinyweza nga bwe yali ow’okuwunula Bayibuli buli muntu mu Bungereza ayinze okwesomera ku mirimu gya Katonda egyekitalo mu lulimi Iwe.EE 55.4

    Ekyennaku omulimu ogwo ne gugootanyizibwa. Newakubadde nga yali tannaweza myaka nkaaga egy’obukulu, olw&pos;okukola obutaweera, okusoma ebitabo, n&pos;okuyigganyizibwa abalabe be, byamunafuya n&pos;okukaddiwa n’akaddiwa ng’akyali muto. Yalumbibwa obulwadde obubi ennyo, ekyo nno ne kisanyusa nnyo abaweereza ba Paapa. Ne basuubira nti kaakano aneenenya ebibi by&pos;atusizza ku kkanisa y&pos;e Luumi, bwebatyo, kwe kugenda gy’asula bamuwulire nga bw’anayatula okwenenya kwe. Bannaddiini abawerera ddala bana nga kw’otadde n’abakulembeze bana ab’obwakabaka ne bakuņņaanira waali ku kitanda kye okulaba omusajja wa Katonda bw’afa. Ne bamuwaliriza okwatula nga bwe bamugamba nti, “Wegaane ebibi by’otutusizzaako kubanga ogenda kufa so togenda kulama.” Wycliffe n’awuliriza naye mu kasirise, bwatyo n’ayita omujanjabi amuwanirire asobole okutuula ku kitanda kye; n’abekaliriza amaaso nga bwe balindirira okuwulira nga bwe yegaana n&pos;okwatula bye yakola. Yabaddamu mu ddoboozi ery’omwanguka era nga tajugumira nti: “Siri wakufa, naye ndi wakuwona nyongere okwanika ebikolwa ebibi ebikolebwa abaweereza ba Paapa.” - D’Aubigne, 17, ch.7. Ne bafuluma nga baswadde era nga beewuunya.EE 55.5

    Ebigambo bye byatuukirira. Yawangaala okutuusa lwe yalaba ku ky’okulwanyisa eky’amaanyi nga kiri mu mikono gy’abantu be - Bayibuli, ekitala ekisinga mu byonna, okulwanyisa Luumi, okuleetera eddembe abantu n’okubamulisiza ekkubo awamu n’okubawa amawulire amalungi. Yasisinkana emiziziko mingi gye yayinza okuwangula okusobola okutuukiriza omulimu ogwo, omwali obulwadde obw’olutentezi, era n’akimanya nti si wakuwangaala myaka mingi; yalaba okuwakanyizibwa okwali kumwolekedde naye naagumizibwa olw’ebisuubizo ebiri mu Kigambo kya Katonda, bwatyo n’agenda mu maaso nga mugumu mu mmeeme ye. Katonda yamuteekateeka mu ngeri ey’enjawulo okusobola okutuukiriza omulimu guno ogusinga obukulu mu egyo gye yakola bwe yamuwa amagezi n’okumanya. Mu kiseera ekyo ensi z’Obukristaayo nga zibuliddwa okufuna emirembe, WyclifFe yali mu maka ge ag’e Lutterworth ng’atuukiriza omulimu gwe ogw’amumuyisa awatali kuwuliriza muyaga ogwali gukunta mu nsi.EE 56.1

    Lwali olwo omulimu ne gumalirizibwa - Bayibuli eyasooka okuwunulwa mu lulimi Olungereza. Oluggi lw’Ekigambo kya Katonda ne luggulwaawo mu Bungereza. Kaakano Wycliffe nga takyawulira kutya kuteekebwa mukkomera wadde okuttibwa. Ng’amaze okukwasa abantu b’ensi ye omumuli ogutayinza kuzikizibwa. N’akutula enjegere ez’obutamanya n’obulimba ebyali bibasibye bwe yabakwasa Bayibuli bafune eddembe n’okusitulira waggulu ensi okusinga bwe bandituuse ku buwanguzi obw’amaanyi okuyita mu ntalo.EE 56.2

    Omulimu gw’okuwandiika n’okuviisaamu Bayibuli eziwera gwatambula kasoobo era nga gumenya olw’amagezi g’okufulumya ebitabo mu kyapa okuba nga teganafunibwa mu kiseera ekyo. Naye abantu bangi ne benyigira mu kugikoppolola n’okugiwandiika olw’okugyagala ennyo, ekyennaku nga tebasobola kumatiza bagyetaaga. Abagagga nga be bagula Bayibuli yonna mu bujjuwu. Ate ng’abalala nga bagigula mu bitundutundu. Bwetyo, Bayibuli eyawandiikibwa Wycliffe n’etuuka mu maka g’abantu bangi.EE 56.3

    Olwo abantu ne batandika okwebuuza ensonga ebadde ebafuza obumbula olw’enjigiriza za Paapa. Wycliffe n’atandika okuyigiriza enjigiriza ezaawula Obupulotestanti omuli: Obulokozi okuyita mu kukkiriza Kristo, n’Ebyawandiikibwa okuba nga bye byokka ebitawaba. Ababuulizi beyasindika okubunyisa Bayibuli ne batwalirangako ebiwandiiko bye, ekyabatuusa ku buwanguzi abantu nga kimu kyakubiri eky’abantu ba Bungereza bwe bakkiriza enzikiriza eno empya.EE 56.4

    Okusasaana kw’Ebyawandiikibwa kw’akuba enkyukwe abakulembeze b’ekkanisa y’e Luumi. Kaakano nga boolekedde obuyinza obusukka amaanyi ga Wycliffe - obuyinza obutayinza kuwangulwa na kitala kyabwe. Mu kiseera ekyo nga tewannabaawo tteeka likugira kubeera na Bayibuli mu Bungereza, kubanga yali tewandiikibwangako mu lulimi Iwabwe. Kyokka amateeka ag’engeri eyo gateekebwawo luvannyuma era ne gagobererwa butiribiri. Ekigambo kya Katonda ne kifuna omukisa okusasaanyizibwa, newakubadde ng’abasasedooti baakola kyonna ekisoboka okukiziyiza.EE 56.5

    Kyokka era abakulembeze b’obwapaapa ne basala enkwe okubuniza Wycliffe. Yayitibwa mu nkiiko ssatu ez’omuddiriņņanwa naye ne batafunamu. OkusookaEE 56.6

    olukiiko Iw’abalabirizi b’e Luumi Iwalangirira nti ebiwandiiko bye biwabya, so ng’ate era, bwe bawangula kabaka eyali akyali omuto mu myaka Richard II, ne bamuzza ku ludda lwabwe, ne bafuna ekiragiro ky’obwakabaka okusiba buli yenna anaasangibwa n’ebiwandiiko ebyagaanibwa.EE 57.1

    Wycliffe kyava yekubira enduulu mu lukiiko Iw’eggwanga; n’alutegeeza awatali kutiisibwa kwonna okujooga okuyitiridde ekkanisa y’e Luumi kwe yali ebatuusizaako ng’asaba wabeewo okukyusa mu mateeka. Naalaga mu lulimi olutegerekeka okwewaņņamya n&pos;obulyake ebyali bijudde ku kitebe ky’obwapaapa. Abalabe be ne batabuka. Nga mikwano gye bawalirizibbwa okumulekawo, ne basuubira nti oba oli awo naye alijeemulukukira obukulembeze b’obwapaapa nga bwegattidde wamu n’obwakabaka mu myaka gye egy’obukadde olw’okubulwa emikwano. Kyokka obwapaapa bwe bwawangulwa, anti olukiiko lw’eggwanga lwawulira okulaajana kwa Wycliffe ne lukendeeza ku buyinza bw’obwapaapa mu kuyigganya abantu, Wycliffe naafuna nate emirembe.EE 57.2

    Naawozesebwa nate omulundi ogwokusatu kumulundi guno mu maaso g’olukiiko olukulu olw’ekkanisa y’e Luumi mu bwakabaka bwa Bungereza. Era wano teyakwatirwa kisa. Luumi n’esuubira okutuuka ku buwanguzi bw’eneyimiriza okufuba kwe. Nga bwe banaatuukiriza ekigendererwa kyabwe, WyclifFe wakwegaana enjigiriza ze si nakindi okuva awo ng’ayolekedde kwokebwa.EE 57.3

    Naye Wycliffe teyegaana kukkiriza kwe wadde okwekkiriranya, okuggyako okunyweza enjigiriza ye awatali kutya era n’asambajja n’ebimuvunaanibwa abamuyigganya. Nga teyerowozezaako okusinziira ku kitiibwa kye era n’okufumiitiriza ku mbeera eriwo, kwe kutegeeza abamuwuliriza bakyuse amaaso gaabwe batunulire ekifo awawolezebwa emisango eky’omu ggulu era balabe obutafumiitiriza bwabwe n’obulimba bwe bigerageranyizibwa ku mazima ag’emircmbe gyonna. Abaaliwo ne bawulira okubeerawo kw&pos;amaanyi ag&pos;Omwoyo Omutukuvu mu kifo ekyo. Ne bawulira okukwatibwako kwa Katonda. Nga tebaagala na kuseguka mu kifo. Ebigambo bya Wycliffe ne bifumita emitima gyabwe ng’akasaale okuva mu mukono gwa Mukama. Emisango egy’okuwabya gye baali bamuvunaana ne gibakyukira. Era n’ababuuza Iwaki baagala okubunyisa obulimba? Okutunda ekisa kya Katonda okukiviisamu amagoba? “Muvuganya ani?” bwatyo bwe yababuuza. “Muvuganya nange omuntu akaddiye era asulirira okufa? Kyannaku! Muvuganya Mazima - Amazima agabayinga obuzito era agajja okubawangula.” - Wylie, b. 2. Ch 13. Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo nabaviira era tewaaliwo n’omu eyayaņņanga okumugaana okufuluma.EE 57.4

    Omulimu gwa Wycliffe kaakano gwali gutuuse ku nkomerero; bendera gye yali asitudde okumala ekiseera ng’eyolekedde okuggibwa mu mikono gye, naye ng’alinayo omukisa ogusembayo ogw’okujjulira enjiri. Amazima nga galina okubuulirwa ne ku nsibuko y’obulimba. Bwatyo Wycliffe n’ayitibwa olukiiko olukulu olw’obwapaapa e Luumi, emirundi mingi olwayiwanga omusaayi gw’abatukuvu. Yali ategeerera ddala bulungi obulabe obwali bumutunuulidde era nga yali wakugenda singa tebwali bulwadde bwa kusanyalala obwamulemesa. Naye newakubadde nga eddoboozi lye teryali lyakuwulirwa mu Luumi, awulirwe okuyita mu bbaluwa era kino n’amalirira okukituukiriza. Kwe kuwandiikira Paapa ebbaluwa emusaamu ekitiibwa era mu mwoyo ogw’Obukristaayo ng’asinziira mu maka ge n’amunenya ebikolwa eby’amalala n’okweraga ebyalabikiranga mu bwapaapa.EE 57.5

    Yagamba nti, “Mazima ndi musanyufu okubikkula n’okutegeeza eri buli muntu ekyo kye nzikiriza, naddala ggwe omulabirizi w’e Luumi: era nga nsuubira okwogera mu ddoboozi eritegerekeka era ery’amazima nti onokkiriza okunyweza kye nzikiriza oba bwemba omukyamu ompabule.EE 58.1

    “Ekisooka, nzikiriza nga enjiri ya Kristo gwe mubiri gumu ogw’amateeka.... Era nga nkakasa nti n&pos;omulabirizi w’e Luumi era omukiise wa Kristo ku nsi, okufaanana n’abanlu abalala, okuba omwulize eri etteeka ly’enjiri. Kubanga n’omuyigirizwa wa Kristo asinga obukulu teyegwanyizako bitiibwa byansi eno wabula okusembera okumpi n’okulabira ku mpisa awamu n’obulamu bwa Kristo.... Kristo yali mu bulamu obw’obwavu ennyo mu kiseera we yabeerera omulamazi ku nsi eno, omuntu ow&pos;ennaku era eyeggyako ekitiibwa n&pos;obufuzi bw’ensi eno.EE 58.2

    “Tewali mukkiriza n’omu eyandigwanidde okugoberera paapa yennyini newakubadde omu ku bantu abatukuvu okuggyako nga naye atambulidde mu buufu bwa Mukama waffe Yesu Kristo; kubanga olw’okugoberera ebitiibwa by’ensi eno, ne Peetero awamu n&pos;abaana ba Zebeddaayo, baayonoona era tebagwanira kubeera kyakulabirako EE 58.3

    “Paapa kimugwanira okweggyako obuyinza bw’ensi eno eggwaawo abulekere abafuzi b’ensi adde mu kunyweza n’okuliisa abasumba be; kubanga ne Kristo bwatyo bwe yakola so nga n’abatume bwetyo. N’olwekyo, bwemba omusobya mu nsonga yonna, nsaba okuwabulwa ne bwekiba kitegeeza kuttibwa; era singa kyabadde kisoboka nandifubye okujja mu buntu, nze mwene neerage eri omulabirizi w’e Luumi; naye Mukama waffe teyasiimye, era andaze nga kiņņwanira okuwulira Katonda okusinga okuwulira abantu.EE 58.4

    Bwe yali afundikira yagamba nti: “Katusabe Katonda ayinza, akwate ku Paapa waffe Urban VI awamu n’abasumba be nga bwe yasooka okukola, agoberere era alabire ku mpisa ne ku bulamu bwa Mukama waffe Yesu Kristo, era ng&pos;ali wamu n’abasumba be ayigirize abantu banywezebwe mu kukkiriza balyoke bayinze okubagoberera mu bwesigwa.” - John Foxe, Acts and Monuments, vol 3, pp. 49, 50EE 58.5

    Bwatyo Wycliffe bwe yalaga Paapa ng’ali wamu n&pos;abalabirizi be obukakkamu n’obuwombeefu obwali mu Kristo, so si eri ye yekka, naye era obuzze bulabikira ne munsi zonna omuli Obukristaayo, nga waliwo enjawulo nnene wakati waabwe ne Kristo gwe bagamba nti gwe bakkiriza.EE 58.6

    Mu kiseera kino Wycliffe yali amaze okukitegeera nti obulamu bwe buli mu kufa olw’okuba omwesigwa. Nga kabaka wa Bungereza, Paapa n’abalabirizi b’e Luumi bekobaanye okumuzikiriza era nga asuubira okuttibwa mu bbanga eritali ddene. Naye n’asigala nga mugumu. Yagamba: “Lwaki okwogera nga mwongezayongezayo engule yange ey&pos;obujulizi? Mubuulire enjiri ya Kristo abalabirizi b’ekkanisa y’e Luumi abajjudde amalala, temubulwe bajulizi abattibwa ku lwayo. Wangi! NzeEE 58.7

    okusirika? Tekisoboka! Nnindiridde ņņombe kufuuyibwa.” - D’Aubigne, b. 17 ch.EE 58.8

    8.EE 58.9

    Naye ng’omukono gwa Katonda ogw’ekisa gukyawaniridde omuddu we. Omuntu ayimiriddewo ng’alwanirira amazima okumala ebbanga eddene ery’obulamu bwe, wakati mu kutiisibwa okuttibwa buli lunaku, nga si wakuzikirizibwa balabe be. Wycliffe yali teyerwanirirangako, naye nga Mukama y’amukuuma, era ne mu kiseeraEE 58.10

    abalabe be we beekakasiza ddala nti kaakano ali mu mikono gyaabwe, Mukama n’amuwummuzza. Bwe yali agenda okusembeza ab’ekkanisa ye ku mmeeza ya Mukama wafFe mu kkanisa ye e Lutterworth, n’agwa wansi olw&pos;okusanyalala, era mu bbanga ttono nnyo n’assa omukka gwe ogw’enkomerero.EE 59.1

    Katonda yakwasa WyclifTe omulimu ogw’okukola. Ng’amuwadde ekigambo ku lulimi Iwe, era ne bw’anakituusa ku bantu. Katonda yakuuma obulamu bwe era emirimu gye ne gy’eyongera okutuusa omusingi ogw’okuzza ekkanisa obuggya Iwe gwateekebwawo.EE 59.2

    Wycliflfe asitukira mu kiseera ensi we yayitira mu Kizikiza ky’okumanya ekyali ekizibu ddala. Nga tewali yamusooka gwe yandirabiddeko okusobola okunyweza okuyigiriza kwe. Okufaanana ne Yokaana Omubatiza eyalondebwa okutuukiriza omulimu ogw’enjawulo, mazima ye yali omubaka w&pos;ekyasa. So ng’ate/amazima g&pos;ekigambo kye yayigiriza gaalimu obuluņņamu, nga, n’abamu abamuddirira kumpi okumala emyaka nga kikumi tebaayinza kuyigiriza batyo. Omusingi ne gusimibwa era ne guteekebwawo okwazimbirwa Obukristaayo.EE 59.3

    Omugendo ogwatandikibwa Wycliffe mu kyasa ky’emyaka eky’ekkumi nennya, ne guleetera abantu eddembe n’okusumulula okutegeera kwabwe, nga kw’otadde amawanga okufuna eddembe okuva mu busibe bwa Luumi, gwasibuka mu Bayibuli. Era muno mwe mwasibuka ensulo ey’amazzi ag’omukisa agazze nga gakulukuta okumala emyaka mingi. Kubanga Wycliffe yakkiriza Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ng’okubikkulirwa kwa Katonda okwaluņņamizibwa nga bye bifuga okukkiriza n’empisa y’Obukristaayo byokka. Yali yayigirizibwa okuwulira n’okussamu ekitiibwa ekkanisa y’e Luumi ng’ekkanisa ya Katonda, etewaba era etekola nsobi era n’ayigirizibwa okusinza enjigiriza n’obulombolombo bw’ayo obwagunjibwa emyaka egissukka olukumi nga teyebuuzizza; naye kaakano ng’akyusizza obuwulize bwe n&pos;abuzza ku Kigambo kya Katonda Ekitukuvu. Obwo bwe buyinza bwe yakubirizanga abantu okuwulira n’okussaamu ekitiibwa. N’abalaga obuyinza obw’enkomeredde, eddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu Kigambo kye okusinga ekkanisa okwogera ng’eyita mu Paapa. Era n’ayigiriza nti Bayibuli tekoma ku kubikkula ebyo Katonda by’ayagala ebitukuvu kyokka, naye era nti Omwoyo Omutukuvu ye muluņņamya waayo, era nti, buli muntu bw’agiyiga mu ebyo by’eyigiriza, amanya obuvunaanyizibwa bwe. Bwatyo bwe yakyusa ebirowoozo by’abantu okubijja ku Paapa n’ekkanisa y’e Luumi ne babizza ku Katonda n’Ekigambo kye.EE 59.4

    Wycliffe y’omu ku bazza b’ekkanisa obuggya abamaanyi. Kubanga yali musajja mutegeevu, ayawula ensoga, atayugayuga era ayimirirawo okulwanirira amazima, gw’otoyinza kwenkanya na mulala yenna kw’abo abamuddirira. Nga mwesimbu, atakoowa kuyiga wadde okukola emirimu, era atawubisibwa, alina okwagala ng’okwa Kristo n’obwesigwa mu buweereza, nga tewerabidde ekizikiza ky’obutamanya n’obuzzi bw’emisango ebyali bibuutikidde ensi mu kiseera mwe yasitukira.EE 59.5

    Obulamu bwa Wycliffe bukakasa okukola kw’amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu ayigiriza era akyusa obulamu. Kubanga okuyita mu Byawandiikibwa Ebitukuvu Katonda yamufuula ekyo kye yali. Buli Iw’ofuba okunoonya amazima g’Ebyawandiikibwa, ozzibwa buggya mu buli nsonga. Ebyawandiikibwa bigaziyaEE 59.6

    okutegeera kwo, mu kwawula ensoga n’okusalawo okutuufu. Era okuyiga Bayibuli kusitula endowooza obutafaanana magezi malala gonna. Ofuna ekigendererwa mu bulamu, oyiga obugumiikiriza, ofuna obuvumu n&pos;obunywevu; olongoosebwa empisa awamu n’emmeeme. Ensi yandifunye abantu ab’amaanyi, abategeevu era abalina empisa ez’ekitiibwa olw’okuyiga Bayibuli mu mwoyo ogunoonya okumanya, ng’ebirowoozo by’omuyizi biruņņamizibwa amagezi ga Katonda, okusinga beyali efunye mu kuyigirizibwa kw’amagezi g’omuntu. Omuwandiisi wa Zabbuli agamba nti: “Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; biwa okutegeera abatalina magezi.” Zabbuli 119:130.EE 60.1

    Enjigiriza ya Wycliffe gye yayigiriza yeyongera okubuna okumala ekiseera, era n’abagoberezi be abamanyiddwa nga Bawycliffites oba Balollards, baatambula ne basasaana si mu Bungereza mwokka naye n’okutuuka mu nsi endala nyingi, nga batwala amawulire amalungi. Ne bakola n’amaanyi mangi okusinga ne bwebaakola nga bali ne mukama waabwe, era enkuyanja y’abantu bangi ne bajjanga okuwuliriza okuyigiriza kwabwe. Abamu ku bakungu ne bakyuka nga mwotwalidde n’omukyala wa kabaka. Ne wabaawo enkyukakyuka nnene mu bitundu bingi olw’okukyuka kw’abantu, n’ebifaananyi by’obusamize ebyasimbibwa Luumi bingi ne bimenyebwa okugibwa mu makanisa. Naye ekiseera tekyayitawo kiwanvu, omuyaga gw’okuyigganya ne gusituka omutaali kusaasira naakatono olw’abo abakkiriza Bayibuli ng’omuluņgamya waabwe. Obwakabaka bwa Bungereza bwe bwayagala okwenyweza nga bufuna obuwagizi bwa Luumi, kye bwava butandika okutta buli yenna awagira enkyukakyuka. Ekiragiro ne kifulumizibwa okutta buli muyigiriza w’enjiri ekyali tekibangawo mu Bungereza. Okutta ne kufuuka okutta. Abalwanirizi b’amazima ne bakaabirira Mukama kubanga baali bawereddwa wonna nga kwotadde okubonyabonyezebwa. Ne bayiggibwa ng’abalabe b’ekkanisa n’obwakabaka, ne bafuna obubudamo mu mayumba g’abakadde n&pos;abantu abanaku, oluusi mu mpuku ne mu bunnya.EE 60.2

    Abakristaayo abeesigwa ng’ate bamalirivu ne bagendanga nga bawakanya obulimba n’obwonoonefu nga bwe byalabikiranga mu kkanisa okumala ebyasa by’emyaka bingi newakubadde nga waaliwo okuyigganyizibwa okutayogerekeka. Kyokka ng’amazima agamanyiddwa kiseera ekyo ga kitundu, naye ne baagala era ne bagondera Ekigambo kya Katonda, kye baabonaabonera wakati mu bugumiikiriza. Bangi ne beeresa ebintu byabwe eby’ensi olwa Kristo okufaanana n’abayigirizwa mu kiseera ky’abatume. Abaalina omukisa gw’okusigala mu mayumba gaabwe ne babudamyanga baganda baabwe abagobeddwa wakati mu ssanyu, era nabo bwe baagobwanga ne basanyukira omugabo gw’okubeera emmomboze. Abantu nkumi na nkumi ne beddiza eddembe bwe baalekawo okukkiriza kwabwe olw’okutya okuyigganyizibwa, ne baggibwa mu makomera nga bambaziddwa engoye eziriko obubonero bw’okwenenya nga bwe beegaana okukkiriza. Omuwendo tegwali mutono - anti mu abo mwe mwali n’abantu abakungu, abebitiibwa n’ababulijjo, abasooka okubonaabona ku lw’amazima nga basibibwa mu makomera awatali kutya, era wakati mu kubonyabonyezebwa n’okwokebwa omuliro ne bakibala nga kya muwendo “okubonaabonera awamu ne Kristo.”EE 60.3

    Obwapaapa bwali bulemereddwa okutuukiriza ekigendererwa kyabwo Wycliffe bwe yali ng’akyali mulamu era ne bawulira nga si bamativu amagumba ga WycliffeEE 60.4

    okuba nga gali mu ntaana. Olukiiko olwatuula e Konstansi kyelwava lulagira amagumba ge ne gaziikulwa ne gakumwako omuliro mu lujjudde, ewu ne liyiibwa mu kagga akaliranyewo newakubadde nga waali wakayita emyaka makumi ana bukyanga afa. Omuwandiisi omu kyeyava agamba nti: “Akagga kakulukusiza ewu lye mu mugga Avon, omugga Avon ne gukulukutira mu Sevem, omugga Sevem ne gukulukutira mu nnyanja, ennyanja eyiwa mu nnyanja ennene. Bwerityo ewu lya Wycliffe bwe lyafuuka akabonero k’enjigiriza ye kaakano etuuse mu nsi yonna.” - T. Fuller, Church History of Britain, b. 4, sec. 2, par. 54. Abalabe be tebaalowooza ku makulu agaali mu kikolwa kino eky’ettima kye baakola.EE 61.1

    John Huss ow’e Bohemiya naye bwatyo bwe yafuna okumanyisibwa okuyita mu biwandiiko bya Wycliffe ne yeegatta ku mugendo gw’okuzza ekkanisa obuggya n’atandika okuvumirira ensobi za Luumi. Bwezityo ensigo ez’ekigambo eky&pos;amazima bwe zaasimbibwa abantu babiri eb’enjawulo mu bitundu bibiri eby’esudde. Enjiri neetuuka mu bitundu ebirala okuva mu Bohemiya. Abantu ne bazibwayo ku Kigambo kya Katonda ekibadde kigayaliriddwa okumala ebbanga eddene. Omukono gwa Katonda nga guteekateeka ekkubo ery&pos;Okudda Obuggya mu kkanisa okw’amaanyi.EE 61.2

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents