Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
Essuubi Eritaggwaawo - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    30 — Obulabe Wakati W’omuntu Ne Setaani

    “Nange obulabe naabuteka wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi; ezzadde ly’omukazi lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” Olubereberye 3:15. Ekigambo Katonda kye yayogera ku Setaani oluvannyuma ng’omuntu amaze okwonoona mwalimu obunnabbi obwali buzingiramu emirembe gyonnaTokutuusa ku nkomerero y’ensi, nga bulagula olutalo olunene olwali olw’okutwaliramu olulyo Iw’abantu bonna abaali ab’okubeera ku nsi.EE 325.1

    Katonda agamba nti: “Nange n’ateekawo obulabe.” Obulabe buno tebusibuka mu butonde bwa muntu. Omuntu bwe yamenya amateeka ga Katonda, obutonde bwe bwayingirwamu ekibi, era kaakano nga bakkaanya bulungi ne Setaani. Omuntu omwonoonyi talinawo bulabe na mutandisi wa kibi. Bombi baayingirwamu ekibi bwe baajeema. Obujeemu tebuwummulangako, wabula nga waliwo akola ku lw’abwo mu kusikiriza abalala okugoberera ekyokulabirako kye. Olw’ensonga eyo bamalayika abaagwa n’abantu abaayonoona beegattira wamu awatali kyakukola ne batta omukago. Singa Katonda teyayingirawo, Setaani n’omuntu bandisse omukago ne balwanyisa eggulu; era nga mu kifo ky’okusanyukira obulabe bwa Katonda balwanyise Setaani, olulyo lw’omuntu lwonna Iwandyegattidde wamu okulwanyisa Katonda.EE 325.2

    Setaani ye yakema omuntu amale ayonoone, nga bwe yakikola ne ku bamalayika ne bajeema asobole okufuna beyegatta nabo mu kulwanyisa eggulu. Tewaaliwo butakkaanya wakati we ne bamalayika abaagwa mu kukyawa Kristo; wadde nga baalinamu empaka ku nsonga endala, kyokka baanyweza emikono gyabwe mu kulwanyisa obuyinza bw’Omufuzi afuga ensi zonna. Naye Setaani bwe yawulira Katonda ng’agamba nti wanaaberangawo obulabe wakati we n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lye n’ezzadde ly’omukazi, yakimanya nga amaanyi ge mu kwonoona olulyo lw’omuntu gaakukomebwako; era nga omuntu waakuweebwa obusobozi okuwakanya amaanyi ge.EE 325.3

    Obulabwe bwa Setaani eri olulyo lw’omuntu, bu[ja Iwakubanga nti, okuyita mu Kristo, omuntu afuuka mukwano gwa Katonda olw’okusaasira kwe. N’olwekyo ky’ayagala kwe kuteekawo emiziziko mu nteekateeka ya Katonda eri okununulibwa kw’omuntu, aswaze Katonda, ng’ayonoona n’okugwagwawaza ebitonde bye; olwo eggulu linakuwale n’ensi ajjijjuze amaziga n’okukuba ebiwoobe. Era asonge ku bubi buno bwonna nga buva ku Katonda olw’okutonda omuntu.EE 325.4

    Ekisa kya Katonda Kristo ky’ateeka mu mutima kye kiteekawo obulabe wakati w’omuntu ne Setaani. Awatali kisa kya Katonda kino ekikyusa era ekizzaamu omuntu amaanyi, omuntu yandisigaddenga mu buwambe bwa Setaani - omuddu w’okukola ebyo by’ayagala. Wabula etteeka eriggya eriteekebwa mu mutima liteekawo olutalo awabadde emirembe. Amaanyi ago Kristo g’agaba ge gawa omuntu obusobozi okuwakanya omutemu oyo nakigwanyizi. Kaakano buli oyo yenna alabika nga akyawa ekibi so nga abadde mukwano gwa kibi; oyo yenna awakanya era n’awangula okuyayaana okwo okuli mu mutima, alabikiramu etteeka erikolera mu ye naye nga liva waggulu.EE 325.5

    Obukyayi obuli wakati w’omwoyo wa Kristo n’omwoyo wa Setaani bwasinga nnyo okulabika Yesu bwe yajja mu nsi eno. Bwaliwo si lwakubanga yalabika nga talina bugagga bw’ansi eno, oba ebitiibwa wadde obukulu bwonna Abayudaaya balyoke bamugaane. Baamulaba nga alina amaanyi geyandisobodde okukozesa n’afuna ebyo byataalina. Wabula obulongoofu n’obutukuvu bye byavaako Kristo okukyayibwa abatatya Katonda. Okusalawo ye okwerumya ku Iw’abalala n’okwegendereza obutakola kibi bye byabanenyanga ku malala gaabwe buli kiseera - abantu abalowooza eby’omubiri. Wano we waasibuka obulabe eri Omwana wa Katonda. Setaani ne bamalayika abaagwa beegatta n’abantu ababi. Amaanyi gonna ag’omubi geekobaana okulwanyisa Omuzira ow’ekigambo ekyamazima.EE 326.1

    Obulabe bwe bumu Setaani abuteeka ne ku bagoberezi ba Kristo nga bwe yakikola ne ku Mukama waabwe. Buli muntu yenna ayinza okulaba obubi bw’ekibi, era n’akiwakanya okuyita mu maanyi agava waggulu, mazima waakusiikula obusungu bwa Setaani awamu n’abagoberezi be. Ekibi n’abonoonyi kavuna binaasigala nga bikyali ku nsi kuno, amazima gaakweyongera okukyayibwa era n’okuvumisibwa ko n’okuyigganya abagalwanirira. Abagoberezi ba Kristo awamu n’abaddu ba Setaani tebayinza kutabagana. Omusaalaba tegunakoma kulwanyisibwa. “Naye abo bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayiggany izibwanga.” 2Timoseewo 3:12.EE 326.2

    Ababaka ba Setaani bakola olw’ebiragiro bye buli kiseera okunyweza obuyinza bwe era n’okuzimba obwakabaka bwe obw’okuwakanya gavumenti ya Katonda. Banoonya okulimba abagoberezi ba Kristo okuyita mu bwo, babasikirize baleme kumusaamu kitiibwa. Okufaananako ne mukama waabwe, bawabya era ne banyoola Ebyawandiikibwa okutuukiriza ekigendererwa kyabwe. Nga Setaani bwe yayagala okuteeta ekivume ku Katonda, n’ababaka be bwe bali, banoonya okwonoona abantu ba Katonda. Omwoyo wa Setaani eyattisa Kristo waakukozesa n’ababi mu kuzikiriza abagoberezi be. Bino byonna byalagulibwa okuyita mu bunnabbi obwo obwasooka nti: “Nange obulabe naabuteeka wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi.” Era bwakubaawo okutuusa ku nkomerero y’ensi.EE 326.3

    Setaani akuŋŋaanyizza amaggye ge gonna era naye amazeeyo amaanyi ge gonna agatadde mu ddwaniro. Lwaki tafunye kuwakanyizibwa kungi? Lwaki abalwanyi ba Kristo beebase era nga tebeefiirayo? Lwansonga, enkolagana yaabwe ne Kristo ntono nnyo ddala; era, baavu mu Mwoyo wa Kristo. Tebakyawanga kibi nga Mukama waabwe bwe yali. Tebakiwakanya nga Kristo bwe yakolanga. Tebamannyidde ddala obubi obuli mu kibi era bazibiddwa amaaso obutalaba mpisa n’amaanyi g’omulangira w’ekizikiza. Waliwo obulabe butono ddala obuliwo eri Setaani era n’ebyo byakola, era abantu bamanyi kitono ddala ku maanyi n’obukyayi bwe awamu n’obugazi bw’olutalo lwe eri Kristo era n’eri ekkanisa ye. Bangi we bawabidde wano. Tebakimanyi nti omulabe waabwe ye mugabe owamaanyi afuga endowooza za bamalayika ababi era nga alwanyisa Kristo mu nteekateeka ey’amagezi ddala era ey’obukujjukujju alemese emyoyo okulokolebwa. Abakristaayo n’ababuulizi b’enjiri bawuliddwa nga boogera kitono ddala ku Setaani, okuggyako oluusi mu butanwa nga bali ku kituuti. Babuusa amaaso gaabwe ku bikolwa bye ebingi n’obuwanguziEE 326.4

    bwafuna buli lukya; bagayaalirira okulabula kwe okungi kw’awa mu magezi; era ne kirabika nga abatamanyi nti waali.EE 327.1

    Newakubadde nga abantu balagajjalidde okumanya enkwe ze, omulabe waabwe ono atunula abagoberera buli kaseera. Yeeyingiza mu buli kikolebwa mu nnyumba, ku buli luguudo oluli mu kibuga, mu makanisa, mu nkiiko z’amawanga, mu nkiiko z’abalamuzi, ng’abuzabuza, alimba, asendasenda, ng&pos;attattana emyoyo n’emibiri gy’abasajja n’abakazi awamu n’abaana, ng’ayabuluzamu amaka, asiga obukyayi, okukopperera, entalo, enkwe, obutemu. Abakristaayo bo ne balabika nga abalowooza nti bino byonna Katonda ye yasiima bibeerewo.EE 327.2

    Setaani anoonya buli kiseera okuwangula abantu ba Katonda nga amenyawo ebisenge ebibaawula okuva ku nsi. Isiraeri owedda baasikirizibwa mu kwonoona bwe baayigirira okukola emikwano n’abamawanga be baagaanibwa. Mu ngeri yeemu ne Isiraeri ow’omulembe guno bw’awabiziddwa. “Katonda ow’emirembe gino be yaziba amaaso g’amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw&pos;enjiri ey’ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira.” 2Abakkolinso 4:4. Bonna abatanasalawo kugoberera Kristo baddu ba Setaani. Omutima ogutanabonerera mwe muli ebirowoozo by’okwagala ekibi n’empisa ey’okukisanyukira ko n&pos;okukiwolereza. So mu mutima oguzziddwa obuggya mwosanga okukyawa ekibi n’okumalirira okukiwakanya. Kaakano Abakristaayo bwe basalawo okwetaba n’abatatya Katonda era n’abatakkiriza, baba beesudde bokka mu bikemo. Setaani abikka ku maaso ge obutamulaba awo n’aleeta mu bubba obulimba bwe n’aziba amaaso gaabwe. Olwo ne baba nga tebasobola kulaba na maaso gaabwe nti abantu abo baliwo Iwakubatuusaako bulabe; era nga buli Iwe bagenda nga beefaananyiriza mu mpisa n’ensi, mu bigambo, awamu ne mu bikolwa, baba beeyongera okuzibwa amaaso.EE 327.3

    Ekkanisa okwefaananyiriza mu mpisa n’ensi kigireetera okukyusibwa n’eba nga ya nsi; so teyinza kukyusa nsi okudda eri Kristo. Okumanyiira ekibi kyakugireetera okuba nga terina maanyi gayinza kukiwakanya. Abo bonna abasalawo okwetaba n’abaddu ba Setaani, baakwesanga nga tebakyatya Mukama waabwe. Singa mu ngeri emu oba endala tuleetebwa mu kuwozesebwa, nga ne Danieri bwe yatwalibwa mu maaso ga kabaka, tuba bakakafu nti Katonda waakutukuuma eri obubi; so singa tweteeka fekka mu bikemo, tuli baakusaanawo ekiseera kyonna.EE 327.4

    Omukemi asinga nnyo okutuuka ku buwanguzi bw’akola okuyita mu abo abatalowoozebwa nnyo nli bali mu mikono gye. Abalina ebirabo ebyenjawulo era n&pos;abayivu beegombebwa era ne bassibwamu ekitiibwa, nga nti ebirabo byabwe ebyo bye bibeeyimirira okufuna okusaasirwa ne bwe batatya Katonda. Ebirabo ebyenjawulo n&pos;obuyivu, nga bwe biri, ebyo birabo okuva eri Katonda; kyokka singa bikozesebwa okudda mukifo ky’okutya Katonda, ne bikwongerayo bwongezi okumuvaako, olwo biba bifuuse kikolimo era kyambika. Waliwo endowooza mu bantu bangi nti oyo alabika nga owempisa oba omugunjufu, aba ategeera ne Kristo. Nga tebasuubira nti awo waliwo ensobi ennene. Ebirabo bino byamukisa eri buli Mukristaayo, kubanga biteekesa amaanyi ku ddiini eyamazima; wabula kibigwanira okuwongebwayo eri Katonda, bwe kitaba kityo bya maanyi nnyo eri obubi. Omuntu omuyivu era asiimibwa kyokka n’atayinza kukkakkana okusobola okulaba ebikolwa ebitasaana, olwo aba afuuka ekikozesebwa ekiwagaddwa mu mikono gya Setaani. Empisa ze ez’obulimba era n’enkwe ezisikiriza okugoberera zifuuka ez’obulabe ennyo eri omulimu gwa Kristo okusinga abo abatalina kye bamanyi era abatali bayivu.EE 327.5

    Sulemaani bwe yasaba ennyo n’okwesiga Katonda, yaweebwa amagezi agaasamaaliriza n’okwewunyisa abafuzi b’ensi. Naye bwe yakyuka okuva ku Nsibuko ey’amaanyi ge, ne yeesiga okutegeera kwe, yagwa mu bikemo. Olwo amagezi ag’ekitalo agaaweebwa kabaka ono akira banne mu magezi, ne gamuleetera kubeera mukozi wa mulabe eri emyoyo.EE 328.1

    Setaani nga bwe yeefunyiridde okuziba amaaso g’ebirowoozo byabwe eri amazima, Abakristaayo baleme kwerabira nti “tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n’abamasaza, n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.” Abaefeso 6: 12. Eddoboozi erirabula lizze lyogera okuyita mu mirembe egy’enjawulo okutuusa leero nti: “Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” lPeetero 5:8. “Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.” AbaefesoEE 328.2

    Omulabe wafife azze ng’akozesa obuyinza bwe okunyigiriza n’okutta okuviira ddala mu biro bya Adamu n’okutuusa leero. Kaakano ali mu kawefube okulwanyisa ekkanisa. Abo bonna abanoonya okugoberera Yesu baakwambalagana n’omulabe ono atakoowa. Omukristaayo gyakoma okwefaananyiriza ekyokulabirako kya Katonda, gy’ajja okukoma okweteekako akabonero Setaani k’anaalumba. Era abo bonna abeenyigidde mu mulimu gwa Katonda, nga baagala okwambula obulimba bwa Setaani era bategeeze Kristo eri abantu, baakwegattira wamu mu bujulirwa bwa Pawulo bwe yayogera nti mpeereza Mukama waffe n’obuwombeefu bwonna n’amaziga n’okukemebwa.EE 328.3

    Setaani yalumba Kristo n’ebikemo ebikambwe ddala era ne mu ngeri ey’amagezi, kyokka wonna n’awangulwanga. Entalo ezo Kristo ye yazitulwanira; era obuwanguzi obwo naffe butuleetera okuwangula. Kristo waakuwa amaanyi eri oyo yenna ayagala okuwangula. Tewali muntu n’omu ayinza kuwangulwa Setaani wabula ng’akkirizza. Omukemi talina buyinza kufuga ndowooza oba okuwaliriza omwoyo okukola ekibi. Asobola okulumya naye tayinza kwonoona. Ayinza okuleetawo okunyolwa naye tayinza kuzikiriza. Olw’okubanga kyamazima Kristo yawangula, abagoberezi be kibagwanira okuddamu amaanyi balwane masajja olutalo luno olw’ekibi ne Setaani.EE 328.4

    Ensi eno erabibwa n’eyo eterabibwa na maaso, okuweereza kwa bamalayika eri Katonda, n’ebitongole by’emyoyo emibi, byonna biragibwa bulungi mu Byawandiikibwa, era byerukidde wamu n’ebyafaayo by’omuntu nga kizibuEE 328.5

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents